Ebirimu
Okitobba 15, 2013
© 2013 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
DDESEMBA 2-8, 2013
Ebitonde Bituyamba Okumanya Katonda Omulamu
OLUPAPULA 7 • ENNYIMBA: 110, 15
DDESEMBA 9-15, 2013
OLUPAPULA 12 • ENNYIMBA: 62, 84
DDESEMBA 16-22, 2013
Bye Tuyigira ku Ssaala Entegeke Obulungi
OLUPAPULA 21 • ENNYIMBA: 68, 6
DDESEMBA 23-29, 2013
Kolera ku Ebyo Ebiri mu Ssaala ya Yesu
OLUPAPULA 26 • ENNYIMBA: 57, 56
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
▪ Ebitonde Bituyamba Okumanya Katonda Omulamu
Katonda atalabika yatonda ebintu ebirabika. Ekyo naawe okikkiriza? Ekyo abantu abamu tebakikkiriza. Tuyinza tutya okubayamba okutegeera amazima agakwata ku Mutonzi ate mu kiseera kye kimu ne tunyweza okukkiriza kwaffe? Ekitundu kino kigenda kutuyamba okukola ekyo.
▪ Beera ‘Muddu wa Yakuwa’
Abakristaayo bakubirizibwa okuba abaddu ba Yakuwa. Ekitundu kino kigenda kutuyamba okulaba etteeka erikwata ku baddu Yakuwa lye yawa Abaisiraeri, engeri gye tuyinza okwewala okuba abaddu ba Sitaani n’ensi ye, era n’emikisa abaddu ba Katonda abeesigwa gye bafuna.
▪ Bye Tuyigira ku Ssaala Entegeke Obulungi
▪ Kolera ku Ebyo Ebiri mu Ssaala ya Yesu
Okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda buli lunaku, kituyamba okusaba essaala ez’amakulu. Ekitundu ekisooka kiraga engeri okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda gye kyayambamu Abaleevi okusaba essaala ey’amakulu. Ekitundu eky’okubiri kiraga engeri gye tusobola okukolera ku bigambo ebiri mu emu ku ssaala za Yesu. Essaala ezo ebiri ziraga nti bwe tuba tusaba, tusaanidde okukulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala mu kifo ky’okukulembeza ebyaffe.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
3 Beewaayo Kyeyagalire—Mu Philippines
KU DDIBA: Omubuulizi ng’abuulira mu kabuga Panajachel, akasangibwa ku lubalama lw’Ennyanja Atitlan. Ng’oggyeko Olusipeyini, Abajulirwa ba Yakuwa mu Guatemala babuulira amawulire amalungi ne mu nnimi endala 11
GUATEMALA
ABANTU:
15,169,000
ABABUULIZI:
34,693
ABAYIZI BA BAYIBULI:
47,606