Ebirimu
Maaki 15, 2011
Ebitundu Eby’okusoma
EBITUNDU EBY’OKUSOMA MU WIIKI EYA:
Maayi 2-8 2011
Kulemberwa Omwoyo gwa Katonda, So Si ogw’Ensi
OLUPAPULA 8
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 60, 71
Maayi 9-15 2011
Ng’Enkomerero bw’Esembera, Weesige Yakuwa
OLUPAPULA 12 ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 125, 48
Maayi 16-22 2011
OLUPAPULA 24 ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 54, 135
Maayi 23-29 2011
Sigala ng’Otunula nga Yeremiya bwe Yakola
OLUPAPULA 28 ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 65, 43
Ekigendererwa ky’Ebitundu eby’Okusoma
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 1 OLUPAPULA 8-12
Abantu bangi leero booleka omwoyo gw’ensi, naye kisoboka ffe okusigala nga tuli ba njawulo? Ekitundu kino kijja kutuyamba okulaba engeri omwoyo gw’ensi gye guyinza okututwaliriza. Ate era kijja kutuyamba okulaba ebyo bye tuyigira ku Yesu ku ngeri y’okufunamu omwoyo gwa Katonda.
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 2 OLUPAPULA 12-16
Kitegeeza ki okwesiga Yakuwa? Mu kitundu kino, tujja kulaba nti okwesiga Yakuwa kisingawo ku kukkiririza obukkiririza mu bisuubizo bye ebikwata ku nsi empya. Kizingiramu okukkiriza okutambulira mu makubo ge ne ku misingi gye era n’okwewala okutambulira ku mitindo gy’ensi.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA 3, 4 OLUPAPULA 24-32
Ebitundu bino bijja kulaga engeri Nuuwa n’ab’omu maka ge, Musa, ne Yeremiya gye baali abeetegefu okutuukiriza emirimu egyabakwasibwa ne kibasobozesa okuba n’essuubi okulaba okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Katonda. Gezaako okulaba ekyo ky’oyinza okuyigira ku basajja abo n’engeri gye baatwalamu obuweereza bwabwe.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
3 Teweerimbalimba na Ndowooza Nkyamu
17 Waliwo Ebintu Bingi Ebisobola Okubaleetera Essanyu
20 Toyabuliranga Bakkiriza Banno