Ebirimu
Ssebutemba 15, 2014
© 2014 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
OKITOBBA 27, 2014–NOOVEMBA 2, 2014
Biki Ebikukakasa nti Wazuula Amazima?
OLUPAPULA 7 ENNYIMBA: 28, 107
NOOVEMBA 3-9, 2014
Weereza Katonda n’Obwesigwa Wadde ng’Oyita mu “Kubonaabona Kungi”
OLUPAPULA 12 ENNYIMBA: 135, 133
NOOVEMBA 10-16, 2014
Abazadde—Muyambe Abaana Bammwe mu by’Omwoyo
OLUPAPULA 17 ENNYIMBA: 88, 24
NOOVEMBA 17-23, 2014
Omulabe Alisembayo Okuggibwawo Kwe Kufa
OLUPAPULA 23 ENNYIMBA: 111, 109
NOOVEMBA 24-30, 2014
Jjukira Abo Abali mu Buweereza obw’Ekiseera Kyonna
OLUPAPULA 28 ENNYIMBA: 95, 100
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
▪ Biki Ebikukakasa nti Wazuula Amazima?
Ekitundu kino kiraga ezimu ku nsonga ezireetedde abantu bangi okukiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa be Bakristaayo ab’amazima. Era kiraga ensonga lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bakakafu nti be balina amazima.
▪ Weereza Katonda n’Obwesigwa Wadde ng’Oyita mu “Kubonaabona Kungi”
Tetuyinza kwewalira ddala bizibu mu nsi ya Sitaani eno. Ebizibu ebimu biringa obulumbaganyi obujja obutereevu ate ebirala biringa obwo obujja mu ngeri enneekusifu. Ekitundu kino kijja kutuyamba okutegeera obulumbaganyi bwa Sitaani n’okubwetegekera.
▪ Abazadde—Muyambe Abaana Bammwe mu by’Omwoyo
Abazadde basaanidde okukuza abaana baabwe ‘mu kukangavvula kwa Yakuwa era balina okubateekamu endowooza ye.’ (Bef. 6:4) Ekitundu kino kiraga ebintu bisatu abazadde bye basobola okukola okuyamba abaana baabwe mu by’omwoyo.
▪ Omulabe Alisembayo Okuggibwawo Kwe Kufa
Okufa kwayingira kutya mu nsi? Okufa, “Omulabe alisembayo okuggibwawo” aliggibwawo atya? (1 Kol. 15:26) Laba engeri eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo gye biraga nti Yakuwa mwenkanya, wa magezi, era nti alina okwagala kungi.
▪ Jjukira Abo Abali mu Buweereza obw’Ekiseera Kyonna
Wadde ng’ensi eno erimu ebizibu bingi, waliwo abantu bangi abaweereza Yakuwa mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Tuyinza tutya ‘okujjukira omulimu gwe bakola n’okufuba kwabwe’?—1 Bas. 1:3.
KU DDIBA: Ab’oluganda babiri nga babuulira omuvubi w’eby’ennyanja mu Negombo ku mwalo oguli e bugwanjuba bwa Sri Lanka
SRI LANKA
ABANTU
20,860,000
ABABUULIZI
5,600
BAPAYONIYA ABA BULIJJO
641