LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 7/15 lup. 27-31
  • Tubadde Beetegefu Okuweereza Yakuwa Yonna gy’Atusindika

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tubadde Beetegefu Okuweereza Yakuwa Yonna gy’Atusindika
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • NVA MU KYALO NE NZIRA MU KIBUGA
  • OKUWEEREZA YAKUWA OLUVANNYUMA LW’OKUFUMBIRIGANWA
  • OKUSOOMOOZEBWA N’EMIKISA GYE TWAFUNA
  • TWASANYUKIRANGA BULI NKIZO GYE TWAFUNANGA
  • YAKUWA AMANYI EBYETAAGO BYAFFE
  • Yakuwa Yanjigiriza Okukola by’Ayagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • “Yakuwa Ge Maanyi Gange”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 7/15 lup. 27-31
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]

EBYAFAAYO

Tubadde Beetegefu Okuweereza Yakuwa Yonna gy’Atusindika

Byayogerwa Markus ne Janny Hartlief

Nnali sibuulirangako nga ndi nzekka. Buli lwe nnagendanga okubuulira nnawuliranga nga ntidde nnyo. Ng’oggyeko ekyo, abantu mu kitundu mwe nnali mbuulira baali tebaagala kuwuliriza bubaka bwaffe. Abantu abamu baankabuwaliranga ne baagala n’okunkuba. Mu mwezi gwe nnasooka okuweereza nga payoniya, nnagaba akatabo kamu kokka!​—Markus.

EBYO byaliwo emyaka nga 60 emabega, mu 1949. Nnazaalibwa mu 1927, ku kyalo Donderen, ekisangibwa mu bukiikakkono bwa Drenthe, mu Nazalandi. Baatuzaala abaana musanvu era nze ow’okuna. Taata wange, Hendrik, yali mutunzi wa ngatto era nga mulimi. Ennyumba yaffe yali kumpi n’ekkubo ery’ettaka. Baliraanwa baffe abasinga obungi baali balimi, era nnanyumirwanga nnyo obulamu bw’ekyalo. Mu 1947, nga ndi wa myaka 19, omu ku baliraanwa baffe, Theunis Been, yatandika okunjigiriza Bayibuli. Mu kusooka, Theunis teyali mukwano gwange era nnali simwagala, naye oluvannyuma lwa Ssematalo II, yafuuka Omujulirwa wa Yakuwa era ne nkiraba nti yali afuuse omuntu omulungi era afaayo ku balala. Ekyo kyankwatako nnyo, era bwe yatandika okumbuulira ebikwata ku kisuubizo kya Katonda eky’ensi empya, nnamuwuliriza. Nnakkiririzaawo amazima era okuva olwo, nze ne Theunis twafuuka ba mukwano.a

Nnatandika okubuulira mu Maayi 1948, era omwezi ogwaddako, nga Jjuuni 20, nnabatizibwa ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Utrecht. Nga Jjanwali 1, 1949, nnatandika okuweereza nga payoniya era ne nsindikibwa okuweereza mu kibiina ky’e Borculo, ekisangibwa mu buvanjuba bwa Nazalandi. Ekifo ekyo kyali kyesudde mayiro nga 80 okuva we nnali mbeera, n’olwekyo nnasalawo okuvugawo eggaali. Nnali ndowooza nti olugendo olwo lwali lujja kuntwalira essaawa nga 6, naye olw’okuba enkuba yatonnya nnyo era ng’erimu ne kibuyaga, olugendo olwo lwantwalira essaawa 12, wadde nga mayiro 55 ezaasembayo nnalinnya ggaali ya mukka! Nnatuukira mu maka ga wa luganda, era mu maka g’ow’oluganda oyo mwe nnasula ekiseera kyonna kye nnamala nga mpeereza nga payoniya mu kitundu ekyo.

Mu kiseera ekyo, olutalo lwali lwakaggwa era abantu baalina ebintu bitono. Nnalina essuuti emu n’empale emu. Wadde nga tekyali kyangu kubuulira mu Borculo, Yakuwa yannyamba okufuna abayizi ba Bayibuli bangi. Oluvannyuma lw’emyezi mwenda, nnasindikibwa okuweereza mu Amsterdam.

NVA MU KYALO NE NZIRA MU KIBUGA

Oluvannyuma lw’okumala emyaka mingi nga ndi mu kyalo, nnatandika okubeera mu kibuga Amsterdam, ekibuga ekisingayo obunene mu Nazalandi. Abantu b’omu Amsterdam baali baagala nnyo obubaka bwaffe. Mu mwezi ogwasooka, nnagaba ebitabo bingi okusinga ebyo bye nnagaba mu myezi omwenda egyali giyise. Mu kiseera kitono nnalina abantu abasukka mu munaana be nnali njigiriza Bayibuli. Oluvannyuma lw’okulondebwa okuba omuweereza w’ekibiina (kati ayitibwa omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde), nnasabibwa okuwa emboozi ya bonna. Ogwo gwe gwali gugenda okuba omulundi gwange ogusooka okuwa emboozi ya bonna. Nnawulira nga ntidde. Nnasanyuka nnyo bwe bansindika okugenda kuweereza mu kibiina ekirala nga sinnaba kuwa mboozi eyo. Kyokka nnali simanyi nti mu myaka egyandiddiridde, nnandibadde mpa emboozi ezisukka mu 5,000!

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Waggulu: Markus (asembyeyo ku ddyo) ng’abuulira ku luguudo mu kibuga Amsterdam mu 1950

Mu Maayi 1950, nnasindikibwa okuweereza mu Haarlem. Oluvannyuma nnasabibwa okutandika okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu. Nnamala ennaku ssatu nga seebaka tulo. Nnagamba Robert Winkler, omu ku b’oluganda abaali baweereza ku ttabi, nti nnali mpulira nga sirina bisaanyizo, naye yaŋŋamba nti: “Ggwe jjuza empapula. Ojja kuyiga.” Oluvannyuma lw’okumala omwezi gumu nga ntendekebwa, nnatandika okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu. Bwe nnali nkyalidde ekibiina ekimu, nnasisinkana Janny Taatgen, mwannyinaffe eyali aweereza nga payoniya. Janny yali ayagala nnyo Yakuwa era ng’alina omwoyo ogw’okwefiiriza. Twafumbiriganwa mu 1955. Naye nga sinnababuulira bisingawo, ka mukyala wange Janny asooke ababuulire engeri gye yafuukamu payoniya.

OKUWEEREZA YAKUWA OLUVANNYUMA LW’OKUFUMBIRIGANWA

Janny: Maama wange yafuuka Omujulirwa wa Yakuwa mu 1945 nga ndi wa myaka 11. Maama yakiraba nti kyali kimwetaagisa okuyigiriza abaana be abasatu Bayibuli. Kyokka taata yali tayagala mazima, bwe kityo, maama yatuyigirizanga taata tali waka.

Olukuŋŋaana lwe nnasooka okugendamu lwe lukuŋŋaana lwa disitulikiti olwali mu Hague mu 1950. Nga wayiseewo wiiki emu, nnagenda mu lukuŋŋaana lwange olwasooka mu Kizimbe ky’Obwakabaka ekyali mu Assen (Drenthe). Ekyo kyanyiiza nnyo taata era n’angoba awaka. Maama yaŋŋamba nti, “Omanyi aw’okubeera.” Nnakitegeera nti yali ayogera ku b’oluganda mu kibiina. Nnasooka kubeera mu maka g’ow’oluganda eyali abeera okumpi n’awaka, naye taata yeeyongera okunjigganya, bwe ntyo nnasalawo okugenda mu kibiina ky’e Deventer (Overijssel), ekyali kyesudde mayiro nga 60 okuva awaka. Kyokka olw’okuba nnali nkyali muto, ab’obuyinza baavunaana taata olw’okungoba awaka. N’ekyavaamu, taata yaŋŋamba okukomawo awaka. Wadde nga taata teyakkiriza kuyiga mazima, yatandika okunzikiriza okugendanga mu nkuŋŋaana zonna n’okugenda okubuulira.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Wansi: Janny (asembyeyo ku ddyo) ng’aweereza nga payoniya omuwagizi mu 1952

Oluvannyuma lw’ennaku ntono nga mmaze okuddayo awaka, maama yalwala nnyo ne kiba nti nze nnalina okukolanga emirimu gy’awaka gyonna. Wadde kyali kityo, nneeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo era ne mbatizibwa mu 1951 nga ndi wa myaka 17. Maama bwe yawona mu 1952, nnaweereza nga payoniya omuwagizi okumala emyezi ebiri nga nkolera wamu ne bapayoniya abalala basatu. Twasulanga mu lyato eriringa ennyumba era twabuulira mu bubuga bubiri obw’omu Drenthe. Mu 1953, nnatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Oluvannyuma lw’omwaka gumu, waaliwo omulabirizi w’ekitundu eyali akyali omuto eyakyalira ekibiina kyaffe. Yali ayitibwa Markus. Olw’okuba nze ne Markus twakiraba nti okubeera awamu kyanditusobozesezza okuweereza obulungi Yakuwa, twasalawo okufumbiriganwa mu Maayi 1955.​—Mub. 4:9-12.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Ku lunaku lwe twafumbiriganwa mu 1955

Markus: Bwe twamala okufumbiriganwa, twasooka kusindikibwa kuweereza nga bapayoniya mu Veendam (Groningen). Akayumba ke twasulangamu kaali kafunda nnyo. Kaali ka ffuuti nga musanvu ku kkumi. Wadde kyali kityo, Janny yafubanga okukayonja ne kalabika bulungi. Buli kiro twaggyangawo emmeeza n’obutebe obubiri bwe twalina ne tuteekawo ekitanda kyaffe ne twebaka.

Oluvannyuma lw’emyezi mukaaga, twasindikibwa mu Bubirigi okukyalira ebibiina. Mu 1955, mu nsi eyo mwalimu ababuulizi nga 4,000, naye kati basukka mu 24,000! Abantu b’omu Flanders, ekisangibwa mu bukiikakkono bwa Bubirigi, boogera olulimi lwe lumu n’olwo olwogerwa mu Nazalandi. Kyokka engeri abantu b’omu Bubirigi gye boogeramu olulimu olwo ya njawulo ku ngeri abantu b’omu Nazalandi gye balwogeramu. Bwe kityo, mu kusooka twalina okuyiga okulwogera nga bo.

Janny: Omulimu gw’okukyalira ebibiina gwetaagisa okwefiiriza okw’amaanyi. Bwe twabanga tugenda okukyalira ebibiina twavuganga bugaali. Olw’okuba tetwalina nnyumba twalinanga okusula mu maka g’ab’oluganda okutuusiza ddala ku Bbalaza, olwo ku Lw’okubiri ku makya ne tulyoka tugenda okukyalira ekibiina ekirala. Naye obuweereza bwaffe twali tubutwala ng’ekirabo okuva eri Yakuwa.

Markus: Mu kusooka, twali tetulina wa luganda yenna gwe tumanyi mu bibiina bye twakyaliranga, naye ab’oluganda abo baali ba kisa era baatwanirizanga n’essanyu. (Beb. 13:2.) Emyaka bwe gyagenda giyitawo, twasobola okukyalira ebibiina byonna ebyogera Oluddaaki ebiri mu Bubirigi, era buli kibiina twakikyalira emirundi egiwerako. Ekyo kyatuviiramu emikisa mingi. Ng’ekyokulabirako, twamanya ab’oluganda abasinga obungi abali mu bibiina ebyogera Oluddaaki, era ab’oluganda abo baafuuka mikwano gyaffe egy’oku lusegere. Tulabye abavubuka bangi nga bakulaakulana mu by’omwoyo ne beewaayo eri Yakuwa, era ne bakiraga nti Obwakabaka bwe bakulembeza mu bulamu bwabwe. Kitusanyusa nnyo okulaba nga bangi ku bo bali mu buweereza obw’ekiseera kyonna. (3 Yok. 4) Ekyo kituzizzaamu nnyo amaanyi ne kituyamba okweyongera okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna.​—Bar. 1:12.

OKUSOOMOOZEBWA N’EMIKISA GYE TWAFUNA

Markus: Bwe twamala okufumbiriganwa, tweteerawo ekiruubirirwa eky’okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi. Buli lunaku, twafunangayo essaawa ng’emu ne tuyiga Olungereza. Naye twakiraba nti si kyangu kuyiga Lungereza nga tusoma busomi bitabo, bwe kityo twasalawo okugenda okuwummulirako e Bungereza tusobole okweyongera okuluyiga nga bwe tubuulira. Mu 1963 twafuna ebbaasa okuva ku kitebe kyaffe ekikulu mu Brooklyn. Ebbaasa eyo yalimu ebbaluwa bbiri, ng’emu yange ate ng’endala ya Janny. Ebbaluwa yange yali empita okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi okumala emyezi kkumi. Essomero eryo okusingira ddala lyali litendeka ab’oluganda engeri y’okuteekateekamu omulimu gw’okubuulira. N’olwekyo, ku bayizi 100 abaayitibwa, 82 baali ba luganda.

Janny: Mu bbaluwa gye nnafuna ku olwo, bambuuza obanga nnali mwetegefu okusigala mu Bubirigi ng’omwami wange agenze mu Gireyaadi okusoma. Amazima gali nti mu kusooka ebbaluwa eyo yammalamu amaanyi. Nnawulira nga gy’obeera ebyo byonna bye nnali nkoze okusobola okwetegekera Essomero lya Gireyaadi, Yakuwa yali tabiwadde mukisa. Wadde kyali kityo, nnakijjukira nti ekigendererwa ky’Essomero lya Gireyaadi kwe kuyamba abo abaligendamu okubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna. Bwe kityo, nnakkiriza okusigala era nnasindikibwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo mu kibuga Ghent eky’omu Bubirigi. Nnasindikibwa wamu ne Anna ne Maria Colpaert, abaali bamaze ekiseera nga baweereza nga bapayoniya ab’enjawulo.

Markus: Olw’okuba nnali nkyetaaga okukaza Olungereza, nnasabibwa okugenda e Brooklyn ng’ebula emyezi ettaano essomero litandike. Nnakolako mu kitongole ekikola ogw’okutambuza ebitabo ne mu kitongole ky’obuweereza. Okuweereza ku kitebe ekikulu n’okuyamba mu kuweereza ebitabo ku ssemazinga wa Asiya, Bulaaya, n’Amerika ow’Ebukiikaddyo kyannyamba okwongera okukiraba nti tulina oluganda olw’ensi yonna. Nzijukira Ow’oluganda A. H. Macmillan, eyaweerezaako ng’omutalaazi (omulabirizi akyalira ebibiina) mu kiseera ky’Ow’oluganda Russell. Yali akaddiye era nga takyawulira bulungi naye nga tayosa kubaawo mu nkuŋŋaana. Ekyo kyankwatako nnyo era ne kindaga nti enkuŋŋaana zaffe tusaanidde okuzitwala ng’ekintu ekikulu ennyo.​—Beb. 10:24, 25.

Janny: Nze ne Markus twawuliziganyanga emirundi egiwerako buli wiiki. Buli omu yali yeesunga olunaku lw’anaddamu okulaba ku munne! Wadde kyali kityo, Markus yanyumirwanga nnyo ebintu bye yali ayiga mu Gireyaadi, era nange nnanyumirwanga nnyo okubuulira. Markus we yakomerawo, nnalina abayizi ba Bayibuli 17! Emyezi 15 gye twamala nga tetuli wamu tegyatubeerera myangu, naye nnakiraba nti Yakuwa yali atuwa emikisa olw’okwoleka omwoyo gw’okwefiiriza. Olunaku Markus lwe yakomawo, ennyonyi gye yajjiramu yakeerewa essaawa eziwerako. Bwe yatuuka, twagwaŋŋana mu kifuba ne tukaaba. Okuva olwo, tewali kintu kyonna kisobodde kutwawula.

TWASANYUKIRANGA BULI NKIZO GYE TWAFUNANGA

Markus: Bwe nnakomawo okuva mu Gireyaadi mu Ddesemba 1964, twayitibwa okuweereza ku Beseri. Kyokka twali tetukimanyi nti ku Beseri twali tugenda kumalayo akaseera katono. Oluvannyuma lw’emyezi esatu gyokka, nnasindikibwa okugenda okuweereza ng’omulabirizi wa disitulikiti mu Flanders. Aalzen ne Els Wiegersma bwe baasindikibwa mu Bubirigi okuweereza ng’abaminsani, Ow’oluganda Wiegersma yalondebwa okuweereza ng’omulabirizi wa disitulikiti. Ffe twaddayo ku Beseri, era nze ne mpeereza mu Kitongole ky’Obuweereza. Okuva mu 1968 okutuuka mu 1980, twateranga okukyusibwakyusibwa, ng’ebiseera ebimu tuba tuweereza ku Beseri ate ng’ebirala tuba mu mulimu gwa kukyalira bibiina. Kyokka okuva mu 1980 okutuuka mu 2005, nnali mpeereza ng’omulabirizi wa disitulikiti.

Wadde ng’obuweereza bwaffe bwakyukyukanga buli kiseera, twasigala tukijjukira nti twali twewaddeyo okuweereza Yakuwa n’obulamu bwaffe bwonna. Twasanyukiranga nnyo buli nkizo gye twafunanga, nga tukimanyi nti enkyukakyuka yonna eyajjangawo mu buweereza bwaffe yali ya kuyamba mu kutumbula mulimu gwa Bwakabaka.

Janny: Kyansanyusa nnyo okugenda ne Markus e Brooklyn mu 1977 n’e Patterson mu 1997 ng’agenda okutendekebwa mu Ssomero Eritendeka Abo Abali ku Bukiiko bw’Amatabi.

YAKUWA AMANYI EBYETAAGO BYAFFE

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]

Markus: Mu 1982, Janny yalongoosebwa era n’assuuka bulungi. Oluvannyuma lw’emyaka esatu, ekibiina ky’e Louvain kyatufunira aw’okusula waggulu ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Ogwo gwe gwali omulundi ogusoose mu myaka 30 gye twali tumaze nga tuweerereza wamu okufuna aw’okusula awaffe ku bwaffe. Buli lwa kubiri bwe twabanga tugenda okukyalira ekibiina, okusobola okutwala ebintu byaffe wansi, nnalinanga okukkirira n’okwambuka amadaala 54 emirundi n’emirundi! Eky’essanyu kiri nti mu 2002 ab’oluganda baakola enteekateeka ne tuva waggulu ne tutandika okusula wansi. Bwe nnaweza emyaka 78, twasindikibwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo mu Lokeren. Kitusanyusa okulaba nti tuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo era nti tusobola okugenda okubuulira buli lunaku.

“Tukimanyi nti ekikulu si wa gye tuweerereza oba nkizo ki gye tulina, wabula ani gwe tuweereza”

Janny: Ffenna awamu tumaze emyaka egisukka mu 120 mu buweereza obw’ekiseera kyonna! Tukirabye nti Yakuwa ‘tasobola kutuleka n’akatono’ era nti singa tweyongera okumuweereza n’obwesigwa ‘tetujja kubulwa kintu kyonna.’​—Beb. 13:5; Ma. 2:7.

Markus: Twewaayo eri Yakuwa nga tukyali bato era twewala okwenoonyeza ebintu ebikulu. Tubadde beetegefu okukkiriza enkizo yonna etuweebwa olw’okuba tukimanyi nti ekikulu si wa gye tuweerereza oba nkizo ki gye tulina, wabula ani gwe tuweereza.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

a Oluvannyuma lw’ekiseera, taata wange, maama wange, mwannyinaze omukulu, ne baganda bange babiri nabo baafuuka Abajulirwa ba Yakuwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share