Ebirimu
Ssebutemba 15, 2013
© 2013 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania. All rights reserved.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
OKITOBBA 28, 2013–NOOVEMBA 3, 2013
Yakuwa by’Atujjukiza Byesigika
OLUPAPULA 7 • ENNYIMBA: 64, 114
NOOVEMBA 4-10, 2013
Sanyukira Ebintu Yakuwa by’Atujjukiza
OLUPAPULA 12 • ENNYIMBA: 116, 52
NOOVEMBA 11-17, 2013
OLUPAPULA 17 • ENNYIMBA: 69, 106
NOOVEMBA 18-24, 2013
OLUPAPULA 22 • ENNYIMBA: 27, 83
NOOVEMBA 25, 2013–DDESEMBA 1, 2013
Okuweereza nga Bapayoniya Kinyweza Enkolagana Yaffe ne Katonda
OLUPAPULA 27 • ENNYIMBA: 95, 104
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
▪ Yakuwa by’Atujjukiza Byesigika
▪ Sanyukira Ebintu Yakuwa by’Atujjukiza
Bulijjo Yakuwa abadde awa abantu be obulagirizi ng’abaako ebintu by’abajjukiza. Ebintu Yakuwa by’atujjukiza bizingiramu ki? Ekitundu ekisooka kiraga ensonga lwaki ebintu Katonda by’atujjukiza byesigika. Ekitundu eky’okubiri kiraga ebintu bisatu ebinaatuyamba okwongera okwesiga Yakuwa.
▪ Okyusiddwa?
▪ Salawo mu Ngeri ey’Amagezi
Embeera mwe twakulira n’embeera gye tulimu birina kinene kye bitukolako. Kiki ekinaatuyamba okusalawo mu ngeri esanyusa Katonda? Era kiki ekinaatuyamba okukolera ku ebyo bye tuba tusazeewo? Ebitundu bino bijja kutuyamba okwekebera mu bwesimbu.
▪ Okuweereza nga Bapayoniya Kinyweza Enkolagana Yaffe ne Katonda
Ekitundu kino kiraga engeri munaana okuweerezanga payoniya gye kisobola okukuyamba okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa. Bw’oba oweereza nga payoniya, kiki ekinaakuyamba okweyongera okuweereza nga payoniya wadde ng’oyolekagana n’ebizibu? Bw’oba ng’oyagala okuweereza nga payoniya osobole okufuna emikisa egivaamu, kiki ky’oyinza okukola?
KU DDIBA: Ab’oluganda abaweereza mu bitundu by’Amazonas mu Peru, batera okusanga abantu bangi be basobola okubuulira embagirawo
PERU
ABANTU
29,734,000
ABABUULIZI
117,245
ABANTU ABABATIZIDDWA MU MYAKA ETAANO EGIYISE
28,824
Mu Peru, ebitabo byaffe bivvuunulwa mu nnimi mukaaga. Bapayoniya ab’enjawulo n’abaminsani ababuulira mu nnimi endala ng’oggyeko Olusipeyini basukka mu 120