LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 7/15 lup. 15-19
  • Onookolera ku Kulabula Yakuwa kw’Atuwa?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Onookolera ku Kulabula Yakuwa kw’Atuwa?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Togoberera ‘Bayigiriza ab’Obulimba’
  • Togoberera “Ngero ez’Obulimba”
  • ‘Togoberera Sitaani’
  • Weewale Okulimbibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Weewale Okusinza okw’Obulimba!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Weeyongere Okussa mu Nkola by’Oyize
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Beera Bulindaala—Sitaani Ayagala Kukulya!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 7/15 lup. 15-19

Onookolera ku Kulabula Yakuwa kw’Atuwa?

“Lino lye kkubo, mulitambuliremu.”​—IS. 30:21.

1, 2. Kiki Sitaani ky’amaliridde okukola, naye Ekigambo kya Katonda kituyamba kitya?

B W’OBA ng’oli ku lugendo, akapande akasonze ku ludda olukyamu kasobola okukubuza era ekyo kisobola okuba eky’akabi gy’oli. Kiba kitya singa mukwano gwo akulabula nti waliwo omusajja omubi eyakyusa akapande ako asobole okubuza abantu. Onookolera ku kulabula okwo?

2 Sitaani alinga omusajja oyo omubi era ayagala okutubuza. (Kub. 12:9) Ebintu byonna eby’akabi bye twalaba mu kitundu ekyayita Sitaani abikozesa ng’ayagala okutuwabya tuve ku kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo. (Mat. 7:13, 14) Naye kituzzaamu amaanyi okukimanya nti Mukwano gwaffe, Yakuwa Katonda, atulabula tuleme okugoberera ‘obupande’ bwa Sitaani obubuzaabuza. Kati ka tulabe ebintu ebirala eby’akabi bisatu Sitaani by’akozesa okutubuzaabuza era n’engeri Ekigambo kya Katonda gye kiyinza okutuyamba okubyewala. Bwe tusoma Bayibuli tuba ng’abawulira eddoboozi lya Yakuwa emabega waffe nga ligamba nti: “Lino lye kkubo, mulitambuliremu.” (Is. 30:21) Okufumiitiriza ku kulabula Yakuwa kw’atuwa kijja kutuyamba okubeera abamalirivu okukolera ku kulabula okwo.

Togoberera ‘Bayigiriza ab’Obulimba’

3, 4. (a) Abayigiriza ab’obulimba bafaananako batya enzizi omutali mazzi? (b) Abayigiriza ab’obulimba batera kuva wa, era baba na kigendererwa ki?

3 Kuba akafaananyi ng’oli ku lugendo ng’oyita mu ddungu era ng’ennyonta ekuluma nnyo. Olengera oluzzi oluli ewala n’osalawo okugendayo ng’osuubira okufunayo ku mazzi onyweko. Kyokka ogenda okutuuka ku luzzi olwo nga temuli mazzi. Ng’ekyo kiyinza okukumalamu ennyo amaanyi! Abayigiriza ab’obulimba balinga enzizi omutali mazzi. Abo bonna abagenda gye bali okufunayo amazzi ag’amazima tebafunayo kalungi konna. Ng’ayitira mu mutume Pawulo ne Peetero, Yakuwa atulabula ku bayigiriza ab’obulimba. (Soma Ebikolwa 20:29, 30; 2 Peetero 2:1-3.) Abayigiriza abo be baani? Ebigambo by’abatume abo ababiri bituyamba okutegeera wa abayigiriza abo gye bava n’engeri gye babuzaabuzaamu abantu.

4 Pawulo yagamba abakadde mu kibiina ky’e Efeso nti: “Mu mmwe mwennyini muliva abantu aboogera ebintu ebikyamye.” Ng’ayogera eri Bakristaayo banne, Peetero yagamba nti: ‘Wajja kujjawo abayigiriza ab’obulimba mu mmwe.’ Kati olwo abayigiriza abo bava wa? Bayinza okuva mu kibiina mwennyini. Abantu ng’abo baba bakyewaggula.a Bakyewaggula baba na kigendererwa ki? Bwe bamala okuva mu kibiina kya Yakuwa, Pawulo alaga nti baba baagala “okusendasenda abayigirizwa okubagoberera.” Abayigirizwa Pawulo b’ayogerako be bayigirizwa ba Yesu Kristo. Mu kifo ky’okwefunira abayigirizwa abaabwe ebweru w’ekibiina, bakyewaggula baba baagala okubba abayigirizwa abali mu kibiina. Okufaananako ‘emisege egikavvula,’ abayigiriza ab’obulimba baba baagala okulya abantu abali mu kibiina, okunafuya okukkiriza kwabwe, n’okubaggya mu mazima.​—Mat. 7:15; 2 Tim. 2:18.

5. Abayigiriza ab’obulimba babuzaabuza batya abantu?

5 Abayigiriza ab’obulimba babuzaabuza batya abantu? Kino bakikola mu ngeri ey’obukujjukujju. Okufaananako abantu abakukusa ebintu okubiyingiza mu ggwanga, bakyewaggula “mu nkiso” baleeta enjigiriza zaabwe ez’obulimba mu kibiina. Era okufaananako abamenyi b’amateeka abajingirira ebiwandiiko, bakyewaggula bakozesa “ebigambo eby’obulimba” okuleetera enjigiriza zaabwe enkyamu okulabika ng’entuufu. Basaasaanya ‘enjigiriza ez’obulimba,’ nga “banyoolanyoola Ebyawandiikibwa” bisobole okutuukana n’endowooza zaabwe enkyamu. (2 Peet. 2:1, 3, 13; 3:16) Bakyewaggula tebalina kalungi konna ke batwagaliza. Singa tubagoberera, tujja kuwaba tuve ku kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo.

6. Bayibuli etulabula etya ku bayigiriza ab’obulimba?

6 Tuyinza tutya okwekuuma abayigiriza ab’obulimba? Bayibuli etubuulira eky’okukola. (Soma Abaruumi 16:17; 2 Yokaana 9-11.) Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Mubeewale.” Enkyusa za Bayibuli endala zikozesa ebigambo “mubakube amabega,” “mubeesambe,” oba “mubeerinde!” Okubuulirira okwo okwaluŋŋamizibwa kutegeerekeka bulungi. Singa omusawo akugamba okwewala omuntu alina obulwadde obw’akabi obusobola okukukwata, tewali kubuusabuusa nti ojja kumugondera era weewala omuntu oyo. Amazima gali nti bakyewaggula ‘balimu akazoole,’ era baagala okukozesa enjigiriza zaabwe enkyamu okuleetera abalala okulowooza nga bo. (1 Tim. 6:3, 4) Yakuwa, Omusawo Omukulu, atugamba okubeewala. N’olwekyo, tusaanidde okuba abamalirivu okukolera ku kulabula okwo.

7, 8. (a) Tuyinza kukola ki okusobola okwewala abayigiriza ab’obulimba? (b) Lwaki oli mumalirivu okwewala abayigiriza ab’obulimba?

7 Tuyinza kukola ki okusobola okwewala abayigiriza ab’obulimba? Tetusaanidde kubakyaza mu maka gaffe wadde okwogera nabo. Era tetusaanidde kusoma bitabo byabwe, kulaba programu zaabwe eza ttivi, kusoma bye baba bawandiise ku mikutu gya intaneeti, oba okubaako bye twongereza ku ebyo bye baba boogedde. Lwaki tusaanidde okubeewala? Okusookera ddala tukikola olw’okuba twagala “Katonda ow’amazima.” Tetwagala kuwuliriza njigiriza za bulimba ezikontana n’Ekigambo kye eky’amazima. (Zab. 31:5; Yok. 17:17) Era tukikola olw’okuba twagala ekibiina Yakuwa mw’ayitira okutuyigiriza amazima. Ekibiina ekyo kye kyatuyamba okumanya erinnya lya Yakuwa n’amakulu gaalyo, ekigendererwa kya Katonda eri ensi, embeera y’abafu, n’essuubi ery’okuzuukira. Ojjukira engeri gye wawuliramu nga waakayiga ebintu ebyo awamu n’ebirala? Kati olwo lwaki wandikkirizza okutwalirizibwa omuntu yenna avumirira ekibiina ekyakuyamba okumanya ebintu ebyo?—Yok. 6:66-69.

8 Abayigiriza ab’obulimba ka boogere ki, tetujja kubagoberera! Tewali nsonga yonna lwaki twandiwulirizza abantu abalinga enzizi omutali mazzi. Abo ababawuliriza bajja kulimbibwa era bajja kwejjusa. Mu kifo ky’ekyo, ka tube bamalirivu okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa n’ekibiina kye ekimaze ebbanga eddene nga kituwa mu bungi amazzi amalungi ag’amazima okuva mu Kigambo kya Katonda.​—Is. 55:1-3; Mat. 24:45-47.

Togoberera “Ngero ez’Obulimba”

9, 10. Kulabula ki Pawulo kwe yawa Timoseewo okukwata ku “ngero ez’obulimba,” era kiki Pawulo kye yali ategeeza? (Laba obugambo obwa wansi.)

9 Wadde ng’oluusi kiyinza okutwanguyira okukiraba nti akapande kaakyusiddwa era nti kasonga wakyamu, oluusi kiyinza okutuzibuwalira okukiraba. Bwe kityo bwe kiri ne ku bintu eby’akabi Sitaani by’akozesa okutubuzaabuza; ebimu byangu okulaba ate ebirala si byangu kulaba. Omutume Pawulo atulabula ku kimu ku bintu ebyo eby’akabi—‘engero ez’obulimba.’ (Soma 1 Timoseewo 1:3, 4.) Engero ez’obulimba kye ki, era tuyinza tutya okuzeewala? Twetaaga okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bwe tuba ab’okusigala ku kkubo ery’obulamu obutaggwaawo.

10 Pawulo yalabula ku ngero ez’obulimba mu bbaluwa gye yasooka okuwandiikira Timoseewo, omulabirizi Omukristaayo. Yagamba Timoseewo okukuuma ekibiina nga kiyonjo n’okuyamba bakkiriza banne okusigala nga beesigwa eri Yakuwa. (1 Tim. 1:18, 19) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “engero ez’obulimba” kiyinza okutegeeza “olufumo” oba “olugero oluyiiye obuyiiya.” Ekitabo ekiyitibwa International Standard Bible Encyclopaedia kigamba nti olugero olw’obulimba “luba lugero (lwa ddiini) olukwata ku bintu ebitaalinayo.” Oboolyawo Pawulo yali ayogera ku ngero z’eddiini ez’obulimba abantu ze baali bagunjizzaawo.b Engero ezo za kabi kubanga ‘zireetawo ebibuuzo ebitasaana’ ebireetera abantu okwonoona ebiseera byabwe nga banoonyereza ku bintu ebitali bituufu. Sitaani akozesa engero ez’obulimba okuleetera abantu okuggya ebirowoozo byabwe ku bintu ebisinga obukulu. Pawulo ky’atukubiriza okukola kiri nti: Towuliriza ngero za bulimba!

11. Sitaani akozesa atya amadiini ag’obulimba okubuzaabuza abantu, era kulabula ki okunaatuyamba okwewala okubuzaabuzibwa?

11 Ngero ki endala ez’obulimba eziyinza okutubuzaabuza bwe tuba tetwegenderezza? Tuyinza okugamba nti ‘olugero olw’obulimba’ ye njigiriza yonna ey’eddiini esobola okutuleetera ‘okugaana okuwuliriza amazima.’ (2 Tim. 4:3, 4) Sitaani yeefuula “malayika ow’ekitangaala” ng’akozesa amadiini ag’obulimba okubuzaabuza abantu. (2 Kol. 11:14) Ng’ekyokulabirako, amadiini ga Kristendomu gagamba nti gagoberera Kristo naye ng’ate gayigiriza ebintu ebikyamu, gamba ng’obusatu, omuliro ogutazikira, n’obutafa bw’emmeeme. Abantu bangi balowooza nti okukuza Ssekukkulu ne Ppaasika kisanyusa Katonda, naye obulombolombo abantu bwe bakola ku nnaku ezo busibuka mu bakaafiiri. Engero ez’obulimba tezijja kutubuzaabuza singa tukolera ku kulabula Katonda kw’atuwa ne twewala amadiini ag’obulimba era ne ‘tulekera awo okukwata ku kintu ekitali kirongoofu.’​—2 Kol. 6:14-17.

12, 13. (a) Bulimba ki obw’emirundi essatu Sitaani bw’akulaakulanya, naye ekituufu kye kiruwa? (b) Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okwewala okubuzaabuzibwa engero ez’obulimba?

12 Waliwo n’obulimba obulala Sitaani bw’akulaakulanya obusobola okutubuzaabuza singa tuba tetwegenderezza. Ka tulabeyo obulimba bwa mirundi essatu. Obulimba obusooka: Osobola okukola kyonna ky’oyagala; olina eddembe okwesalirawo ekituufu n’ekikyamu. Ebigambo ng’ebyo tutera okubiwulira ku leediyo, ku ttivi, mu firimu, oba okubisoma mu mpapula z’amawulire oba ku Intaneeti. Endowooza eyo enkyamu eyinza okutuleetera okutandika okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu ebicaase ennyo leero. Naye ekituufu kiri nti Katonda y’agwanidde okutubuulira ekituufu n’ekikyamu. (Yer. 10:23) Obulimba obw’okubiri: Katonda talina kintu kyonna ky’ajja kukyusa ku nsi. Endowooza eno eyinza okutuleetera obutalowooza ku biseera bya mu maaso n’okuba “abagayaavu oba abantu abatabala bibala” mu buweereza bwaffe eri Katonda. (2 Peet. 1:8) Ekituufu kiri nti olunaku lwa Yakuwa lunaatera okutuuka era tulina okulukuumira mu birowoozo byaffe. (Mat. 24:44) Obulimba obw’okusatu: Katonda takufaako. Okukkiriza obulimba bwa Sitaani buno kiyinza okutuleetera okuggwaamu amaanyi nga tulowooza nti tetusaanira mu maaso ga Katonda. Ekituufu kiri nti Yakuwa ffenna atwagala era atwala buli omu ku baweereza be nga wa muwendo nnyo.​—Mat. 10:29-31.

13 Tusaanidde okwewala okubuzaabuzibwa endowooza z’abantu abali mu nsi ya Sitaani. Oluusi ebintu bye boogera biyinza okulabika ng’ebituufu. Naye tusaanidde okukijjukira nti Sitaani y’asingayo okuba omulimba era ayagala kutubuzaabuza. N’olwekyo, okusobola okwewala okubuzaabuzibwa engero za Sitaani ez’obulimba, tulina okukolera ku kulabula okuli mu Kigambo kya Katonda.​—2 Peet. 1:16.

‘Togoberera Sitaani’

14. Kulabula ki Pawulo kwe yawa abamu ku bannamwandu abaali bakyali abato, era lwaki ffenna tusaanidde okussaayo omwoyo ku kulabula okwo?

14 Kuba akafaananyi ng’osanze akapande ku kkubo akagamba nti “Lino Lye Kkubo Erikutuusa ewa Sitaani.” Ani ku ffe ayinza okukwata ekkubo eryo? Kyokka Pawulo akiraga nti n’Abakristaayo ab’amazima basobola okwesanga nga “bakyamiziddwa ne bagoberera Sitaani.” (Soma 1 Timoseewo 5:11-15.) Wadde ng’ebigambo ebyo Pawulo yabiwandiikira ‘bannamwandu abaali bakyali abato,’ ebigambo ebyo ffenna bitukwatako. Bannamwandu abo bayinza okuba nga baali tebakimanyi nti bagoberera Sitaani, naye ebyo bye baali bakola ne bye baali boogera byali biraga nti bamugoberera. Tuyinza tutya okwewala okugoberera Sitaani? Ka twetegereze okulabula kwa Pawulo okukwata ku lugambo.

15. Kiki Sitaani ky’ayagala, era bintu ki Pawulo by’ayogerako Sitaani by’akozesa okutubuzaabuza?

15 Sitaani tayagala twogere ku ebyo bye tukkiririzaamu—ayagala tulekere awo okubuulira amawulire amalungi. (Kub. 12:17) Ayagala tumalire ebiseera byaffe ku bintu ebitaliimu oba ku bintu ebireeta enjawukana mu bantu ba Yakuwa. Pawulo alaga ebimu ku bintu Sitaani by’akozesa okutubuzaabuza. Yagamba nti bannamwandu abaaliwo mu kiseera kye baali ‘babeera awo nga tebalina kye bakola, nga batambula okubuna amayumba.’ Ku mulembe guno ogwa tekinologiya, naffe tusobola okwesanga nga twonoona ebiseera byaffe bingi awamu n’eby’abalala nga tusaasaanya ebintu ebitali bikulu oba ebitali bituufu. Era Pawulo yagamba nti bannamwandu abo baalina “olugambo.” Abantu ab’eŋŋambo oluusi boogera eby’obulimba ku balala, ekintu ekiyinza okuvaamu ennyombo. (Nge. 26:20) Ka babe nga bakimanyi oba nedda, abo aboogera eby’obulimba ku balala balinga Sitaani Omulyolyomi.c Bannamwandu abo era baali “beeyingiza mu nsonga z’abalala.” Si buvunaanyizibwa bwaffe okubuulira abalala engeri gye balina okutambuzaamu obulamu bwabwe. Ebintu ebyo byonna bye tulabye bisobola okutuwugula okuva ku mulimu gw’okubuulira Obwakabaka Yakuwa gwe yatuwa. Bwe tulekera awo okubuulira n’obunyiikivu, tuba tutandise okugoberera Sitaani. Tetusobola kubeera ku ludda lwa Yakuwa ate nga mu kiseera kye kimu tuli ku ludda lwa Sitaani.​—Mat. 12:30.

16. Magezi ki agayinza okutuyamba okwewala ‘okukyamizibwa ne tugoberera Sitaani’?

16 Okukolera ku magezi agali mu Bayibuli, kijja kutuyamba okwewala ‘okukyamizibwa ne tugoberera Sitaani.’ Lowooza ku magezi gano Pawulo g’awa. “Bulijjo mube n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe.” (1 Kol. 15:58) Okuba n’eby’okukola bingi mu mulimu gw’Obwakabaka kijja kutuyamba obutamalira biseera byaffe ku bintu ebitali bikulu era ebiyinza okuba eby’akabi gye tuli. (Mat. 6:33) Yogera “ekirungi ekizimba abalala.” (Bef. 4:29) Weewale okuwuliriza eŋŋambo n’okuzisaasaanya.d Yiga okwesiga bakkiriza banno n’okubawa ekitiibwa. Ekyo kijja kukuyamba okwogera ebigambo ebizimba abalala mu kifo ky’okwogera ebyo ebibamalamu amaanyi. ‘Kifuule kiruubirirwa kyo obuteeyingizanga mu bya balala.’ (1 Bas. 4:11) Laga nti ofaayo ku balala, naye weewale okweyingiza mu nsonga z’abalala ezitakukwatako. Ate era kijjukire nti tetulina kukakaatika ndowooza zaffe ku balala ku nsonga ze balina okwesalirawo.​—Bag. 6:5.

17. (a) Lwaki Yakuwa atubuulira ebintu bye tulina okwewala? (b) Bwe kituuka ku kkubo Yakuwa ly’ayagala tukwate, kiki ky’omaliridde okukola?

17 Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Yakuwa atubuulira ebintu bye tusaanidde okwewala! Teweerabira nti okulabula Yakuwa kw’atuwa kwe tulabye mu kitundu kino n’ekyayita, akutuwa olw’okuba atwagala. Tayagala tugwe mu mitawaana egiva mu kugoberera ‘obupande’ bwa Sitaani obubuzaabuza. Ekkubo Yakuwa ly’atugamba okukwata lya kanyigo, naye litutuusa mu bulamu obutaggwaawo. (Mat. 7:14) N’olwekyo, ka tube bamalirivu okukolera ku bigambo bya Yakuwa bino: “Lino lye kkubo, mulitambuliremu.”—Is. 30:21.

[Obugambo obuli wansi]

a “Obwewagguzi” kwe kweggya mu kusinza okw’amazima, okukujeemera, n’okukuwakanya.

b Ekitabo kya Tobit (Tobias) abantu abamu kye balowooza okuba nti kyaluŋŋamizibwa kye kimu ku ngero ez’obulimba ezaaliwo mu kiseera kya Pawulo. Kyawandiikibwa mu kyasa eky’okusatu E.E.T. Ekitabo ekyo kijjudde enjigiriza ez’obulimba n’engero ez’obufuusa naye kyo kigamba nti ntuufu.—Laba ekitabo Insight on the Scriptures, Omuzingo 1, olupapula 122.

c Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “Omulyolyomi” kiri di·aʹbo·los, ekitegeeza “ayogera eby’obulimba ku balala.” Ekigambo kino kikozesebwa ku Sitaani, omulimba lukulwe.—Yok. 8:44; Kub. 12:9, 10.

d Laba akasanduuko “Okusaasaanya Ebyoya mu Mpewo.”

Wandizzeemu Otya?

Oyinza otya okukolera ku kulabula okuli mu byawandiikibwa bino?

• 2 Peetero 2:1-3

• 1 Timoseewo 1:3, 4

• 1 Timoseewo 5:11-15

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Okusaasaanya Ebyoya mu Mpewo

Waliwo olugero lw’Abayudaaya olw’edda olulaga akabi akali mu kusaasaanya eŋŋambo.

Omusajja omu kalirugambo yagenda abunyisa ebigambo eby’obulimba ku musajja ow’amagezi eyali ku kyalo ekimu. Oluvannyuma kalirugambo oyo yalaba ensobi ye n’agenda okwetondera omusajja ow’amagezi, era n’amugamba nti mwetegefu okukola kyonna ky’amugamba asobole okumusonyiwa. Omusajja ow’amagezi yamusaba akole ekintu kimu kyokka: Yamugamba afune akatto akalimu ebyoya, akasale, abiggyemu, abikasuke mu bbanga empewo ebitwale. Wadde nga teyategeera nsonga lwaki yamugamba okukola bw’atyo, kalirugambo yakola ekyo omusajja ow’amagezi kye yamugamba okukola.

Bwe yamaliriza, yabuuza omusajja ow’amagezi nti, “Kati onsonyiye?”

Omusajja ow’amagezi yamuddamu nti, “Sooka ogende okuŋŋaanye ebyoya byonna ebyabadde mu katto.”

Kalirugambo yagamba nti, “Ekyo nga kizibu! Ebyoya byonna empewo yabitutte n’ebisaasaanya.”

Omusajja ow’amagezi yamuddamu nti, “Nga bw’otosobola kukuŋŋaanya byoya ebyo byonna, bwe kityo tosobola kwerabiza bantu ebyo byonna bye wanjogerako.”

Kiki kye tuyigamu? Ebigambo bwe bimala okufuluma mu kamwa, biba tebikyasobola kuddayo, era kiyinza okuba ekizibu ennyo okutereeza ebyo ebiba bisobye olw’ebigambo bye tuba twogedde. N’olwekyo, bwe tuba tetunnatandika kusaasaanya lugambo, tusaanidde okukijjukira nti singa tulusaasaanya, tujja kuba ng’abasaasaanyizza ebyoya mu mpewo.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Tuyinza tutya okwaniriza bakyewaggula mu maka gaffe?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share