“Ekiseera Ekigereke” Kinaatera Okutuuka
OKUFAANANAKO nnabbi Kaabakuuku, abayigirizwa ba Yesu baali baagala nnyo okulaba ng’okubonaabona kuggwawo. Nga bamaze okutegeera ekyo Obwakabaka bwa Katonda kye bwandikoze okumalawo ebizibu ku nsi, baabuuza Yesu nti: “Ebintu ebyo biribaawo ddi, era kabonero ki akaliraga okubeerawo kwo [mu bufuzi bw’Obwakabaka] n’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu?” (Matayo 24:3) Ng’abaddamu, Yesu yagamba nti Yakuwa Katonda yekka ye yali amanyi ekiseera kyennyini Obwakabaka lwe bwanditandise okufuga ensi yonna. (Matayo 24:36; Makko 13:32) Wadde kiri kityo, Yesu awamu n’abalala baalagula ebintu ebyandibaddewo ku nsi ebyandiraze nti ekiseera ekyo kiri kumpi okutuuka.—Laba akasanduuko ku ddyo.
Ggwe tokkiriza nti ebintu bino bicaase nnyo leero? Yesu era yalagula nti omulimu gw’okuyigiriza gwandikoleddwa mu nsi yonna. Yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.”—Matayo 24:14.
Ekyo kyennyini kye kikolebwa leero. Abajulirwa ba Yakuwa bakola omulimu ogwo. Mu nsi 236, Abajulirwa ba Yakuwa abasoba mu bukadde musanvu babuulira abantu ekyo Obwakabaka kye bujja okukola, era babayamba okutuukanya obulamu bwabwe n’emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu, oyo ayagala okukomya obulumi n’okubonaabona. Weeyongere okuyiga ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, era ekyo kijja kukusobozesa okuba n’essuubi ery’okubeera mu nsi omutali kubonaabona—emirembe gyonna.
[Akasanduuko akali ku lupapula 15]
Ebyawandiikibwa Ebyogera ku Nnaku ez’Oluvannyuma
MATAYO 24:6, 7; OKUBIKKULIRWA 6:4
• Entalo ku kigero ekitabangawo
• Musisi ow’amaanyi
• Enjala
LUKKA 21:11; OKUBIKKULIRWA 6:8
• Kawumpuli
• Okweyongera kw’obujeemu
• Okwagala kw’abantu okuwola
• Okwonoona ensi
• Okwagala ennyo ssente
• Obutagondera bazadde
• Abantu okweyagala bokka
• Obutayagala ba luganda
• Abantu obutakkiriza kukkaanya
• Abantu okuba nga tebeefuga
• Abantu obutayagala bulungi
• Okwagala eby’amasanyu okusinga Katonda
• Bangi okweyita Abakristaayo so nga bannanfuusi
• Bannabbi ab’obulimba bangi
• Okuyigganya Abakristaayo ab’amazima
• Abantu obutafaayo ku kulabula kwa Baibuli
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Okwetooloola ensi yonna, Abajulirwa ba Yakuwa bayigiriza abantu ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda