LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 9/15 lup. 3-6
  • Lwaki Kikulu Okulaba Enjawulo Eriwo?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Lwaki Kikulu Okulaba Enjawulo Eriwo?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • GANYULWA MU KULAGA ENJAWULO
  • Kulaakulanya Obusobozi Bwo obw’Okuyigiriza
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Yakuwa Akuŋŋaanya ab’Omu Maka Ge
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • ‘Tuukiriza Obuweereza Bwo’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Weewale Ekizikiza—Sigala mu Kitangaala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 9/15 lup. 3-6

Lwaki Kikulu Okulaba Enjawulo Eriwo?

Tewali kubuusabuusa nti Yesu ye Muyigiriza asinga bonna abaali babaddewo. Oyinza okuba nga naawe wali ogezezzaako okukoppa engeri gye yayigirizaamu, gamba ng’okozesa ebibuuzo n’ebyokulabirako. Naye obadde okimanyi nti Yesu era bwe yabanga ayigiriza, yateranga okuyamba abawuliriza okutegeera obulungi ensonga ng’abalaga bulazi enjawulo eriwo wakati w’ebintu ebimu?

Abantu bangi bwe baba boogera batera okulaga enjawulo gye baba balabyewo wakati w’ekintu ekimu n’ekirala. Oluusi ekyo bakikola nga tebakirowoozezzanako. Ng’ekyokulabirako, omuntu ayinza okwogera ebigambo nga bino, “Babadde batugambye nti ebibala byonna byengedde; naye bino tebinnaba kwengera.” Oba, “Omwana oyo yali wa nsonyi, naye kati mukalukalu.”

Osobola okuyamba omuntu omulala okukiraba nti waliwo enjawulo wakati w’ekintu ky’ova okumutegeeza n’ekyo ky’ogenda okuzzaako, ng’okozesa ebigambo gamba nga naye, kyokka, wabula, oba ku luuyi olulala. Bw’okola bw’otyo, gw’oba oyogera naye aba asobola bulungi okutegeera ensonga gy’oba oyogerako.

Wadde nga mu nnimi ezimu oba mu bitundu ebimu, abantu bayinza okuba nga tebakozesa nnyo bigambo ng’ebyo, kikulu nnyo omuntu okutegeera omugaso gwabyo. Lwaki? Bwe tuba tusoma Bayibuli, tusangamu ennyiriri nnyingi ezikozesa olulimi olufaananako bwe lutyo. Yesu yakozesa nnyo olulimi olw’engeri eyo ng’ayigiriza. Lowooza ku bigambo bye bino: “Abantu tebakoleeza ttabaaza ne bagivuunikako ekibbo, wabula bagiteeka ku kikondo.” ‘Sajja kuggyawo Mateeka wabula okugatuukiriza.’ “Mwawulira bwe kyagambibwa nti, ‘Toyendanga.’ Naye mbagamba nti, buli atunuulira omukazi . . . ” “Kyagambibwa nti, ‘Eriiso ligattibwenga eriiso n’erinnyo ligattibwenga erinnyo.’ Naye mbagamba nti: Omubi bw’akukolanga ekibi, teweesasuzanga; buli akukuba oluyi ku ttama lyo erya ddyo, omukyusizanga n’erya kkono.”​—Mat. 5:15, 17, 27, 28, 38, 39.

Ebitabo ebirala ebya Bayibuli birimu ennyiriri ezikozesa olulimi olufaananako bwe lutyo. Bwe tulaba enjawulo eriwo wakati w’ebintu, kituyamba okutegeera obulungi ensonga eba eyogerwako. Bw’oba ng’oli muzadde, lowooza ku bigambo bino: “Bataata temunyiizanga baana bammwe, naye mubakuze mu kukangavvula kwa Yakuwa era mubateekemu endowooza ye.” (Bef. 6:4) Singa omutume Pawulo yagamba bugambi nti bataata (oba bamaama) basaanidde okukuza abaana baabwe mu kukangavvula kwa Yakuwa, ekyo kyandibadde kituufu. Kyokka olw’okuba yayogera ku ekyo ekirina okukolebwa n’ekyo ekitalina kukolebwa, kituyamba okutegeera obulungi ensonga gye yali ayogerako.

Oluvannyuma, mu ssuula eyo yennyini, Pawulo yawandiika nti: “Tetumeggana na musaayi na mubiri, naye tumeggana . . . n’emyoyo emibi egiri mu bifo eby’omu ggulu.” (Bef. 6:12) Mu kulaga enjawulo eyo, Pawulo atuyamba okukiraba nti olutalo lwe tulwana si lwangu. Tetulwana na bantu buntu; naye tulwana na myoyo emibi.

GANYULWA MU KULAGA ENJAWULO

Mu kitabo ky’Abeefeso, mulimu n’ennyiriri endala nnyingi Pawulo mwe yalagira enjawulo. Okufumiitiriza ku nnyiriri ezo kisobola okutuyamba okutegeera obulungi ebintu Pawulo bye yayogerako n’engeri gye tuyinza okubikolerako.

Bw’onoosoma ekipande ekiraga ezimu ku njawulo eziri mu Abeefeso essuula 4 ne 5, ojja kuganyulwa nnyo. Ng’osoma ekipande ekyo, lowooza ku ngeri ebyo by’osoma gye bikukwatako. Weebuuze: ‘Ndowooza ki gye nnina ku nsonga eno? Nneeyisa ntya mu beera eno oba mu mbeera efaananako bw’etyo? Bwe kituuka ku nsonga eno, abalala bantunuulira batya?’ Bw’okiraba nti olina we weetaaga okulongoosaamu, baako ky’okolawo. Bw’onookola bw’otyo, ojja kuganyulwa.

Ekipande ekyo muyinza n’okukikozesa mu kusinza kwammwe okw’amaka. Mwenna muyinza okusooka okusoma ebyawandiikibwa ebiri mu kipande nga bwe mwekenneenya n’enjawulo eziragiddwa mu byawandiikibwa ebyo. Oluvannyuma omu ku mmwe ayinza okwogera ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa mu kipande, ate abalala ne bagezaako okujjukira enjawulo eragibwa mu kyawandiikibwa ekyo. Ekyo kiyinza okubayamba okulaba engeri gye muyinza okukolera ku ebyo ebiri mu byawandiikibwa ebyo. Bwe mukola mutyo, kisobola okuyamba mwenna, abato n’abakulu, okwoleka engeri z’Ekikristaayo mu maka gammwe n’awalala wonna.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Ojjukira enjawulo eragibwa mu kyawandiikibwa kino?

Bw’oneeyongera okutegeera emiganyulo egiri mu kulaga enjawulo, ojja kweyongera okuziraba ng’osoma Bayibuli, era ojja kufuba okuzikozesa ng’obuulira. Ng’ekyokulabirako, oyinza okugamba omuntu nti: “Abantu bangi balowooza nti waliwo ekiwonawo ng’omuntu afudde, naye weetegereze ekyo Ekigambo kya Katonda kye kyogera ku nsonga eyo.” Oba bw’oba oyigiriza omuntu Bayibuli, oyinza okumugamba nti: “Abantu abasinga obungi bagamba nti Yesu ye Katonda; naye Bayibuli etulaze ki ku nsonga eyo? Ekyo naawe okikkiriza?”

Mu Byawandiikibwa mulimu ennyiriri nnyingi eziraga enjawulo, era okwetegereza enjawulo ezo kituyamba okutambulira mu makubo ga Katonda. Era bwe tufuba okulaga abalala enjawulo, tuyinza okubayamba okuyiga amazima.

Ebimu ku Byokulabirako Ebiri mu Abeefeso Essuula 4 ne 5

Mugezeeko okukozesa ekipande kino mu kusinza kw’amaka!

“Tuleme kuba nate baana bato, nga tulinga abasuukundibwa amayengo, nga tuzzibwa eno n’eri . . . olw’obukuusa bw’abantu n’olw’endowooza ez’obulimba ezikyamya.”​—4:14.

“Naye nga twogera amazima, ka tukule mu bintu byonna mu Kristo omutwe.”​—4:15.

“[Abantu b’amawanga] bali mu kizikiza mu magezi gaabwe, . . . olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe.”​—4:18, 19.

“Naye temwayiga nti Kristo ali bw’atyo, bwe muba nga ddala mwamuwuliriza era ne muyigirizibwa okuyitira mu ye.”​—4:20, 21.

“Mulina okweyambulako omuntu omukadde akwatagana n’empisa zammwe ez’edda.”​—4:22.

“Naye mulina okufuulibwa abaggya mu maanyi agafuga ebirowoozo byammwe, era mulina okwambala omuntu omuggya.”​—4:23, 24.

“Omubbi alemenga okubba nate.”​—4:28.

“Wabula afube okukola, ng’akola n’emikono gye omulimu omulungi.”​—4:28.

“Ekigambo ekivundu tekivanga mu kamwa kammwe.”​—4:29.

“Naye mwogerenga ekirungi ekizimba abalala.”​—4:29.

“Okusiba ekiruyi, okunyiiga, okusunguwala, okuyomba, okuvuma, awamu n’obubi bwonna biggyibwe mu mmwe.”​—4:31.

“Naye mubeerenga ba kisa buli muntu eri munne, nga musaasiragana.”​—4:32.

“Obwenzi n’obutali bulongoofu obwa buli ngeri n’omululu tebirina na kwogerwako mu mmwe.”​—5:3.

“Wabula mwebazenga Katonda.”​—5:4.

“Edda mwali kizikiza.”​—5:8.

“Naye kati muli kitangaala kubanga muli ba Mukama waffe.”​—5:8.

“Mulekere awo okubeegattako mu bikolwa ebitali birungi eby’ekizikiza.”​—5:11.

“Wabula mubivumirire.”​—5:11.

“Kale mwegendereze nnyo engeri gye mutambulamu; temutambula ng’abatalina magezi.”​—5:15.

“Naye ng’abalina amagezi, nga mukozesa bulungi buli kakisa ke mufuna.”​—5:15, 16.

“N’olw’ensonga eyo, mulekere awo okubeera abasirusiru.”​—5:17.

“Naye mutegeerenga Yakuwa ky’ayagala.”​—5:17.

“Temutamiiranga mwenge kubanga ekyo kibaleetera okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu.”​—5:18.

“Naye mujjuzibwenga omwoyo.”​—5:18.

“[Kristo alyoke aleete ekibiina] gy’ali mu kitiibwa kyakyo, nga tekiriiko bbala oba olufunyiro oba ekintu kyonna ekiringa ebyo.”​—5:27.

“Naye kibeere kitukuvu era nga tekiriiko kamogo.”​—5:27.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

“Tewali muntu yali akyaye mubiri gwe.”​—5:29.

“Naye aguliisa era agulabirira, nga Kristo bw’akola eri ekibiina.”​—5:29.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share