“Batuuze ab’Akaseera Obuseera” mu Nsi Embi
‘Bano bonna baalina okukkiriza era baayatula mu lujjudde nti baali bagenyi era batuuze ab’akaseera obuseera mu nsi gye baalimu.’—BEB. 11:13.
1. Ku bikwata ku nsi, kiki Yesu kye yayogera ku bagoberezi be?
YESU yagamba nti abayigirizwa be “bali mu nsi.” Naye yagattako nti: “Si ba nsi nga nange bwe siri wa nsi.” (Yok. 17:11, 14) Ebigambo bye biraga bulungi engeri Abakristaayo ab’amazima gye basaanidde okutunuuliramu ensi. Sitaani ye katonda ‘w’enteekateeka ey’ebintu eno.’ (2 Kol. 4:4) Wadde nga bali mu nsi eno embi, si ba nsi. ‘Bagwira era batuuze ab’akaseera obuseera’ mu nteekateeka eno ey’ebintu.—1 Peet. 2:11.
Baali ‘ng’Abatuuze ab’Akaseera Obuseera’
2, 3. Lwaki tuyinza okugamba nti Enoka, Nuuwa, Ibulayimu ne Saala baali “bagenyi era batuuze ab’akaseera obuseera”?
2 Okuva edda n’edda, abaweereza ba Yakuwa abeesigwa bazze bakiraga nti ba njawulo ku bantu abatatya Katonda. Enoka ne Nuuwa, abaaliwo ng’Amataba teganabaawo, ‘baatambulira wamu ne Katonda.’ (Lub. 5:22-24; 6:9) Bombi baabuulira n’obuvumu obubaka bwa Yakuwa obw’omusango gwe yali asalidde ensi ya Sitaani. (Soma 2 Peetero 2:5; Yuda 14, 15.) Olw’okuba baatambula ne Katonda mu nsi ey’abantu abatatya Katonda, Enoka ‘yasanyusa Katonda’ ne Nuuwa ‘teyalina kabi mu mirembe gye.’—Beb. 11:5; Lub. 6:9.
3 Ibulayimu ne Saala baagondera Katonda ne bava mu kibuga Uli eky’Abakaludaaya ne basalawo okubeera abagwira mu nsi endala. (Lub. 11:27, 28; 12:1) Omutume Pawulo yawandiika nti: “Olw’okukkiriza, Ibulayimu bwe yayitibwa, yalaga obuwulize n’agenda mu kifo kye yali agenda okufuna ng’obusika; yagenda wadde nga yali tamanyi gy’alaga. Olw’okukkiriza, yabeera mu nsi eyamusuubizibwa ng’alinga ali mu nsi engwira, n’abeera mu weema ne Isaaka ne Yakobo, basika banne ab’ekisuubizo kye kimu.” (Beb. 11:8, 9) Ng’ayogera ku baweereza ba Yakuwa abo abeesigwa, Pawulo yagamba nti: “Bano bonna baafa nga balina okukkiriza wadde ng’ebisuubizo tebyatuukirizibwa mu kiseera kyabwe, naye baabirengerera wala ne babisanyukira era ne baatula mu lujjudde nti bagenyi era batuuze ab’akaseera obuseera mu nsi gye baalimu.”—Beb. 11:13.
Okulabula eri Abaisiraeri
4. Kulabula ki Yakuwa kwe yawa Abaisiraeri bwe yali tannabawa nsi yaabwe?
4 Bazzukulu ba Ibulayimu, Abaisiraeri, bwe baayala, Katonda yabafuula eggwanga era n’abawa Amateeka n’ensi eyaabwe ku bwabwe. (Lub. 48:4; Ma. 6:1) Abaisiraeri baali tebalina kwerabira nti Yakuwa ye yali Nnannyini nsi mwe baali. (Leev. 25:23) Baalina okugondera amateeka ga Yakuwa. Ate era baalina okukijjukira nti “omuntu taba mulamu na mmere yokka”; tebaalina kukkiriza bya bugagga kubaleetera kwerabira Yakuwa. (Ma. 8:1-3) Eyo ye nsonga lwaki bwe yali tannabawa nsi yaabwe, Yakuwa yabalabula ng’agamba nti: “Mukama Katonda wo bw’alikuyingiza mu nsi gye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo okugikuwa: ebibuga ebinene ebirungi by’otaazimba, n’ennyumba ezijjudde ebirungi byonna, z’otajjuza, n’ebidiba ebyasimibwa, by’otaasima, ensuku ez’emizabibu n’emizeyituuni, gy’otaasimba, n’olya n’okkuta; n’olyoka weekuuma olemenga okwerabira Mukama.”—Ma. 6:10-12.
5. Lwaki Yakuwa yalekera awo okutwala Abaisiraeri ng’abantu be, era ggwanga ki eriggya lye yalonda?
5 Abaisiraeri baakolera ddala ekyo Yakuwa kye yali abagaanye okukola. Mu kiseera kya Nekkemiya, waliwo Abaleevi abaayogera ne nnaku ku ngeri Abaisiraeri gye beeyisaamu nga bamaze okuyingira mu Nsi Ensuubize. Abaisiraeri bwe baayingira mu Nsi Ensuubize ne batandika okusula mu mayumba amalungi, nga balina emmere nnyingi n’omwenge, ‘baalya ne bakkuta, ne bagejja.’ N’ekyavaamu, baajeemera Katonda, ne batuuka n’okutta bannabbi be yatumanga okubalabula. Bw’atyo Yakuwa yabawaayo mu mukono gw’abalabe baabwe. (Soma Nekkemiya 9:25-27; Kos. 13:6-9) Oluvannyuma lw’emyaka mingi, nga bali wansi w’obufuzi bwa Rooma, Abayudaaya abataalina kukkiriza baatuuka n’okutta Masiya eyasuubizibwa! Yakuwa yalekera awo okubatwala ng’abantu be n’asalawo okulonda eggwanga eriggya, Isiraeri ow’omwoyo.—Mat. 21:43; Bik. 7:51, 52; Bag. 6:16.
“Temuli ba Nsi”
6, 7. (a) Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti abagoberezi be si ba nsi? (b) Kiki Peetero kye yayogera ekiraga nti Abakristaayo tebalina kuba ba nsi?
6 Nga bwe tulabye ku ntandikwa y’ekitundu kino, Omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo, Yesu Kristo, yakiraga bulungi nti abagoberezi be si ba nsi, enteekateeka ya Sitaani ey’ebintu embi. Bwe yali anaatera okuttibwa, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo. Naye olw’okuba nnabalonda okuva mu nsi, temuli ba nsi, era olw’ensonga eyo ensi ky’eva ebakyawa.”—Yok. 15:19.
7 Abakristaayo bwe bandyeyongedde obungi ne batandika okubeera mu bitundu by’ensi ebitali bimu, bandibadde bafuuka ba nsi ne batandika okweyisa ng’abantu b’ensi? Nedda. Yonna gye bandibadde, bandibadde balina okuba ab’enjawulo. Nga wayise emyaka nga 30 oluvannyuma lw’okufa kwa Kristo, omutume Peetero yawandiikira Abakristaayo abaali babeera mu bitundu ebitali bimu ebyali bifugibwa Rooma n’abagamba nti: “Abaagalwa, mbabuulirira ng’abagwira era abatuuze ab’akaseera obuseera mwewale ebyo omubiri bye gwegomba ebirwanyisa obulamu bwammwe. Mubeerenga n’empisa ennungi mu b’amawanga.”—1 Peet. 1:1; 2:11, 12.
8. Kiki munnabyafaayo omu kye yayogera ekiraga nti Abakristaayo abaasooka tebaali ba nsi?
8 Ng’alaga nti Abakristaayo abaasooka beeyisanga “ng’abagwira era abatuuze ab’akaseera obuseera” mu nsi ya Rooma, munnabyafaayo ayitibwa Kenneth Scott Latourette yagamba nti Abakristaayo mu Rooma baayigganyizibwa nnyo. Yagamba nti baali bavunaanibwa obutakkiririza mu Katonda olw’okuba baagaana okwenyigira mu mikolo egyalina akakwate n’okusinza okw’obulimba. Baatwalibwanga ng’abantu “abakyawa abantu abalala” kubanga baagaananga okwegatta ku bantu abaali babeetoolodde mu binyumu n’emikolo egy’ekikaafiiri egyali gijjudde ebikolwa eby’obugwenyufu.
Obutakozesa Nsi mu Bujjuvu
9. Ng’Abakristaayo ab’amazima, tulaga tutya nti ‘tetukyawa bantu balala’?
9 Ate kiri kitya leero? Okufaananako Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka naffe tetuli ba “nteekateeka y’ebintu eno embi.” (Bag. 1:4) Eyo ye nsonga lwaki abantu bangi tebatutegeera era abamu batuuka n’okutukyawa. Naye ffe ‘tetukyawa bantu balala’ ng’abamu bwe balowooza. Olw’okuba twagala abantu abalala, tufuba okugenda nnyumba ku nnyumba tusobole okutuusa ‘amawulire amalungi ag’obwakabaka bwa Katonda’ ku buli muntu. (Mat. 22:39; 24:14) Kino tukikola olw’okuba tuli bakakafu nti Obwakabaka bwa Yakuwa, nga Kristo ye Kabaka waabwo, bunaatera okuzikiriza obufuzi bw’abantu abatatuukiridde, buleete ensi empya ey’obutuukirivu.—Dan. 2:44; 2 Peet. 3:13.
10, 11. (a) Tukozesa tutya ensi? (b) Abakristaayo abali obulindaala beewala batya okukozesa ensi mu bujjuvu?
10 Olw’okuba enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu eneetera okutuuka, tukimanyi nti kino si kye kiseera okukozesa mu bujjuvu ensi eno enaatera okusaanawo. Omutume Pawulo yagamba nti: “Ab’oluganda, mbagamba nti ekiseera ekisigaddeyo kitono. N’olwekyo, abo . . . abagula babe ng’abatalina bintu, era n’abo abakozesa ensi babe ng’abo abatagikozesa mu bujjuvu; kubanga embeera y’ensi eno ekyukakyuka.” (1 Kol. 7:29-31) Kati olwo tukozesa tutya ensi? Tugikozesa nga tukozesa tekinologiya ali ku mulembe n’eby’empuliziganya ebitali bimu okubunyisa obubaka bwa Bayibuli mu nsi yonna mu nnimi nnyingi. Tukola emirimu tusobole okufunayo akasente okweyimirizaawo. Era tugula ebintu ebyetaagisa mu bulamu. Kyokka, twewala okukozesa ensi mu bujjuvu. Kino kitegeeza nti ssente, ebintu, n’emirimu si bye tukulembeza mu bulamu bwaffe.—Soma 1 Timoseewo 6:9, 10.
11 Engeri endala Abakristaayo abali obulindaala gye beewalamu okukozesa ensi mu bujjuvu kwe kwewala endowooza ensi gy’erina ku buyigirize. Abantu bangi mu nsi eno balowooza nti omuntu okusobola okuba obulungi mu bulamu alina okugenda ku yunivasite, afune omulimu omulungi, asobole okufuna ssente ennyingi. Naye ng’abatuuze ab’akaseera obuseera ffe tetulowooza nga bo. Twewala ‘okwegulumiza.’ (Bar. 12:16; Yer. 45:5) Tukolera ku kulabula kwa Yesu kuno: “Mutunule era mwekuume okwegomba okwa buli ngeri, kubanga omuntu ne bw’aba n’ebintu ebingi, obulamu bwe tebuva ku bintu ebingi by’aba nabyo.” (Luk. 12:15) Bwe kityo, abavubuka Abakristaayo basaanidde okukijjukira nti ekintu ekisinga obukulu kwe kuweereza Yakuwa. Bafuna obuyigirize obwo bwokka obunaabasobozesa okwetuusaako ebyetaago byabwe eby’omubiri basobole okuweereza Yakuwa ‘n’omutima gwabwe gwonna, n’obulamu bwabwe bwonna, n’amaanyi gaabwe gonna, n’amagezi gaabwe gonna.’ (Luk. 10:27) Bwe bakola batyo, basobola okufuuka ‘abagagga mu maaso ga Katonda.’—Luk. 12:21; soma Matayo 6:19-21.
Weewale Okweraliikirira eby’Obulamu
12, 13. Okukolera ku bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 6:31-33 kitwawulawo kitya ku bantu b’ensi?
12 Enjawulo endala eri wakati waffe n’abantu b’ensi ye ndowooza gye tulina ku bintu. Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Temweraliikiriranga nga mugamba nti, ‘Tunaalya ki?’ oba nti, ‘Tunaanywa ki?’ oba nti, ‘Tunaayambala ki?’ Ebintu bino byonna amawanga bye geemalirako. Kitammwe ali mu ggulu amanyi nti ebintu bino byonna mubyetaaga. Kale musooke munoonyenga obwakabaka n’obutuukirivu bwe, era ebintu ebirala byonna biribongerwako.” (Mat. 6:31-33) Bangi ku ffe ebintu bye tuyiseemu mu bulamu bitulaze nti Kitaffe ow’omu ggulu awa abaweereza be ebintu bye beetaaga.
13 “Okwemalira ku Katonda wamu n’okuba omumativu bivaamu amagoba.” (1 Tim. 6:6) Naye abantu b’ensi bo si bwe batyo bwe balowooza. Ng’ekyokulabirako, abavubuka bangi bwe baba baakafumbiriganwa, baba baagala okufunirawo ebintu byonna bye baagala—ennyumba erimu buli kimu, emmotoka ennungi, n’ebintu eby’amasannyalaze ebiri ku mulembe. Naye Abakristaayo abatambuza obulamu bwabwe ng’abatuuze ab’akaseera obuseera beefuga ne beewala okugula ebintu ebisukka ku busobozi bwabwe. Kya ssanyu okulaba nti waliwo Abakristaayo bangi abasazeewo okwerekereza ebintu ebimu okusobola okukozesa ebiseera byabwe n’amaanyi gaabwe okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Abamu basobodde okuweereza nga bapayoniya, Ababeseri, abalabirizi abatambula, oba abaminsani. Nga tusiima nnyo bakkiriza bannaffe abaweereza Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna!
14. Olugero lwa Yesu olw’omusizi lutuyigiriza ki?
14 Mu lugero lwe olw’omusizi, Yesu yagamba nti “okweraliikirira kw’obulamu obw’omu kiseera kino n’obulimba bw’obugagga” bisobola okutuleetera okuddirira mu buweereza bwaffe eri Yakuwa. (Mat. 13:22) Naye kino tekijja kututuukako singa tweyongera okweyisa ng’abatuuze ab’akaseera obuseera mu nsi eno era ne tuba bamativu olw’ekyo kye tuli. Tujja kuba n’eriiso ‘eriraba awamu,’ oba ‘eritalabankana,’ nga twemalira ku kuweereza Katonda era nga tukulembeza Obwakabaka bwe mu bulamu bwaffe.—Mat. 6:22, ftn.
“Ensi Eggwaawo”
15. Kiki omutume Yokaana kye yayogera ku nsi eno?
15 Emu ku nsonga enkulu lwaki ffe ng’Abakristaayo ab’amazima tweyisa ‘ng’abagwira era abatuuze ab’akaseera obuseera’ mu nsi eno eri nti tukimanyi bulungi nti enaatera okuzikirizibwa. (1 Peet. 2:11; 2 Peet. 3:7) Okumanya ekyo kikwata ku ngeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe—bye tusalawo mu bulamu, bye twagala, n’ebiruubirirwa byaffe. Omutume Yokaana yagamba bakkiriza banne obutayagala nsi n’ebintu ebiri mu nsi kubanga “ensi eggwaawo n’okwegomba kwayo, naye oyo akola Katonda by’ayagala abeerawo emirembe gyonna.”—1 Yok. 2:15-17.
16. Tuyinza tutya okulaga nti tuli bamu ku bantu Yakuwa b’ayawuddewo ku bantu abali mu nsi ya Sitaani?
16 Yakuwa yagamba Abaisiraeri nti bwe bandimugondedde, bandifuuse ‘ekintu kye ekiganzi mu mawanga gonna.’ (Kuv. 19:5) Abaisiraeri bwe baagonderanga Yakuwa, baabanga ba njawulo ku mawanga amalala gonna mu ngeri gye baasinzangamu ne mu ngeri gye beeyisangamu. Ne leero, abantu ba Yakuwa ba njawulo nnyo ku bantu abali mu nsi ya Sitaani. Bayibuli etukubiriza “okwewala obutatya Katonda n’okwegomba okw’omu nsi.” Era etukubiriza “okubeera n’endowooza ennuŋŋamu, n’obutuukirivu, n’okwemalira ku Katonda mu nteekateeka eno ey’ebintu, nga tulindirira essuubi ery’ekitalo, n’okulabisibwa okw’ekitiibwa okwa Katonda omukulu, n’okw’Omulokozi waffe Kristo Yesu, eyeewaayo ku lwaffe asobole okutununula mu bujeemu obwa buli ngeri n’okwerongooseza abantu be abanyiikirira ebikolwa ebirungi.” (Tit. 2:11-14) Mu ‘bantu’ abo mwe muli Abakristaayo abaafukibwako amafuta awamu n’obukadde n’obukadde bw’abagoberezi ba Yesu ‘ab’endiga endala’ abakolera awamu nabo.—Yok. 10:16.
17. Lwaki abaafukibwako amafuta ne bannaabwe ab’endiga endala tebajja kwejjusa olw’okweyisa ng’abatuuze ab’akaseera obuseera mu nsi eno embi?
17 “Essuubi ery’ekitalo” abaafukibwako amafuta lye balina kwe kufugira awamu ne Kristo mu ggulu. (Kub. 5:10) Ab’endiga endala bo essuubi lyabwe lya kubeera ku nsi emirembe gyonna. Kino bwe kinaatuukirira, ab’endiga endala bajja kuba tebakyali batuuze ab’akaseera obuseera mu nsi embi. Bajja kuba n’amayumba amalungi awamu n’eby’okulya n’eby’okunywa bingi. (Zab. 37:10, 11; Is. 25:6; 65:21, 22) Tebajja kwerabira Yakuwa ng’Abaisiraeri bwe baakola. Bajja kukijjukiranga nti ebintu byonna bye banaaba nabyo, bijja kuba biva eri Yakuwa, ‘Katonda ow’ensi zonna.’ (Is. 54:5) Abaafukibwako amafuta awamu n’ab’endiga endala tebajja kwejjusa olw’okweyisa ng’abatuuze ab’akaseera obuseera mu nsi eno embi.
Wandizzeemu Otya?
• Abaweereza ba Katonda ab’edda beeyisa batya ng’abatuuze ab’akaseera obuseera?
• Abakristaayo abaasooka baalaga batya nti tebaali ba nsi?
• Abakristaayo ab’amazima bakozesa batya ensi?
• Lwaki tetujja kwejjusa olw’okweyisa ng’abatuuze ab’akaseera obuseera mu nsi eno embi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Abakristaayo abaasooka beewalanga eby’okwesanyusaamu ebyalimu ebikolwa eby’obukambwe n’eby’obugwenyufu