LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 3/1 lup. 12
  • Obadde Okimanyi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obadde Okimanyi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Similar Material
  • Amawanga Gategekebwa ‘Okuyigirizibwa Yakuwa’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Yakobo Agenda e Kalani
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Okulwanirira Amawulire Amalungi mu Mateeka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 3/1 lup. 12

OBADDE OKIMANYI?

Omutume Pawulo yaganyulwa atya mu kuba n’obutuuze bw’Abaruumi?

Omutume Pawulo Ajulira Kayisaali

Pawulo yagamba nti: “Njulira kayisaali!”

Omuntu eyabanga n’obutuuze bw’Abaruumi yabanga n’enkizo okukola ebintu ebimu mu matwale g’Abaruumi gonna awatali kukugirwa. Omuntu oyo yafugibwanga mateeka g’Abaruumi so si mateeka g’ebibuga ebyabanga mu matwale g’Abaruumi. Bwe yavunaanibwanga omusango, yabanga wa ddembe okukkiriza okuwozesebwa okusinziira ku mateeka g’omu kitundu kye yabeerangamu, oba okuwozesebwa mu kooti z’Abaruumi. Bwe baamusaliranga ogw’okufa, yabanga asobola okujulira ewa empula.

Cicero, omufuzi Omuruumi eyaliwo mu kyasa ekyasooka ng’embala eno tennatandika yawandiika nti: “Omuntu alina obutuuze bw’Abaruumi okumusiba akandooya kimenya mateeka; okumutulugunya kiba kibi nnyo; okumutta oba ng’asse muzadde wo oba omu ku b’eŋŋanda zo.”

Omutume Pawulo yabuulira mu bitundu bingi mu matwale g’Abaruumi. Emirundi esatu, Bayibuli eyogera ku ngeri Pawulo gye yakozesaamu eddembe lye yalina ng’omutuuze Omuruumi: (1) Yagamba abalamuzi b’omu Firipi nti okumukuba kwali kutyoboola ddembe lye. (2) Bwe yali mu Yerusaalemi, yalemesa abaali baagala okumukuba bwe yabagamba nti Muruumi. (3) Bwe yali awozesebwa yajulira Kayisaali, empula wa Rooma.—Ebikolwa 16:37-39; 22:25-28; 25:10-12.

Abasumba ab’edda baasasulwanga batya?

Endagaano ey’okugula endiga n’embuzi

Endagaano ey’okugula endiga n’embuzi eyakolebwa awo nga mu 2050 E.E.T.

Yakobo, omuweereza wa Katonda eyaliwo mu biseera eby’edda, yalunda endiga za kojja we Labbaani okumala emyaka 20. Oluvannyuma lwa Yakobo okukolera Labbaani emyaka 14, Labbaani yamusasulamu bawala be ababiri. Emyaka 6 egyasembayo, Labbaani yamusasulamu bisolo. (Olubereberye 30:25-33) Akatabo akayitibwa Biblical Archaeology Review kagamba nti, “Abawandiisi ab’edda n’abasomi b’ebiwandiiko bya Bayibuli baabanga bategeera bulungi endagaano ezaakolebwanga abasumba gamba ng’ezo Labbaani ze yakola ne Yakobo.”

Ebiwandiiko ebiriko endagaano ebyavumbulwa mu Nuzi, Larsa, n’ebifo ebirala eby’omu Iraq biraga nti abasumba baakolanga endagaano. Ebiwandiiko ebyo biraga nti endagaano ezo zaamalanga omwaka gumu okuva ku kiseera abasumba lwe baasalanga ebyoya ku ndiga okutuusa lwe baddangamu okuzisalako ebyoya. Abasumba baabanga n’obuvunaanyizibwa okulabirira ebisolo ebyabanga bibaweereddwa okusinziira ku myaka gyabyo n’ekikula kyabyo. Buli luvannyuma lwa mwaka, nnanyini ndiga yalinanga okuweebwa omuwendo omugereke ogw’ebyoya by’endiga, amata, obuliga, n’ebirala. Ebyafikkangawo ku bintu ebyo omusumba yabisigazanga ng’empeera ye.

Obunene bw’ekisibo bwasinziiranga ku muwendo gw’endiga enkazi ezaabanga ziweereddwa omusumba. Omusumba bwe yaweebwanga endiga enkazi 100 yabanga asuubirwa okuwa mukama we obuliga 80. Omuwendo ogwo bwe gutaaweranga, omusumba yatoolanga ku kisibo ekikye n’aweza omuwendo ogwo. Ekyo kyakubirizanga omusumba okulabirira obulungi ensolo ezaabanga zimukwasiddwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share