LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 10/1 lup. 3
  • Lwaki Osaanidde Okusoma Bayibuli?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Lwaki Osaanidde Okusoma Bayibuli?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Similar Material
  • Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Kisoboka Okutegeera Bayibuli
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Bayibuli—Bubaka bwa Katonda Gye Tuli
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Ebbaluwa Okuva eri Katonda ow’Okwagala
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 10/1 lup. 3

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BUBAKA KI OBULI MU BAYIBULI?

Lwaki Osaanidde Okusoma Bayibuli?

Bayibuli kye kitabo abantu mu nsi yonna kye basinga okwagala. Lwaki? Kubanga obubaka obugirimu bukwata ku buli muntu. Eyogera ku bantu abaaliwo ddala, engeri gye baakolaganangamu ne bantu bannaabwe era ne Katonda. Erimu eby’okuyiga bingi era obubaka obugirimu bwangu okutegeera. Evvuunuddwa mu nnimi nnyingi era abantu aba buli ngeri basobola okugisoma ne bagitegeera. Ate era abantu bangi nnyo baganyuddwa olw’okukolera ku ebyo by’eyigiriza.

N’ekisinga obukulu, Bayibuli si kitabo ekyogera obwogezi ku Katonda naye era kyava eri Katonda. Etutegeeza erinnya lya Katonda, engeri ze, n’ekigendererwa kye mu kutonda ensi n’abantu. Bayibuli era eyogera ku ngeri ebizibu ebiriwo ku nsi gye byatandikamu n’engeri gye bijja okugonjoolwamu. N’olwekyo, bw’osoma Bayibuli ng’olina endowooza ennuŋŋamu kikusobozesa okuba n’okukkiriza era n’essuubi.

Bayibuli erimu obubaka bwe tutasobola kusanga walala wonna. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli etutegeeza amazima agakwata ku bintu nga bino:

  • Engeri gye twajjawo n’ensonga etuviirako okubonaabona

  • Enteekateeka Katonda gy’akoze okununula abantu

  • Ekyo Yesu kye yatukolera

  • Ensi bw’eneebera mu biseera eby’omu maaso n’ebyo Katonda by’anaakolera abantu

Tukukubiriza okusoma ebyo ebiri ku mpapula eziddirira osobole okumanya obubaka obuli mu Bayibuli?

EBIKWATA KU BAYIBULI

  • Omulamwa: Engeri Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu gye bujja okuleetawo obutuukirivu n’emirembe ku nsi

  • Ebigirimu: Ebitabo 39 ebyawandiikibwa mu Lwebbulaniya (ebitundu ebimu mu Lulamayiki) n’ebitabo 27 mu Luyonaani

  • Yawandiikibwa: Abawandiisi nga 40 mu bbanga lya myaka nga 1,600, okuva mu 1513 ng’embala eno tennatandika okutuuka awo nga mu 98 embala eno.

  • Ennimi: Evvuunuddwa yonna oba evvuunuddwako kitundu mu nnimi ezisukka mu 2,500

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share