“Eddembe ly’Omwana Okukula mu by’Omwoyo”
NGA Ddesemba 9, 2008, ekitongole ekikola ku ddembe ly’abaana eky’omu Sweden kyatuuza olukuŋŋaana olw’enjawulo olwalina omutwe ogugamba nti “Eddembe ly’Omwana Okukula mu by’Omwoyo.” Aboogezi abaakiikirira Ekkanisa ya Sweden, amadiini ga Kristendomu amalala, enzikiriza y’Ekiyisiraamu, n’ekibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu, baawa endowooza zaabwe.
Mu boogezi abo mwe mwali n’omukulembeze w’eddiini omu eyagamba nti: “Kizibu ddala okunnyonnyola obulungi omugaso gwa Baibuli mu kuyamba abaana okukulaakulana mu by’omwoyo.” Ebyawandiikibwa biyinza bitya okuyamba abaana mu by’omwoyo?
Omukulembeze w’eddiini oyo yagamba nti: “Mu byawandiikibwa mulimu ebintu abaana bye basobola okulowoozaako n’okufumiitirizaako ku lwabwe.” Yanokolayo “ebikwata ku Adamu ne Kaawa, Kayini ne Abbeeri, Dawudi ne Goliyaasi, okuzaalibwa kwa Yesu, Zaakayo omuwooza, omwana eyajaajaamya ebyamuweebwa, Omusamaliya omulungi.” Yagamba nti ebyo bye “bimu ku bintu ebisobola okuyamba [omwana] okumanya ky’alina okukola bwe kituuka ku nsonga enkulu gamba ng’okukuuma obwesigwa, okusonyiwa, okwewala obukyayi n’empisa embi, okuzzaawo emirembe, n’okulaga okwagala okwa nnamaddala.” Yagattako nti: “Ebyawandiikibwa ebyo birimu ebintu ebisobola okuyamba omuntu mu bulamu bwe singa afuba okubikolerako.”
Kyo kituufu nti kirungi okukubiriza abaana okusoma Baibuli. Naye ddala abaana basobola ‘ku lwabwe okulowooza n’okufumiitiriza’ ku bintu bye basoma mu Byawandiikibwa era ne balaba engeri gye bayinza okubikozesa?
Omuntu ne bw’aba mukulu, naye aba yeetaaga okunnyonnyolwa ebintu ebimu ebiri mu Byawandiikibwa. Ng’ekyokulabirako, Baibuli eyogera ku musajja eyali asoma ebyawandiikibwa naye ng’alemereddwa okubitegeera ku lulwe. Omusajja oyo yali mukungu okuva mu ggwanga lya Esiyopiya. Yali asoma obunnabbi bwa Isaaya naye nga tategeera makulu gabulimu. Olw’okuba yali ayagala okutegeera amakulu agali mu bunnabbi obwo, yasaba omuyigirizwa Firipo amunnyonnyole. (Bik. 8:26-40) Omwesiyopiya oyo si ye muntu yekka eyali yeetaaga okuyambibwa. Ffenna—naddala abaana—twetaaga okunnyonnyolwa Ebyawandiikibwa.
Baibuli erabula nti: “Obusirusiru busibi[dd]wa mu mutima gw’omwana omuto.” (Nge. 22:15) Abaana beetaaga okuweebwa obulagirizi, era buvunaanyizibwa bw’abazadde okukozesa Baibuli n’ebyo ebiyigirizibwa mu nkuŋŋaana z’ekibiina okuyigiriza abaana baabwe empisa n’ebintu eby’omwoyo. Abaana balina okuyambibwa mu nsonga eno. Okuviira ddala nga bakyali bato, abaana beetaaga okuyambibwa okuba n’omusingi omunywevu ogunaabayamba okukula mu by’omwoyo basobole okufuuka ‘abantu abakulu, abakozesa obusobozi bwabwe obw’okutegeera obutendekeddwa okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.’—Beb. 5:14.