LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 11/1 lup. 3
  • Ddala Sitaani Gyali?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ddala Sitaani Gyali?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Similar Material
  • Beera Bulindaala—Sitaani Ayagala Kukulya!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Manya Omulabe Wo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Omulyolyomi y’Ani?
    Katonda Atwetaagisa Ki?
  • Abalabe ba katonda Be Baani?
    Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 11/1 lup. 3

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | DDALA SITAANI GYALI?

Ddala Sitaani Gyali?

Ekibumbe ekiraga Sitaani nga malayika eyasuulibwa

Ekibumbe ekiri mu kibuga Madrid eky’omu Sipeyini, ekiraga Sitaani nga malayika eyasuulibwa

“Nnakulira mu El Salvador. Bwe nnajeemeranga maama wange nga nkyali muto, yaŋŋambanga nti, ‘Sitaani agenda kujja akutwale!’ Nnamuddangamu nti, ‘Oba ajja ajje!’ Nnali nzikiriza nti Katonda gyali, naye nga sikkiriza nti Sitaani gyali.”​—ROGELIO.

Okkiriziganya ne Rogelio? Ku ndowooza zino wammanga, eruwa entuufu?

  • Sitaani si wa ddala, wabula ye ndowooza embi eba mu bantu.

  • Sitaani gyali, naye talina ky’ayinza kukola bantu.

  • Sitaani kitonde kya mwoyo; alina amaanyi mangi, era aleetera abantu okukola ebintu ebibi.

Waliwo abantu bukadde na bukadde abalina endowooza ng’ezo ku Sitaani. Naye olowooza kikulu okumanya ekituufu? Bwe kiba nti Sitaani taliiyo, abo abagamba nti gyali baba bakyamu. Bwe kiba nti Sitaani gyali naye nga talina ky’ayinza kukola bantu, abamutya bamutiira bwereere. Naye bwe kiba nti Sitaani gyali era nti aleetera abantu okukola ebintu ebibi, kiba kitegeeza nti wa bulabe nnyo n’okusinga abamu bwe balowooza.

Ka tulabe engeri Ebyawandiikibwa Ebitukuvu gye biddamu ebibuuzo bino: Sitaani y’ani oba kye ki? Kitonde kya mwoyo oba ye ndowooza embi eba mu bantu? Bwe kiba nti Sitaani gyali, wa bulabe gy’oli? Bwe kiba nti wa bulabe, oyinza otya okumuziyiza n’atakutuusaako kabi?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share