Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika bwafuuka ddi obufuzi kirimaanyi obw’omusanvu?
▪ Ekifaananyi ekinene Kabaka Nebukadduneeza kye yalaba mu kirooto, tekikiikirira bufuzi kirimaanyi bwonna obwali bubaddewo ku nsi. (Dan. 2:31-45) Ekifaananyi ekyo kikiikirira obufuzi kirimaanyi butaano bwokka obulwanyisizza abantu ba Katonda okuva mu kiseera kya Danyeri n’okweyongerayo.
Ebyo Danyeri bye yayogera ku kifaananyi ekinene biraga nti Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika bwandivudde mu bwakabaka bwa Rooma naye tebwandigiwambye buwambi. Danyeri yagamba nti ekyuma kitandikira mu magulu g’ekifaananyi ne kituukira ddala mu bigere ne mu bugere bwakyo. (Mu bigere ne mu bugere, ekyuma kitabuddwamu ebbumba.)a Ekyo kiraga nti Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika bwandivudde mu Rooma, ekiikirirwa amagulu ag’ekyuma. Ebyafaayo biraga bulungi nti ekyo kyennyini kye kyaliwo. Emyaka gya 1700 bwe gyali ginaatera okuggwako, Bungereza, eyaliko etwale lya Rooma, yatandika okufuuka eggwanga ery’amaanyi. Oluvannyuma, Amerika nayo yafuuka eggwanga ery’amaanyi. Naye mu kiseera ekyo Bungereza n’Amerika zaali tezinnafuuka bufuzi kirimaanyi obw’omusanvu obwogerwako mu Bayibuli. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga mu kiseera ekyo Bungereza n’Amerika zaali tezinnatandika kukolera wamu mu ngeri ey’enjawulo. Zaatandika okukolera awamu mu ngeri ey’enjawulo mu kiseera kya Ssematalo I.
Mu kiseera ekyo, ‘abaana b’obwakabaka’ okusingira ddala baali babuulira mu Amerika, ng’ekitebe kyabwe ekikulu kiri mu Brooklyn, New York. (Mat. 13:36-43) Abakristaayo abaafukibwako amafuta era baali babuulira ne mu bitundu ebyali bifugibwa obwakabaka bwa Bungereza. Mu kiseera kya Ssematalo I, Bungereza n’Amerika baakola omukago ogw’enjawulo ne balwanyisa abalabe baabwe. Olw’okuba olutalo olwo lwaleetera Bungereza n’Amerika okweyongera okuba n’omwoyo gwa ggwanga, ensi ezo zaatandika n’okulwanyisa ab’ezzadde “ly’omukazi” wa Katonda. Zaawera ebitabo byabwe era ne zisiba mu kkomera ab’oluganda abaali batwala obukulembeze mu mulimu gw’okubuulira.—Kub. 12:17.
N’olwekyo, okusinziira ku bunnabbi bwa Bayibuli, Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika tebwafuuka bufuzi kirimaanyi obw’omusanvu ng’emyaka gya 1700 ginaatera okuggwako, Bungereza we yatandikira okufuuka eggwanga ery’amaanyi. Bwafuuka obufuzi kirimaanyi obw’omusanvu ku ntandikwa y’olunaku lwa Mukama waffe.b
[Obugambo obuli wansi]
a Ebbumba eritabuddwa mu kyuma likiikirira abantu abali mu bitundu Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika bwe birinako obuyinza. Ekiseera bwe kizze kiyitawo, “ebbumba” eryo linafuyizza Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika.
b Ennyinnyonnyola eno etangaaza ku ebyo ebyafulumira mu katabo Obunnabbi bwa Danyeri olupapula 57, akatundu 24, n’ebipande ebiri ku lupapula 56 ne 139.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Ab’oluganda munaana abaali ku kitebe kyaffe ekikulu baasindikibwa mu kkomera mu Jjuuni 1918