Ba n’Enkolagana Ennungi n’Oyo Awulira Okusaba
ABANTU bangi bagamba nti bakkiririza mu Katonda naye nga tebasobola kuwa nsonga lwaki bamukkiririzaamu. Ate era tebasobola kunnyonnyola nsonga lwaki amadiini mangi gakola ebintu ebibi oba lwaki Katonda aleseewo okubonaabona. Mu butuufu, ne Katonda gwe basaba tebamumanyi.
Kyokka, obutafaananako bantu ng’abo, ggwe osobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. Okutegeera Katonda kijja kukuyamba okuba n’okukkiriza okunywevu, okumwagala, n’okumusiima. Okusobola okuba n’okukkiriza okunywevu olina okuba omukakafu ku ekyo ky’okkiririzaamu. (Abebbulaniya 11:1) Bw’oyiga amazima agakwata ku Katonda, osobola okumumanya n’okwogera naye nga bw’oyogera ne mukwano gwo. Lowooza ku byokulabirako bino wammanga eby’abantu abaasabanga wadde nga baali babuusabuusa nti Katonda gyali.
◼ Patricia, eyayogeddwako mu kitundu ekisooka agamba nti: Lumu nnava awaka ne ŋŋenda ewa mikwano gyange ne mbagamba nti ekyali kinzigye awaka kwe kuba nti taata, eyali takkiririza mu Katonda, yali akubaganya ebirowoozo n’Omujulirwa wa Yakuwa ku by’eddiini. Ekyo kyaleetera mikwano gyange okutandika okwogera ku by’eddiini era omu ku bo yagamba nti, ‘Oboolyawo Abajulirwa ba Yakuwa bye bayigiriza bituufu.’
“Omulala yagamba nti: ‘Lwaki tetugendako gye basabira tukakase?’ Era ekyo kyennyini kye twakola. Wadde nga twali tukyabuusabuusa, abamu ku ffe tweyongera okugenda mu nkuŋŋaana zaabwe olw’okuba baali batufaako nnyo.
“Kyokka, mu lukuŋŋaana olumu ku Ssande waliwo bye nnawulira ebyandeetera okukyusa endowooza yange. Eyali ayigiriza yannyonnyola ensonga lwaki abantu babonaabona. Nnali sikimanyi nti omuntu eyasooka okutondebwa yali atuukiridde era nti ekibi n’okufa byatandikira ku muntu oyo ne bibuna ku bantu bonna. Ate era yannyonnyola ensonga lwaki kyali kyetaagisa Yesu okuwaayo obulamu bwe asobole okuyamba abantu okufuuka abatuukiridde ng’omuntu eyasooka bwe yali.a (Abaruumi 5:12, 18, 19) Ebyo byannyamba okwongera okutegeera ebintu ebirala bingi. Nnakitegeera nti ddala Katonda gyali era atufaako. Nneeyongera okuyiga Bayibuli era oluvannyuma lw’ekiseera kitono, nnatandika okusaba nga ndi mukakafu nti Katonda awulira essaala zange.”
◼ Allan, nga naye yayogeddwako mu kitundu ekisooka, agamba nti: “Lumu Abajulirwa ba Yakuwa baatukyalira, ne batugamba nti abantu bajja kubeera ku nsi emirembe gyonna. Mukyala wange yabaaniriza mu nju ng’ayagala okumanya ebisingawo. Ekyo kyannyiiza nnyo. Nnaleka abagenyi mu ddiiro ne ntwala mukyala wange mu ffumbiro ne mmugamba nti, ‘Lwaki okkiriza okukubuzaabuza? Tokkiriza bintu ng’ebyo eby’obulimba!’
“Yanziramu nti, ‘Bwe kiba nti bambuzaabuza, oyinza okugenda n’obalaga nti bye bayigiriza si bituufu.’
“Ekituufu kiri nti, nnali sisobola kuwa bukakafu bulaga nti bye baali bayigiriza si bituufu. Wadde kyali kityo, bandaga ekisa era ne bandekera akatabo akannyonnyola nti ebintu tebyajja nga bifuukafuuka wabula byatondebwa. Akatabo ako kaali kannyonnyola bulungi nnyo ensonga eyo era kandeetera okwagala okweyongera okuyiga ebikwata ku Katonda. Nnakkiriza Abajulirwa ba Yakuwa banjigirize Bayibuli, era mu kiseera kitono nnakitegeera nti Bayibuli by’eyigiriza bya njawulo nnyo ku ebyo bye nnali mmanyi. Bwe nneeyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa, nnatandika okumusaba okuviira ddala ku mutima. Nnalina endowooza enkyamu era nnasaba Katonda annyambe okuzeggyamu. Ndi mukakafu nti Katonda yaddamu essaala zange.”
◼ Andrew, abeera mu Bungereza, agamba nti: “Wadde nga waaliwo ebintu ebikwata ku sayansi bye nnali mmanyi obulungi era nga mbyagala nnyo, enjigiriza egamba nti ebintu byajja bifuukafuuka nnali ngikkiririzaamu olw’okuba waaliwo abaali bagamba nti ntuufu. Nnali sikkiriza nti Katonda gyali, olw’okuba waliwo okubonaabona.
“Oluusi nneebuuzanga nti: ‘Bwe kiba nti Katonda gyali, obulamu bulina kigendererwa ki? Lwaki waliwo obumenyi bw’amateeka n’entalo nnyingi?’ Bwe nnafunanga ebizibu, oluusi nnasabanga, naye nga gwe nsaba simumanyi.
“Naye waliwo eyawa mukyala wange ka tulakiti akalina omutwe ogugamba nti Ensi Eno Eneewonawo? Ekibuuzo ekyo kyennyini kye nnali nneebuuza. Bye nnasoma mu ka tulakiti ako byandeetera okwagala okumanya ebiri mu Bayibuli. Oluvannyuma lw’ekiseera, nga nnina gye ŋŋenze okuwummulirako, waliwo eyampa akatabo akalina omutwe ogugamba nti, The Bible—God’s Word or Man’s?b Bwe nnakitegeera nti Bayibuli ekwatagana ne sayansi, nnakiraba nti nneetaaga okwongera okugiyiga. Bwe kityo, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa bwe yaŋŋamba nti ayagala okunjigiriza Bayibuli, nnakiriza. Bwe nneeyongera okutegeera ekigendererwa kya Yakuwa, yafuuka wa ddala gye ndi era nnatandika okumusaba nga siriimu kubuusabuusa kwonna.”
◼ Omukyala ayitibwa Jan, abeera mu Bungereza eyakuzibwa mu ddiini ey’Ekipolotesitanti agamba nti: “Obunnanfuusi obuli mu madiini n’okubonaabona okungi okuliwo byandetera okwetamwa eby’eddiini. Ate era nnava mu ssomero ne ntandika okuyimba n’okukuba ggita nsobole okufuna ssente. Ekyo kye kiseera mwe nnasisinkanira omuvubuka ayitibwa Pat. Yakuzibwa mu ddiini ey’Ekikatuliki era nga naye yali yakoowa eby’eddiini.
“Twasulanga mu kifulukwa awamu n’abavubuka abalala abaali bavudde mu ssomero abaali baagala ennyo amadiini ag’omu Asiya. Twakubaganyanga ebirowoozo ku kigendererwa ky’obulamu okutuusa amatumbi budde. Wadde nga nze ne Pat twali tetukkiririza mu Katonda, muli twali tuwulira nti ateekwa okuba nga gyali.
“Olw’okuba twali bayimbi, twasengukira mu mambuka ga Bungereza nga tunoonya omulimu, era eyo gye twazaalira mutabani waffe. Lumu mutabani waffe yalwala era nneesanga nsabye Katonda wadde nga nnali simukkiririzaamu. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, omukwano gwaffe ne Pat gwagenda gwonooneka era nnamuviira ne ŋŋenda n’omwana. Nnaddamu okusaba nga ndowooza nti wayinza okubaayo ampuliriza. Pat naye yali asaba, wadde nga nnali sikimanyi.
“Ku lunaku olwo, Abajulirwa ba Yakuwa babiri baakyalira Pat ne bamulaga agamu ku magezi amalungi agali mu Bayibuli. Pat yankubira essimu n’ansaba tuyigire wamu Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, twayiga nti okusobola okusanyusa Katonda, twali tulina okuwandiisa obufumbo bwaffe mu mateeka. Ekyo kyalabika ng’ekizibu ennyo olw’okuba omukwano gwaffe gwali guseebengeredde.
“Twali twagala okumanya ebikwata ku bunnabbi bwa Bayibuli, ku Bwakabaka bwa Katonda, n’ensonga lwaki waliwo okubonaabona. Mpolampola, twakitegeera nti Katonda atufaako era twali twagala okugondera ebiragiro bye. Twawandiisa obufumbo bwaffe mu mateeka. Amagezi agali mu Kigambo kya Katonda gatuyambye okukuza abaana baffe abasatu. Tuli bakakafu nti Yakuwa yaddamu essaala zaffe.”
Ggwe Kennyini Weekenneenye Obukakafu
Okufaananako obukadde n’obukadde bw’abantu abalala, abo aboogeddwako mu kitundu kino tebaamala gakkiriza njigiriza z’amadiini ag’obulimba wabula baasalawo okunoonyereza lwaki Katonda aleseewo okubonaabona. Weetegerezza nti bonna ekyabayamba okukakasa nti Yakuwa awulira essaala zaffe kwe kuyiga amazima agali mu Bayibuli?
Wandyagadde okufuna obukakafu obulaga nti Katonda gyali? Abajulirwa ba Yakuwa beetegefu okukuyamba okuyiga amazima agakwata ku Yakuwa, Oyo “awulira okusaba,” n’engeri gy’osobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye.— Zabbuli 65:2.
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo ku nsonga lwaki okufa kwa Yesu kwa muganyulo, laba essuula 5 eya akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
b Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 10]
“Bwe nneeyongera okutegeera ekigendererwa kya Yakuwa, yafuuka wa ddala gye ndi era nnatandika okumusaba nga siriimu kubuusabuusa kwonna”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Okusobola okuba n’okukkiriza okunywevu weetaaga okufuna obukakafu obulaga nti Katonda gyali n’okuyiga amazima agamukwatako