LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 8/15 lup. 31-32
  • Omulimu gw’Abatalaazi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Omulimu gw’Abatalaazi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 8/15 lup. 31-32

Etterekero Lyaffe

Omulimu gw’Abatalaazi

“SISOBOLA kubuulira nnyumba ku nnyumba!” Abayizi ba Bayibuli bangi abapya bwe batyo bwe batera okugamba bwe balowooza ku ky’okubuulira abantu be batamanyi. Naye ekyewuunyisa kiri nti ebigambo ebyo eyabyogera yali mutalaazi (pilgrim), eyali omwogezi alina obumanyirivu era eyali ayigiriza obulungi Bayibuli.

Abantu bangi abaali bavudde mu madiini gaabwe oluvannyuma lw’okusoma magazini ya Zion’s Watch Tower baali baagala nnyo okukuŋŋaana awamu n’abo abaali baagala amazima ga Bayibuli. Magazini eyo yakubiriza abantu ng’abo okunoonya abalala abaali baagala amazima bakuŋŋaanenga wamu okuyiga Bayibuli. Okuva mu 1894, Watch Tower Society yatandika okusindika ab’oluganda okugenda okukyalira ebibinja by’abantu abaabanga basabye okukyalirwa. Ab’oluganda abo baali bayitibwa abatalaazi. Baabanga balina obumanyirivu, nga banyiikivu, nga bawombeefu, nga bamanyi bulungi Ebyawandiikibwa, nga boogezi balungi, nga bayigiriza bulungi, era nga bakkiririza mu kinunulo. Baakyaliranga ekibinja okumala olunaku lumu oba bbiri. Abayizi ba Bayibuli bangi omulundi gwe baasookanga okugenda okubuulira baabanga bayita abantu okujja okuwuliriza emboozi y’omutalaazi. Lumu Ow’oluganda Hugo Riemer, oluvannyuma eyaweereza ku Kakiiko Akafuzi, bwe yamala okuwa emboozi akawungeezi, baamubuuza ebibuuzo okutuusa ekiro mu ttumbi. Wadde nga yali akooye nnyo, ow’oluganda oyo yali musanyufu nnyo era yagamba nti olukuŋŋaana olwo lwali “lunyuvu nnyo.”

Magazini ya Watch Tower yagamba nti “ensonga enkulu” lwaki abatalaazi baali bakyalira ebibinja kwe kunyweza “ennyumba ey’okukkiriza” okuyitira mu nkuŋŋaana ezaabanga mu maka g’abakkiriza. Abayizi ba Bayibuli abaabanga mu bitundu ebiriraanyeewo bajjanga okuwulira emboozi n’ebitundu ebyabangamu okubuuza ebibuuzo n’okuddamu. Oluvannyuma lw’enkuŋŋaana, waabangawo okulya emmere. Bwe yali akyali muwala muto, Maude Abbott yagenda okuwuliriza emboozi ku makya, era oluvannyuma lw’emboozi eyo abo abaaliwo baabagabula ekijjulo. Agamba nti: “Baatugabula embizzi, enkoko ensiike, emigaati egy’ebika eby’enjawulo, sumbuusa, ne keeki! Buli omu yalya n’akuta, era awo nga ku ssaawa munaana ez’olweggulo twaddamu okukuŋŋaana okuwuliriza emboozi endala. Naye emboozi eyo we yatandikira, kumpi buli omu yali asumagira.” Ow’oluganda Benjamin Barton eyamala emyaka mingi ng’aweereza ng’omutalaazi, lumu yagamba nti: ‘Singa nnalyanga ebyassava byonna bye bampanga, nnandibadde nnafa dda.’ Oluvannyuma waliwo ebbaluwa eyava ku kitebe kyaffe ekikulu e Brooklyn eyakubiriza bannyinaffe okufumbiranga abatalaazi emmere eya bulijjo etali nsiike n’okubawa obudde obumala okuwummula.

Abatalaazi baayigirizanga bulungi. Baakozesanga ebipande, ebintu bye baabanga bakoze, n’ebintu ebirala okusobola okuggyayo obulungi ensonga. Emboozi z’Ow’oluganda R. H. Barber zaabanga nnyuvu nnyo. Ow’oluganda W. J. Thorn yayogeranga “ng’abasajja abaaliwo mu biseera by’edda.” Lumu Ow’oluganda Shield Toutjian bwe baali bamuvuga mu mmotoka yagamba oyo eyali amuvuga okuyimirira. Yava mu mmotoka n’anoga ekimuli ku kkubo n’atandika okuyigiriza abaali mu mmotoka ebikwata ku butonde bwa Yakuwa.

Omulimu abatalaazi gwe baakolanga gwalimu okusoomooza kwa maanyi naddala eri abo abaali bakuze mu myaka. Naye abamu obuzibu obusinga okuba obw’amaanyi baabufuna bwe wajjawo enkyukakyuka mu ngeri omulimu gwabwe gye gwalina okukolebwamu. Kati baali balina okuwoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira nnyumba ku nnyumba. Magazini ya Watch Tower eya Maaki 15, 1924, yagamba nti “omulimu omukulu” Abakristaayo ab’amazima gwe balina okukola “kwe kuwa obujulirwa ku bwakabaka. Eyo ye nsonga lwaki abatalaazi basindikibwa okukyalira ebibinja.”

Abatalaazi abamu tebaasanyukira nkyukakyuka eyo. Abamu baalekayo omulimu gw’okukyalira ebibinja, ate abalala ne batandikawo amadiini agaabwe ku bwabwe. Ow’oluganda Robie D. Adkins yagamba nti omutalaazi omu eyali omwogezi omulungi yagamba nti: “Nze ekintu kyokka kye nsobola okukola kwe kubuulira nga ndi ku kituuti. Sisobola kubuulira nnyumba ku nnyuma!” Ow’oluganda Adkins yagamba nti: “Nnaddamu okumulabako mu 1924 ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Columbus, Ohio. Ye muntu eyali asingayo okuba omunakuwavu ku lukuŋŋaana olwo. Yali ayimiridde mu kisiikirize ky’omuti ng’atunuulira enkumi n’enkumi z’ab’oluganda abaali abasanyufu ennyo. Saddamu kumulabako. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, yava mu kibiina.” Ku luuyi olulala, “ab’oluganda bangi abaali abasanyufu baasitulanga bookisi z’ebitabo nga bazipakira mu mmotoka zaabwe,” nga beesunga okugenda okubuulira nnyumba ku nnyumba.​—Bik. 20:20, 21.

Abatalaazi bangi, okufaananako ab’oluganda be baalina okutendeka, baali batya okubuulira nnyumba ku nnyumba. Wadde kyali kityo, baabuuliranga n’obunyiikivu. Bwe yali ayogera ku kubuulira nnyumba ku nnyumba, omutalaazi Maxwell G. Friend eyali ayogera Olugirimaani yagamba nti, “Okubuulira nnyumba ku nnyumba kye kimu ku bintu ebireeta essanyu mu mulimu gw’abatalaazi.” Omutalaazi John A.  Bohnet yagamba nti ab’oluganda okutwalira awamu baasanyukira nnyo eky’okussa essira ku mulimu gw’okubuulira. Era yagamba nti ab’oluganda abasinga obungi “baali banyiikivu nnyo mu mulimu ogwo.”

Okumala emyaka mingi, abalabirizi abakyalira ebibiina bayambye nnyo bakkiriza bannaabwe. Ow’oluganda Norman Larson amaze emyaka mingi ng’aweereza Yakuwa yagamba nti, “Okuviira ddala mu buto, nnakiraba nti abatalaazi baali ba mugaso nnyo. Bannyamba nnyo okukola ekituufu mu maaso ga Yakuwa.” N’okutuusa leero, ab’oluganda abakyalira ebibiina booleka omwoyo ogw’okwefiiriza era bayamba bakkiriza bannaabwe okubuulira nnyumba ku nnyumba.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 32]

Olunaku omutalaazi lwe yakyaliranga ekibinja lwabanga lwa ssanyu nnyo!

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Emirundi gyonna Benjamin Barton gye yakyalira ebibinja mu 1905 gyali 170

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

Walter J. Thorn yali mutalaazi, ab’oluganda baamuyitanga Papa olw’okwoleka engeri ennungi ng’eza Kristo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

J. A. Browne yasindikibwa ng’omutalaazi mu Jamaica mu 1902 okuzzaamu amaanyi ab’oluganda abaali mu bibinja 14

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

Abatalaazi baanyweza okukkiriza kw’ab’oluganda, baabayamba okuba obumu, era baabayamba okunywerera ku kibiina

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share