LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 12/15 lup. 20-24
  • Muyimbire Yakuwa!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Muyimbire Yakuwa!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekifo Ennyimba Kye Zirina mu Kusinza okw’Amazima
  • Ekifo Ennyimba Kye Zaalina Oluvannyuma lw’Ekiseera kya Dawudi
  • Obwetaavu Bukyuka Ekiseera bwe Kigenda Kiyitawo
  • Osobola Okukiraga nti Ozitwala ng’Ekintu Ekikulu
  • Yimba n’Essanyu!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Ennyimba Empya ez’Okukozesa mu Kusinza!
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Ennyimba Ezisanyusa Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Weteeseteese Okuyimbira Yakuwa mu Nkuŋŋaana Zaffe?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 12/15 lup. 20-24

Muyimbire Yakuwa!

“N[n]aayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyaliwo.”​—ZAB. 146:2.

1. Kiki ekyaleetera Dawudi okuyiiya ezimu ku zabbuli ze?

MU BUVUBUKA bwe, Dawudi yamalanga ebiseera bingi ku ttale okumpi ne Besirekemu ng’alunda endiga za kitaawe. Bwe yabanga alunda endiga, Dawudi yatunuuliranga obutonde bwa Yakuwa obw’ekitalo: eggulu erijjudde emmunyeenye, “ensolo ez’omu nsiko,” awamu ‘n’ennyonyi eza waggulu.’ Yakwatibwako nnyo ebyo bye yalabanga n’atuuka n’okuyiiya ennyimba ezitendereza Oyo eyakola ebintu ebyo ebyewuunyisa. Nnyingi ku nnyimba Dawudi ze yayiiya zisangibwa mu kitabo kya Zabbuli.a​—Soma Zabbuli 8:3, 4, 7-9.

2. (a) Ennyimba zikwata zitya ku bantu? Waayo ekyokulabirako. (b) Kiki kye tuyiga ku nkolagana eyaliwo wakati wa Dawudi ne Yakuwa mu Zabbuli 34:7, 8 ne Zabbuli 139:2-8?

2 Kirabika nti mu kiseera ekyo Dawudi mwe yakugukira mu kuyimba. Yakuguka nnyo, n’atuuka n’okuyitibwa okukubira Kabaka Sawulo ennanga. (Nge. 22:29) Ennyimba Dawudi ze yakubanga zaweweezanga nnyo kabaka ono eyalina ebizibu, nga n’ennyimba ennungi bwe ziweweeza abantu leero. Buli Dawudi lwe yakubanga ennanga, ‘Sawulo yaweweeranga n’awona.’ (1 Sam. 16:23) N’okutuusa leero, ennyimba omuyimbi ono era omuwandiisi w’ennyimba eyali atya Katonda ze yayiiya zikyali za muganyulo nnyo. Lowooza ku kino! Wadde nga kati wayise emyaka egissuka mu 3,000 bukya Dawudi azaalibwa, abantu bukadde na bukadde bakyasoma zabbuli za Dawudi basobole okubudaabudibwa n’okufuna essuubi.​—2 Byom. 7:6; soma Zabbuli 34:7, 8; 139:2-8; Am. 6:5.

Ekifo Ennyimba Kye Zirina mu Kusinza okw’Amazima

3, 4. Nteekateeka ki ezaakolebwa mu kiseera kya Dawudi okusobola okuyimba ennyimba ez’okutendereza?

3 Dawudi yalina ekitone, era ekitone ekyo yakikozesa mu ngeri esingayo obulungi​—okugulumiza Yakuwa. Oluvannyuma lw’okufuuka kabaka wa Isiraeri, Dawudi yakola enteekateeka ennyimba ziyimbibwenga ku weema. Abaleevi abasukka mu kimu kya kkumi ku abo abaaweerezanga mu yeekaalu​—nga bano baali 4,000​—baateekebwawo ‘okutendereza,’ nga mu bo 288 ‘baayigirizibwa okuyimbira Mukama,’ nga bonna bakugu.​—1 Byom. 23:3, 5; 25:7.

4 Nnyingi ku nnyimba Abaleevi ze baayimbanga Dawudi kennyini ye yaziyiiya. Abaisiraeri abaafunanga akakisa okubaawo nga zabbuli za Dawudi ziyimbibwa bateekwa okuba nga baakwatibwangako nnyo ebyo bye baawuliranga. Ssanduuko y’endagaano bwe yatwalibwa mu Yerusaalemi, “Dawudi [y]agamba Abaleevi abakulu okulonda baganda baabwe abayimbi, nga balina ebivuga, entongooli n’ennanga n’ebitaasa, nga babikuba era nga bayimusa eddoboozi n’essanyu.”​—1 Byom. 15:16.

5, 6. (a) Lwaki okuyimba kwatwalibwanga ng’ekintu ekikulu ennyo mu kiseera kya Dawudi? (b) Tumanyira ku ki nti okuyimba kwalina ekifo kikulu nnyo mu kusinza mu Isiraeri ey’edda?

5 Lwaki okuyimba kwatwalibwanga ng’ekintu ekikulu ennyo mu kiseera kya Dawudi? Lwa kuba nti kabaka kennyini yali muyimbi? Nedda, waaliwo ensonga endala, era ng’ensonga eyo yalagibwa nga wayiseewo ebyasa by’emyaka oluvannyuma lwa Kabaka Keezeekiya okuzzaawo okuyimba mu yeekaalu. Mu 2 Ebyomumirembe 29:25, tusoma nti: ‘Keezeekiya n’ateeka Abaleevi mu nnyumba ya Mukama nga balina ebitaasa n’entongooli n’ennanga, ng’ekiragiro kya Dawudi bwe kyali n’ekya Gaadi omulabi wa kabaka n’ekya Nasani nnabbi: kubanga ekiragiro kyava eri Yakuwa mu bannabbi be.’

6 Yee, okuyitira mu bannabbi be, Yakuwa yalagira abaweereza be okumutendereza nga bayimba ennyimba. Abaleevi abayimbi baggibwako emirimu emirala Baleevi bannaabwe gye baakolanga basobole okufuna ebiseera ebimala okuyiiya era oboolyawo n’okwegezaamu mu nnyimba.​—1 Byom. 9:33.

7, 8. Bwe kituuka ku kuyimba ennyimba zaffe ez’Obwakabaka, kiki ekisinga obukulu?

7 Oyinza okugamba nti, “Eby’okuyimba nze sibisobola era singa nnaliwo mu kiseera ekyo, sandibadde omu ku bakugu abaayimbiranga ku weema entukuvu!” Naye Abaleevi bonna abaayimbanga tebaali bakugu. Okusinziira ku 1 Ebyomumirembe 25:8, waaliwo n’abayiga. Ate era kikulu okukijjukira nti wayinza okuba nga waaliyo abantu abaali bamanyi okuyimba obulungi mu bika bya Isiraeri ebirala, naye gwo omulimu gw’okuyimba Yakuwa yagukwasa Baleevi. Awatali kubuusabuusa, Abaleevi bonna abeesigwa, ka babe nga baali bakugu oba nga baali bakyayiga buyizi, baakolanga omulimu gwabwe ogwo n’omutima gwabwe gwonna.

8 Dawudi yali ayagala nnyo okuyimba era yali mukugu. Naye omuntu ateekwa kuba ng’alina ekitone ky’okuyimba okusobola okuyimbira Katonda? Mu Zabbuli 33:3 (NW), Dawudi yawandiika nti: “Mukole kyonna kye musobola okukuba ebivuga n’okuyimba n’essanyu mu ddoboozi ery’omwanguka.” Wano kyeyoleka bulungi nti: Ekisinga obukulu kwe kuba nti ‘tukola kyonna kye tusobola’ mu kutendereza Yakuwa.

Ekifo Ennyimba Kye Zaalina Oluvannyuma lw’Ekiseera kya Dawudi

9. Nnyonnyola ekyo kye wandirabye ne kye wandiwulidde singa waliwo nga yeekaalu eweebwayo mu kiseera ky’obufuzi bwa Sulemaani.

9 Mu bufuzi bwa Kabaka Sulemaani, okuyimba kweyongera okutwalibwa ng’ekintu ekikulu ennyo mu kusinza okw’amazima. Yeekaalu bwe yali eweebwayo, waaliwo abakubi b’ebivuga bangi awamu n’abafuuyi b’amakondeere 120. (Soma 2 Ebyomumirembe 5:12.) Baibuli egamba nti ‘abafuuyi b’amakondeere, nga bonna baali bakabona, n’abayimbi baakwanya wamu amaloboozi, nga batendereza era nga beebaza Yakuwa, kubanga mulungi; kubanga ekisa kye kibeerera emirembe gyonna.’ Bwe baayimusa eddoboozi lyabwe, ‘ennyumba yajjula ekire,’ ekyalaga nti Yakuwa yali asiimye ebyali bikoleddwa. Nga kiteekwa okuba nga kyali kisanyusa nnyo okuwulira abafuuyi b’amakondeere abo bonna awamu n’enkumi n’enkumi z’abayimbi nga bakwanaganyiza wamu amaloboozi gaabwe!​—2 Byom. 5:13, NW.

10, 11. Kiki ekiraga nti Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baakozesanga ennyimba mu kusinza?

10 Abakristaayo mu kyasa ekyasooka nabo baakozesanga ennyimba mu kusinza. Kya lwatu nti bo tebaasinzizanga mu weema oba mu yeekaalu, wabula baasinzizanga mu maka ga ba luganda. Wadde nga baali bayigganyizibwa era nga balina n’ebizibu ebirala bingi, Abakristaayo abo baatenderezanga Katonda nga bayimba ennyimba.

11 Pawulo yakubiriza Bakristaayo banne ab’omu Kkolosaayi nti: “Mubuuliraganenga ne zabbuli, n’ennyimba ezitendereza Katonda, n’ennyimba ez’eby’omwoyo ezisanyusa.” (Bak. 3:16) Oluvannyuma lwa Pawulo ne Siira okusibibwa mu kkomera, baatandika ‘okusaba n’okuyimba ennyimba ezitendereza Katonda,’ wadde nga tebaalina katabo ka nnyimba. (Bik. 16:25) Singa osibibwa mu kkomera, nnyimba meka ez’Obwakabaka z’osobola okuyimba nga tolina katabo?

12. Tuyinza tutya okulaga nti ennyimba zaffe ez’Obwakabaka tuzitwala ng’ekintu ekikulu?

12 Okuva bwe kiri nti ennyimba zirina ekifo kikulu nnyo mu kusinza kwaffe, tusaanidde okwebuuza: ‘Nkiraga nti nzitwala ng’ekintu ekikulu? Nfuba okutuuka nga bukyali mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu nkuŋŋaana ennene nsobole okwegatta ku baganda bange ne bannyinaze mu kuyimba oluyimba oluggulawo, era nfuba okuyimba n’ebbugumu? Nfuba okuyamba abaana bange obutatwala kiseera eky’okuyimba oluyimba oluba wakati w’Olukuŋŋaana lw’Essomero n’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza oba olwo oluba wakati w’emboozi ya bonna n’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi ng’ekiseera eky’okuwummulamu, okutambulatambulamu, oba okugolola ku magulu?’ Okuyimba kitundu kya kusinza kwaffe. Yee, ka tube bakugu oba bayiga, ffenna tusobola​—era tusaanidde​—okugatta wamu amaloboozi gaffe okutendereza Yakuwa.​—Geraageranya 2 Abakkolinso 8:12.

Obwetaavu Bukyuka Ekiseera bwe Kigenda Kiyitawo

13, 14. Miganyulo ki egiri mu kuyimba ennyimba okuviira ddala ku mutima nga tuli mu nkuŋŋaana? Waayo ekyokulabirako.

13 Emyaka egisukka mu 100 egiyise, magazini ya Zion’s Watch Tower yalaga emu ku nsonga lwaki ennyimba zaffe ez’Obwakabaka nkulu nnyo. Yagamba nti: “Amazima bwe gayimbibwa mu nnyimba geeyongera okusimba amakanda mu birowoozo by’abantu ba Katonda awamu ne mu mitima gyabwe.” Bingi ku bigambo ebiri mu nnyimba zaffe biggiddwa mu Byawandiikibwa, n’olwekyo okufuba okukwata mu mutwe ebigambo ebizirimu y’emu ku ngeri amazima gye gayinza okusimba amakanda mu mitima gyaffe. Bangi ku mulundi gwe basooka okujja mu nkuŋŋaana zaffe bakwatibwako nnyo bwe balaba ab’oluganda nga bayimba ennyimba okuviira ddala ku mutima.

14 Lumu akawungeezi mu 1869, C. T. Russell bwe yali ava ku mulimu ng’adda eka, yawulira abantu abaali bayimbira mu kizimbe ekimu. Mu kiseera ekyo, yali takyasuubira kuzuula mazima gakwata ku Katonda. Bw’atyo yali asazeewo okwemalira ku bizineesi ye ng’alowooza nti bwe yandifunye ssente ezimala, yandisobodde okukola ku byetaago by’abantu eby’omubiri wadde nga teyandisobodde kubayamba mu by’omwoyo. Ow’oluganda Russell yayingira mu kizimbe ekyo ekyalimu enfuufu era nga kirimu enzikiza n’asanga olukuŋŋaana lw’eddiini nga lugenda mu maaso. Yatuula n’awuliriza. Oluvannyuma yagamba nti ebyo bye yawulira akawungeezi ako, “olw’obuyambi bwa Katonda, byamuyamba okuddamu okukkiririza mu Baibuli ng’ekitabo ekyaluŋŋamizibwa Katonda.” Kyetegereze nti Ow’oluganda Russell yasikirizibwa okugenda mu lukuŋŋaana olwo oluvannyuma lw’okuwulira abantu nga bayimba.

15. Ebimu ku bintu ebyagenda byeyongera okutangaazibwako ebyaleetawo obwetaavu bw’akatabo k’ennyimba akapya bye biruwa?

15 Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, wabaawo okutangaazibwa okukwata ku nnyinyonnyola y’Ebyawandiikibwa kwe tufuna. Engero 4:18 wagamba nti: “Ekkubo ery’abatuukirivu liriŋŋanga omusana ogwaka[a]yakana, ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe butuukirira.” Tewali kubuusabuusa nti ekitangaala bwe kyeyongerayongera n’engeri gye ‘tuyimbamu amazima’ ekyukamuko. Okumala emyaka 25, Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi nnyingi babadde bakozesa akatabo k’ennyimba akayitibwa Muyimbire Yakuwa Ennyimba Ezitendereza.b Emyaka bwe gyagenda giyitawo okuva akatabo ako lwe kaafulumizibwa, ekitangaala kyeyongera okwaka ku bintu ebitali bimu, ne kiba nti ebigambo ebimu ebyali mu katabo ako byali byetaaga okukyusibwamu. Ng’ekyokulabirako, mu katabo k’ennyimba ak’Olungereza akakadde, twakozesanga ebigambo “obutuufu bw’erinnya lya Yakuwa,” naye kati tukozesa ebigambo “okutukuzibwa kw’erinnya lya Yakuwa.” Era kati engeri z’omwoyo omutukuvu gamba ng’okwagala, essanyu, n’emirembe tetukyaziyita bibala bya mwoyo mutukuvu, naye zonna awamu kati tuziyita kibala ky’omwoyo omutukuvu. Kyeyoleka lwatu nti olw’ekitangaala ng’ekyo ekyeyongerayongera ku njigiriza zaffe, kyali kyetaagisa okufuna akatabo k’ennyimba akapya.

16. Akatabo kaffe ak’ennyimba akapya kanaatuyamba katya okukolera ku bigambo bya Pawulo ebiri mu Abeefeso 5:19?

16 Olw’ensonga ezo n’endala, Akakiiko Akafuzi kaasalawo okufulumya akatabo k’ennyimba akapya akayitibwa Muyimbire Yakuwa. Akatabo kano akapya kalimu ennyimba 135. Olw’okuba kati ennyimba ze twetaaga okuyiga ntonoko, tusuubira nti buli omu ku ffe ajja kusobola okukwata mu mutwe ebigambo ebiri mu nnyimba ezo empya; waakiri ezimu ku zo. Kino kituukana bulungi n’ebigambo bya Pawulo ebiri mu Abeefeso 5:19.​—Soma.

Osobola Okukiraga nti Ozitwala ng’Ekintu Ekikulu

17. Bintu ki bye tusaanidde okujjukira ebinaatuyamba obutatya kuyimba nga tuli mu nkuŋŋaana zaffe?

17 Twandikkiriza okutya okuswala okutulemesa okuyimba nga tuli mu nkuŋŋaana zaffe ez’Ekikristaayo? Lowooza ku kino: Bwe tuba twogera, si kituufu nti “emirundi mingi ffenna tusobya”? (Yak. 3:2) Naye ekyo tetukikkiriza kutulemesa kutendereza Yakuwa nga tubuulira nnyumba ku nnyumba. Kati olwo lwaki twandikkirizza amaloboozi gaffe agatali malungi okutulemesa okutendereza Katonda nga tuyimba? Yakuwa, oyo “eyakola akamwa k’omuntu,” asanyuka nnyo bw’awulira amaloboozi gaffe nga tuyimba ennyimba ezimutendereza.​—Kuv. 4:11.

18. Kiki ky’oyinza okukola okusobola okuyiga ebigambo ebiri mu nnyimba zaffe.

18 Bu CD obuyitibwa Sing to Jehovah​—Vocal Renditions bufulumiziddwa mu nnimi ezitali zimu. Buliko ennyimba empya nga ziyimbibwa mu maloboozi awamu n’ebivuga. Ennyimba ezo zinyuma nnyo okuwuliriza. Bw’onooziwuliriza enfunda n’enfunda; kijja kukuyamba okukwata ebigambo by’ezimu ku nnyimba ezo empya. Ennyimba ezisinga obungi zaategekebwa mu ngeri nti bw’oba oyimba olunyiriri olumu, osobola n’okuteebereza ebigambo ebiri mu lunyiriri oluddirira. N’olwekyo, bw’oteekako ka CD okuli ennyimba ezo, lwaki togezaako kugoberera nga naawe bw’oyimba? Bw’oneegezaamu awaka n’okwata ennyimba ezo, tewali kubuusabuusa nti ojja kusobola bulungi okuziyimba mu nkuŋŋaana.

19. Biki ebizingirwa mu kuteekateeka obuyimba obukubibwa ku nkuŋŋaana ennene?

19 Kyangu obuyimba obusookawo nga programu y’enkuŋŋaana ennene tennatandika obutabutwala ng’ekintu ekikulu. Naye kikulu okukijjukira nti okuteekateeka obuyimba obwo, mulimu gwa maanyi nnyo. Obuyimba obukubibwa ku lukuŋŋaana bwe bumala okulondebwa, wabaawo ab’oluganda abateekateeka engeri gye bunaakubibwamu mu bivuga, oluvannyuma ab’oluganda 64 abakuba ebivuga bakwasibwa omulimu ogw’okubukuba. Ab’oluganda abakuba ebivuga bamala ebiseera bingi nga beekenneenya era nga beegezaamu mu buyimba bwe banaakuba, oluvannyuma bagenda mu situdiyo yaffe eri e Patterson, New York okubukwata ku butambi. Kkumi ku baganda baffe bano ne bannyinaffe tebabeera mu Amerika. Bonna bagitwala nga nkizo okwenyigira mu kuteekateeka obuyimba obukubibwa ku nkuŋŋaana zaffe ennene. Tusaanidde okulaga nti tusiima omulimu ogukolebwa ab’oluganda abo. Ssentebe bw’atusaba okutuula mu bifo byaffe tuwulirize obuyimba obwo obuba buteekeddwateekeddwa obulungi, tusaanidde okukikolerawo.

20. Kiki ky’omaliridde okukola?

20 Yakuwa awuliriza ennyimba ze tuyimba nga tumutendereza era azitwala nga za muwendo. N’olwekyo, ka tufube okusanyusa omutima gwe nga tuyimba n’omutima gwaffe gwonna buli lwe tukuŋŋaana okumusinza. Yee, ka tube bakugu oba bayiga, ffenna ka ‘tuyimbire Yakuwa’!​—Zab. 104:33.

[Obugambo obuli wansi]

a Ekyewuunyisa kiri nti nga wayise ebyasa kkumi oluvannyuma lw’okufa kwa Dawudi, bamalayika bangi balangirira okuzaalibwa kwa Masiya eri abasumba abaali ku ttale nga balunda endiga zaabwe okumpi ne Besirekemu.​—Luk. 2:4, 8, 13, 14.

b Akatabo k’ennyimba akakadde akaalimu ennyimba 225 kaali mu nnimi ezisukka mu 100.

Olowooza Otya?

• Byakulabirako ki ebiri mu Baibuli ebiraga nti ennyimba zirina ekifo kikulu mu kusinza kwaffe?

• Kakwate ki akali wakati w’okugondera ekiragiro kya Yesu ekiri mu Matayo 22:37 n’okuyimba ennyimba z’Obwakabaka n’omutima gwo gwonna?

• Ezimu ku ngeri mwe tuyinza okulagira nti ennyimba zaffe ez’Obwakabaka tuzitwala ng’ekintu ekikulu ze ziruwa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Abaana bo obagaana okumala gatambula ng’oluyimba luyimbibwa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Ofuba okuyiga ebigambo ebiri mu nnyimba zaffe empya ng’oli awaka?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share