LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 9/15 lup. 28-32
  • Yakuwa Akuŋŋaanya Abantu Be Abasanyufu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Akuŋŋaanya Abantu Be Abasanyufu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ENKUŊŊAANA ENNENE MU BISEERA BY’EDDA NE MU KISEERA KYAFFE
  • BAAFUNANGA ESSANYU LINGI
  • LWAKI ENKUŊŊAANA ZAFFE ENNENE TUSAANIDDE OKUZITWALA NGA ZA MUWENDO?
  • Enkuŋŋaana Ennene Ezibaawo Buli Mwaka Zituwa Akakisa Okwoleka Okwagala
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Emmere Ey’Eby’Omwoyo Etuukira mu Kiseera Kyayo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Enkuŋŋaana Ennene Kiba Kiseera kya Ssanyu!
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • “Twogera Ennimi za Njawulo, Naye Okwagala Kutugatta”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 9/15 lup. 28-32

Yakuwa Akuŋŋaanya Abantu Be Abasanyufu

“Okuŋŋaanyanga abantu, abasajja n’abakazi n’abaana abato, ne munnaggwanga.”​—MA. 31:12.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Byakulabirako ki ebiraga nti enkuŋŋaana ennene bulijjo zibaddenga nkulu nnyo eri abantu ba Yakuwa?

  • Bintu ki Abaisiraeri bye baalina okwefiiriza okusobola okugenda ku mbaga ezaabanga e Yerusaalemi?

  • Lwaki tosaanidde kusubwa lukuŋŋaana lunene lwonna?

1, 2. Bintu ki ebikwata ku nkuŋŋaana ennene bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

OKUMALA emyaka mingi, Abajulirwa ba Yakuwa babaddenga bakuŋŋaana wamu ku nkuŋŋaana ennene ez’ensi yonna ne ku nkuŋŋaana za disitulikiti. Bangi ku ffe twali tubaddeko mu nkuŋŋaana ezo ennene, era kyandiba nti abamu ku ffe tubadde mu nkuŋŋaana ng’ezo eziwerako.

2 Abantu ba Katonda abaaliwo edda ennyo nabo baabanga n’enkuŋŋaana ennene. Kati tugenda kulaba ebikwata ku nkuŋŋaana ennene abantu ba Katonda ze baabanga nazo mu biseera by’edda era tulabe n’engeri gye zifaanaganamu n’ezo ze tuba nazo leero. Era tujja kulaba ensonga lwaki kikulu okubaawo mu nkuŋŋaana ennene.​—Zab. 44:1; Bar. 15:4.

ENKUŊŊAANA ENNENE MU BISEERA BY’EDDA NE MU KISEERA KYAFFE

3. (a) Kiki ekyaliwo ku lukuŋŋaana olunene abantu ba Katonda lwe baasooka okuba nalwo? (b) Abaisiraeri baayitibwanga batya okukuŋŋaana awamu?

3 Olukuŋŋaana olunene olwasooka olwogerwako mu Bayibuli lwelwo olwaliwo ng’Abaisiraeri bonna bakuŋŋaanidde mu maaso g’Olusozi Sinaayi okufuna obulagirizi okuva eri Yakuwa. Olukuŋŋaana olwo lwali lukulu nnyo mu byafaayo by’okusinza okw’amazima. Yakuwa yayoleka amaanyi ge eri Abaisiraeri era n’abawa Amateeka ge. Olunaku olwo baali tebasobola kulwerabira! (Kuv. 19:2-9, 16-19; soma Okuva 20:18; Ekyamateeka 4:9, 10.) Okuva ku olwo, Katonda yatandika okukolagana n’Abaisiraeri mu ngeri ey’enjawulo. Nga wayise ekiseera kitono, Yakuwa yabuulira Musa engeri gye yandibaddenga ayita Abaisiraeri okukuŋŋaana. Yalagira Musa okukola amakondeere abiri aga ffeeza, agandikozeseddwanga okuyita “ekibiina kyonna” okukuŋŋaanira ‘ku mulyango gwa weema ey’okusisinkanirangamu.’ (Kubal. 10:1-4) Lowooza ku ssanyu abantu lye baafunanga nga bali mu nkuŋŋaana ezo!

4, 5. Lwaki enkuŋŋaana ennene Musa ne Yoswa ze baategeka zaali nkulu nnyo?

4 Abaisiraeri bwe baali baakamala emyaka nga 40 mu ddungu, Musa yabayita bonna okukuŋŋaana awamu. Ekyo kyaliwo mu kiseera ekyali ekikulu ennyo mu byafaayo by’eggwanga lya Isiraeri. Baali banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize. Ekyo kye kyali ekiseera ekituufu Musa okujjukiza Baisiraeri banne ebintu byonna Yakuwa bye yali abakoledde n’ebyo bye yali agenda okubakolera.​—Ma. 29:1-15; 30:15-20; 31:30.

5 Ku lukuŋŋaana olwo, Musa ayinza okuba nga kwe yagambira Abaisiraeri nti wandibaddengawo olukuŋŋaana olunene olw’enjawulo. Ku buli nkomerero y’emyaka musanvu, ku Mbaga ey’Ensiisira, abasajja, abakazi, abaana, ne bannaggwanga baalinanga okukuŋŋaanira mu kifo Yakuwa kye yabanga alonze, ‘bawulire, era bayige, era batye Yakuwa, era bakwatenga ebigambo byonna eby’amateeka.’ (Soma Ekyamateeka 31:1, 10-12.) Kya lwatu nti Yakuwa yali ayagala abantu be okukuŋŋaananga awamu basobole okuyiga amateeka ge era bamanye ebigendererwa bye. Oluvannyuma lw’Abaisiraeri okuwamba Ensi Ensuubize, Yoswa yabayita okukuŋŋaana awamu. Okuva bwe kiri nti mu kiseera ekyo Abaisiraeri baali beetooloddwa amawanga agaali gatasinza Yakuwa, Yoswa yali akimanyi nti baali beetaaga okuzzibwamu amaanyi okusobola okusigala nga beesigwa eri Yakuwa. Ku lunaku olwo, abantu beeyama okuweereza Katonda.​—Yos. 23:1, 2; 24:1, 15, 21-24.

6, 7. Nkuŋŋaana ki ennene ezibaddewo mu kiseera kyaffe ezibaddeko ebintu ebikulu ennyo?

6 Ne mu kiseera kyaffe, wabaddewo enkuŋŋaana ennene ezibaddeko ebintu ebikulu ennyo, gamba ng’okulangirira enkyukakyuka ezikwata ku ngeri ebintu gye bikolebwamu mu kibiina awamu n’engeri gye tutegeeramu ebyawandiikibwa ebimu. (Nge. 4:18) Olukuŋŋaana olunene olukulu ennyo Abayizi ba Bayibuli lwe baasooka okufuna oluvannyuma lwa Ssematalo I lwaliwo mu 1919 mu Cedar Point, Ohio, Amerika. Ku lukuŋŋaana olwo, olwaliko abantu nga 7,000, kyalangirirwa nti abantu ba Katonda baali balina okubuulira mu nsi yonna. Mu 1922, mu kifo ekyo kye kimu, ku lukuŋŋaana olunene olwamala ennaku mwenda, Ow’oluganda Joseph F. Rutherford yawa emboozi ey’ebbugumu n’akubiriza bonna abaaliwo okugenda mu maaso nga babuulira okutuusizza ddala nga Babulooni Ekinene kimaze okuzikirizibwa. Yagamba nti: “Abantu bonna abali ku nsi balina okutegeera nti Yakuwa ye Katonda era nti Yesu Kristo ye Kabaka wa bakabaka era Mukama w’abakama. Olunaku luno lukulu nnyo. Mulabe, Kabaka afuga! Mmwe b’alonze okumanyisa abalala ebimukwatako. N’olwekyo, mulangirire, mulangirire, mulangirire Kabaka n’obwakabaka bwe.” N’ekyavaamu, bonna abaaliwo ku lukuŋŋaana olwo, awamu n’abantu ba Katonda abalala bonna okwetooloola ensi baatandika okubuulira n’obunyiikivu.

7 Ku lukuŋŋaana olwaliwo mu 1931 mu Columbus, Ohio, Abayizi ba Bayibuli baatandika okuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa era ekyo kyabasanyusa nnyo. Ate mu 1935, ku lukuŋŋaana olwali mu Washington, D.C., Ow’oluganda Rutherford yayamba abaaliwo okutegeera ‘ab’ekibiina ekinene’ aboogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa ‘ng’abayimiridde mu maaso g’entebe y’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga.’ (Kub. 7:9-17) Ku lukuŋŋaana olwaliwo mu 1942, nga Ssematalo II agenda mu maaso, Ow’oluganda Nathan H. Knorr yawa emboozi eyalina omutwe “Emirembe​—Ginaabaawo Ebbanga Lyonna?” Yayamba abaaliwo okutegeera ‘ensolo emmyufu’ eyogerwako mu Okubikkulirwa 17 era n’alaga nti omulimu gw’okubuulira gwali gujja kweyongera okukolebwa oluvannyuma lw’olutalo olwo.

8, 9. Lwaki enkuŋŋaana ezimu ennene zaaleetera abantu ba Katonda essanyu lingi?

8 Ku lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu 1946 olwalina omutwe ogugamba nti, “Abantu Abasanyufu” olwali mu Cleveland, Ohio, Ow’oluganda Knorr yawa emboozi eyalina omutwe “Obuzibu Obuli mu Kuddamu Okuzimba n’Okugaziya.” Ow’oluganda omu eyaliwo ku lukuŋŋaana olwo, yayogera ku ekyo ekyaliwo. Yagamba nti Ow’oluganda Knorr bwe yali ayogera ku nteekateeka ez’okugaziya Beseri y’e Brooklyn awamu n’awakubirwa ebitabo, abaali bamuwuliriza baakuba mu ngalo emirundi egiwerako. Bonna abaaliwo baali basanyufu nnyo. Ku lukuŋŋaana olw’ensi yonna olwaliwo mu 1950 mu kibuga New York, abaaliwo baasanyuka nnyo okufuna Bayibuli eya New World Translation of the Christian Greek Scriptures. Eno ye Bayibuli eyasooka okuvvuunulwa mu Lungereza olwogerwa leero ng’erinnya lya Katonda liziddwa mu buli kifo we lyalina okubeera mu Kigambo kye.​—Yer. 16:21.

9 Enkuŋŋaana ennene ezaali mu nsi Abajulirwa ba Yakuwa gye baali bamaze ebbanga nga bayigganyizibwa oba ng’omulimu gwabwe guwereddwa, nazo zaaleetera ab’oluganda essanyu lingi. Omukulembeze wa Bugirimaani Adolf Hitler yali yagamba nti agenda kusaanyaawo Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi eyo. Naye mu 1955, Abajulirwa ba Yakuwa 107,000 baakuŋŋaanira mu Nuremberg, mu kifo Hitler n’abasajja be we baakuŋŋaaniranga. Bangi ku abo abaaliwo ku lukuŋŋaana olwo baakaaba amaziga olw’essanyu! Mu 1989 ab’oluganda 166,518 bagenda mu Poland ku lukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna olwalina omutwe “Okwemalira ku Katonda” olwali mu bifo bisatu eby’enjawulo. Baava mu Soviet Union ne Czechoslovakia, ne mu nsi endala. Abamu ku bo, guno gwe mulundi gwe baasooka okuba ku lukuŋŋaana oluliko abantu abasukka mu 15 oba 20. Ate lowooza ku ssanyu ab’oluganda lye baafuna ku lukuŋŋaana olw’ensi yonna olwaliwo mu 1993 mu Kiev, Ukraine, olwalina omutwe “Okuyigirizibwa Katonda” era ng’abantu 7,402 be baabatizibwa. Guno gwe muwendo gw’abantu abaabatizibwa ku lukuŋŋaana olumu ogukyasinzeeyo okuba omunene mu byafaayo by’Abajulirwa ba Yakuwa.​—Is. 60:22; Kag. 2:7.

10. Nkuŋŋaana ki z’ojjukira ennyo, era lwaki?

10 Oboolyawo naawe olina enkuŋŋaana za disitulikiti oba enkuŋŋaana ennene ez’ensi yonna z’ojjukira ennyo. Okyajjukira olukuŋŋaana olunene lwe wasooka okubaamu oba olwo kwe wabatirizibwa? Enkuŋŋaana ezo ziteekwa okuba nga zaakuyamba nnyo mu by’omwoyo era tosaanidde kuzeerabira!​—Zab. 42:4.

BAAFUNANGA ESSANYU LINGI

11. Mbaga ki Katonda ze yalagira Abaisiraeri okukwata buli mwaka?

11 Yakuwa yali yeetaagisa Abaisiraeri okugenda e Yerusaalemi okukwata embaga ssatu ezaabangawo buli mwaka. Embaga ezo ze zino: Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, Embaga eya Ssabbiiti (oluvannyuma eyayitibwa Pentekooti), n’Embaga ey’Ensiisira. Katonda yagamba Abaisiraeri nti: “Buli mwaka emirundi esatu abasajja bo bonna balabikanga mu maaso ga Mukama Katonda.” (Kuv. 23:14-17) Olw’okuba emitwe gy’amaka bangi baali bakimanyi nti kikulu nnyo okubeerawo ku mbaga ezo, baagendanga n’ab’omu maka gaabwe bonna ku mbaga ezo.​—1 Sam. 1:1-7; Luk. 2:41, 42.

12, 13. Kiki Abaisiraeri kye baalinanga okukola okusobola okubaawo ku mbaga ezaabangawo buli mwaka?

12 Lowooza ku ebyo ebyali bizingirwa mu kugenda e Yerusaalemi ng’amaka. Ng’ekyokulabirako, Yusufu ne Maliyamu baalinanga okutambula olugendo lwa mayiro nga 60 okuva e Nazaaleesi okugenda e Yerusaalemi. Olowooza kyandikutwalidde bbanga ki okutambula olugendo olwo ng’oli n’abaana abato? Ebyo ebyaliwo nga Yesu agenze e Yerusaalemi ng’akyali muto, biraga nti ab’eŋŋanda n’ab’emikwano bayinza okuba nga baagenderanga wamu mu kibinja. Lowooza ku ebyo bye baalina okukola okusobola okuteekateeka eby’okulya n’okufunira buli omu aw’okusula mu bifo bye baali batamanyi bulungi. Kyokka mu kiseera ekyo embeera teyali mbi nnyo kubanga bazadde ba Yesu baali basobola n’okumuleka okutambula nga tali wamu nabo wadde nga yali wa myaka 12 gyokka. Lowooza ku ssanyu abantu abaagendanga ku mbaga ezo lye baawuliranga, naddala abaana abato!​—Luk. 2:44-46.

13 Abaisiraeri bwe baasaasaana ne babuna ebitundu by’ensi ebitali bimu, abo abajjanga ku mbaga ezo baavanga mu mawanga mangi. Ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., Abayudaaya n’abantu abalala abaali basinza Yakuwa baava mu Yitale, Libiya, Kuleete, Asiya Omutono, Mesopotamiya, ne mu nsi endala, ne bagenda e Yerusaalemi.​—Bik. 2:5-11; 20:16.

14. Abaisiraeri baawuliranga batya bwe baagendanga ku mbaga ezaabangawo buli mwaka?

14 Ekintu ekyasinganga okuleetera Abaisiraeri abeesigwa essanyu kwe kuba nti baasinzanga Yakuwa nga bali wamu n’enkumi n’enkumi z’abantu abaali bamwagala. Abo abaabanga ku mbaga ezo baawuliranga batya? Eky’okuddamu tukisanga mu bigambo Yakuwa bye yagamba abantu be bwe yali ayogera ku Mbaga ey’Ensiisira: “Onoosanyukiranga embaga yo, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo, n’omuddu wo n’omuzaana wo, n’Omuleevi ne munnaggwanga ne mulekwa ne nnamwandu, abali munda w’enzigi zo. Ennaku musanvu oneekuumanga embaga eri Mukama Katonda wo mu kifo Mukama ky’alyeroboza: kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu bibala byo byonna, ne mu mulimu gwonna ogw’engalo zo, era onoobanga n’essanyu jjereere.”​—Ma. 16:14, 15; soma Matayo 5:3.

LWAKI ENKUŊŊAANA ZAFFE ENNENE TUSAANIDDE OKUZITWALA NGA ZA MUWENDO?

15, 16. Bintu ki bye wali weefiirizzaako okusobola okubaawo mu nkuŋŋaana ennene? Lwaki wasalawo okubyefiiriza?

15 Tulina ebintu bingi bye tuyigira ku mbaga ezaabanga mu Yerusaalemi. Waliwo ebintu bingi enkuŋŋaana zaffe ennene bye zifaanaganya n’embaga ezo. Okufaananako abantu ba Katonda ab’edda, naffe tulina okubaako ebintu bye twefiiriza okusobola okubaawo mu nkuŋŋaana zaffe ennene. Naye ekyo tukikola n’essanyu olw’okuba enkuŋŋaana ezo zituganyula nnyo. Enkuŋŋaana ennene zaali nkulu nnyo mu biseera by’edda era ne leero zikyali nkulu nnyo. Ebyo bye tuyiga mu nkuŋŋaana ezo bituyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Katonda. Enkuŋŋaana ezo zituyamba okulaba engeri gye tuyinza okussa mu nkola ebyo bye tuyiga n’engeri gye tuyinza okwewala emitawaana. Era zituyamba okukuumira ebirowoozo byaffe ku bintu ebituzzaamu amaanyi mu kifo ky’okubimalira ku bintu ebitumalamu amaanyi.​—Zab. 122:1-4.

16 Abo ababaawo ku nkuŋŋaana ennene bafuna essanyu lingi. Alipoota ekwata ku lukuŋŋaana olumu olwaliwo mu 1946 yagamba nti: “Kyali kya ssanyu nnyo okulaba enkumi n’enkumi z’Abajulirwa nga bakuŋŋaanidde mu kifo kimu. Ate era kyali kisanyusa nnyo okuwulira amaloboozi gaabwe nga gagenderako ebivuga nga bayimba ennyimba ez’Obwakabaka okutendereza Yakuwa.” Alipoota eyo yagattako nti: ‘Ab’oluganda bangi beewaayo okukola nga bannakyewa mu bitongole ebitali bimu, era baali basanyufu okuweereza baganda baabwe.’ Naawe wali ofunyeeko ku ssanyu ng’eryo ng’ogenze ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti oba ku lukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna?​—Zab. 110:3; Is. 42:10-12.

17. Nkyukakyuka ki ezibaddewo mu ngeri enkuŋŋaana zaffe ennene gye zitegekebwamu?

17 Waliwo ebintu bingi ebikyuse mu ngeri enkuŋŋaana zaffe ennene gye zitegekebwamu. Ng’ekyokulabirako, abantu ba Katonda abamu bajjukira enkuŋŋaana ze baabangamu ezaamalanga ennaku omunaana! Zaabangamu ekitundu eky’okumakya, eky’olweggulo, n’eky’akawungeezi. Kwabangako n’enteekateeka ey’okugenda okubuulira. Oluusi programu yatandikanga ku ssaawa ssatu ez’oku makya n’eggwa ku ssaawa ssatu ez’ekiro. Bannakyewa baakolanga butaweera okufumbira bonna abaabangawo ku lukuŋŋaana eky’enkya, eky’emisana, n’eky’eggulo. Naye kati enkuŋŋaana ennene zimala ennaku ntono era buli omu ye yeereetera eky’okulya, ekyo ne kisobozesa bonna ababaawo okussaayo omwoyo ku biyigirizibwa.

18, 19. Bintu ki bye weesunga ku nkuŋŋaana ennene, era lwaki?

18 Ku buli lukuŋŋaana lwa disitulikiti oba olukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna lwe tuba tugenda okuba nalwo, wabaawo ebintu bye tuba twesunga. Ng’ekyokulabirako, tuba twesunga okufuna ‘emmere mu kiseera ekituufu’ okuyitira mu bitabo ebipya ebifulumizibwa n’emboozi eziweebwa ebituyamba okwongera okutegeera Ebyawandiikibwa n’obunnabbi bwa Bayibuli. (Mat. 24:45) Ebitabo ebipya ebifulumizibwa biyamba abantu ab’emitima emirungi okutegeera amazima. Emizannyo egy’esigamiziddwa ku Bayibuli gituyamba ffenna, abato n’abakulu, okwekebera okulaba obanga tuweereza Katonda n’omutima gwaffe gwonna n’okwewala endowooza z’ensi. Emboozi ekwata ku kubatizibwa etuyamba okwekebera okulaba ebintu bye tukulembeza mu bulamu. Era tusanyuka nnyo okulaba ng’abalala nabo basazeewo okwewaayo eri Yakuwa.

19 Okuva edda n’edda, abantu ba Yakuwa babaddenga baba n’enkuŋŋaana ennene. Enkuŋŋaana ng’ezo zituyamba okufuna essanyu, okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda ne mu biseera ebizibu, era zituyamba okumuweereza n’obunyiikivu. Mu nkuŋŋaana ezo, tufuna emikwano mingi era twongera okusiima oluganda lwe tulina olw’ensi yonna. Okuyitira mu nkuŋŋaana ennene Yakuwa atuwa emikisa gye era alaga nti atufaako. N’olwekyo, ffenna tusaanidde okufuba okulaba nti tubaawo ku nkuŋŋaana ennene n’okulaba nti tetusubwa kitundu kyonna ku nkuŋŋaana ezo.​—Nge. 10:22.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share