Ebirimu
Ddesemba 15, 2014
© 2014 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
FEBWALI 2-8, 2015
‘Muwulirize era Mutegeere Amakulu’
OLUPAPULA 6 ENNYIMBA: 92, 120
FEBWALI 9-15, 2015
OLUPAPULA 11 ENNYIMBA: 97, 96
FEBWALI 16-22, 2015
Okuba Obumu Kijja Kutuyamba Okuwonawo
OLUPAPULA 22 ENNYIMBA: 107, 29
FEBWALI 23, 2015–MAAKI 1, 2015
Osiima Ebyo Katonda by’Akuwadde?
OLUPAPULA 27 ENNYIMBA: 89, 135
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
▪ ‘Muwulirize era Mutegeere Amakulu’
▪ ‘Otegeera Amakulu’?
Tuyinza tutya okukakasa nti tutegeera bulungi amakulu agali mu ngero za Yesu? Ebitundu bino ebibiri byogera ku ngero musanvu Yesu ze yakozesa ng’ayigiriza. Bijja kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okukolera ku ebyo ebiri mu ngero ezo nga tubuulira.
▪ Okuba Obumu Kijja Kutuyamba Okuwonawo
▪ Osiima Ebyo Katonda by’Akuwadde?
Mu nsi eno ng’abavubuka abasinga obungi beefaako bokka, lwaki abavubuka Abakristaayo balina okubeera obumu n’abantu ba Katonda? Ebitundu bino byogera ku byokulabirako ebirungi n’ebibi abantu abamu bye baateekawo, era bijja kutuyamba ffenna abakulu n’abato okumanya engeri gye tuyinza okusalawo mu ngeri ey’amagezi.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
4 Yakuwa Awa Omukisa Abo Abawaayo n’Omutima Ogutawalirizibwa
16 Okyajjukira?
17 Kikwetaagisa Okukyusa Endowooza Yo?
32 Olukalala lw’Emitwe Egibadde mu Omunaala gw’Omukuumi mu 2014
KU DDIBA: Abamu ku bantu abagenda okwesanyusaamu ku bbiiki y’e Tamarindo ku nnyanja Pacific mu Costa Rica kibasanyusa nnyo okukimanya nti mu kiseera eky’omu maaso ensi yonna ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda
COSTA RICA
ABABUULIZI
29,185
BAPAYONIYA
2,858
Erinnya lya Katonda, Yakuwa,
Jéoba
mu lulimi oluyitibwa Bribri
Jehová
mu lulimi oluyitibwa Cabecar
Ebibiina bibiri n’ebibinja bibiri bye bikozesa olulimi oluyitibwa Bribri, ate ebibiina bisatu n’ebibinja bina bye bikozesa olulimi oluyitibwa Cabecar. Ezo ze zimu ku nnimi ezoogerwa abantu b’omu Amerika