LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 4/1 lup. 4-7
  • Enteekateeka y’Okuyigirizibwa Bayibuli ya Bonna

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Enteekateeka y’Okuyigirizibwa Bayibuli ya Bonna
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EBIBUUZO EBIKWATA KU NTEEKATEEKA EY’OKUYIGIRIZIBWA BAYIBULI ABANTU BYE BATERA OKUBUUZA
  • Enteekateeka y’Abajulirwa ba Yakuwa ey’Okuyigiriza Abantu Bayibuli Ebeera Etya?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa Abantu Bye Batera Okwebuuza
  • Wa we tusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu ennyo mu bulamu?
    Wa we tusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu ennyo mu bulamu?
  • Onyumiddwa by’oyize?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Amasomo Agatandikirwako mu Kuyiga Bayibuli
  • Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli?
    Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli?
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 4/1 lup. 4-7
Abantu nga bayigirizibwa Bayibuli

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | WANDYAGADDE OKUYIGIRIZIBWA BAYIBULI?

Enteekateeka Y’okuyigirizibwa Bayibuli Ya Bonna

Abajulirwa ba Yakuwa tumanyiddwa nnyo olw’omulimu gw’okubuulira abantu buli wamu. Naye obadde okimanyi nti tulina n’enteekateeka ey’okuyigiriza abantu Bayibuli mu nsi yonna?

Omusajja ng’ayigirizibwa Bayibuli mu kifo gy’akolera

Mu 2014, Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu 8,000,000 mu nsi 240, baayigirizanga Bayibuli abantu abakunukkiriza 9,500,000 buli mwezi.a Mu butuufu, omuwendo gw’abantu be tuyigiriza Bayibuli gusinga omuwendo gw’abantu abali mu nsi ez’enjawulo 140!

Okusobola okukola obulungi omulimu guno, buli mwaka Abajulirwa ba Yakuwa bakuba mu kyapa Bayibuli, ebitabo, magazini, n’ebintu ebirala ebyetaagisa ebiwerera ddala kumpi akawumbi kamu n’ekitundu mu nnimi nga 700! Ebitabo bino biyamba abantu okuyigirizibwa Bayibuli mu lulimi lwe baba baagadde.

“Bwe nnali ku ssomero nnali sinyumirwa kusoma, naye okuyiga Bayibuli kwanyumira nnyo. Ate n’ebintu bye nnayiga byambudabuuda nnyo!”—Katlego, South Africa.

“Okuyigirizibwa Bayibuli kyannyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye nnali nneebuuza n’ebirala bingi.”—Bertha, Mexico.

“Banjigiririzanga mu maka gange era mu kiseera kye nnali njagala. Ekyo kyansanyusa nnyo!”—Eziquiel, Brazil.

“Nnayiganga okumala eddakiika 15 oba 30, ate ebiseera ebimu twamalanga ekiseera kiwanvuko, okusinziira ku biseera bye nnabanga nabyo.”—Viniana, Australia.

“Banjigiririzanga bwereere. Ekyo kyanneewuunyisa nnyo!”—Aimé, Benin.

“Eyali anjigiriza Bayibuli yali wa kisa nnyo era nga mugumiikiriza. Twafuuka ba mukwano nnyo.”—Karen, Northern Ireland.

“Abantu bangi bayiga Bayibuli naye ne batafuuka Bajulirwa ba Yakuwa.”—Denton, Bungereza.

EBIBUUZO EBIKWATA KU NTEEKATEEKA EY’OKUYIGIRIZIBWA BAYIBULI ABANTU BYE BATERA OKUBUUZA

Omuntu ayigirizibwa atya Bayibuli?

Tufunayo ensonga ezitali zimu ezikwata ku Bayibuli, ne twekenneenya ebyawandiikibwa ebizoogerako. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli eddamu ebibuuzo nga bino: Katonda y’ani? Alina ngeri ki? Alina erinnya? Abeera wa? Tusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye? Ekitera okuba ekizibu kwe kumanya wa ebyawandiikibwa ebiddamu ebibuuzo ng’ebyo we biri mu Bayibuli.

Okusobola okuyamba bantu okufuna eby’okuddamu, tutera okukozesa akatabo ak’empapula 224, akalina omutwe Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?b Akatabo kano kaategekebwa okuyamba abantu okutegeera enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako. Kalimu essuula ezoogera ku Katonda, ku Yesu Kristo, ku kubonaabona, ku kuzuukira, ku kusaba, ne ku nsonga endala nnyingi.

Omuntu ayigirizibwa ddi era wa?

Tuyigiriza abantu mu kiseera n’ekifo kye baagala.

Mumala essaawa mmeka nga muyigiriza omuntu?

Abantu bangi basalawo okuyigirizibwa okumala essaawa ng’emu buli wiiki. Naye ebiseera bye tumala nga tuyigiriza abantu byawukana. Tusobola okukyusakyusaamu okusinziira ku nteekateeka yo. Abamu bayigirizibwa okumala eddakiika 10 oba 15 buli wiiki.

Omuntu asasula ssente mmeka okuyigirizibwa Bayibuli?

Okuyigirizibwa Bayibuli kwa bwereere, n’ebitabo bye tukozesa bya bwereere. Kino kikwatagana n’ekiragiro Yesu kye yawa abayigirizwa be ekigamba nti: “Mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.”—Matayo 10:8.

Omuntu amala bbanga lyenkana wa ng’ayigirizibwa Bayibuli?

Tusobola okuyigiriza omuntu okumala ebbanga lyonna ly’ayagala. Akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? kalimu essuula 19. Osobola okuyigirizibwa essuula zonna oba ezimu ku zo okusinziira ku biseera by’oba nabyo.

Bwe mmala okuyigirizibwa mba nnina okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa?

Nedda. Buli muntu wa ddembe okwesalirawo ky’anaakkiririzaamu. Naye omuntu bw’ayigirizibwa Bayibuli aba asobola okusalawo obulungi.

Nnyinza ntya okumanya ebisingawo?

Omukutu gwaffe ogwa Intaneeti jw.org guliko obubaka obukwata ku nzikiriza z’Abajulirwa ba Yakuwa n’ebyo bye bakola.

Nnyinza ntya okusaba okuyigirizibwa Bayibuli?

Abantu nga basaba okuyigirizibwa Bayibuli: omu ng’akozesa intaneeti, omulala ng’awandiika ebbaluwa
  • Jjuzaamu akakonge akali ku mukutu gwaffe www.pr418.com/lg.

  • Tuwandiikire ng’okozesa emu ku ndagiriro eziri ku lupapula olw’okubiri olw’akatabo kano.

  • Genda Abajulirwa ba Yakuwa we bakuŋŋaanira.

a Tuyigiriza abantu kinnoomu oba abantu abatonotono nga bali wamu.

b Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Kopi z’akatabo kano ezikubiddwa zisukka mu bukadde 230 mu nnimi ezisukka 260.

AB’OMU MAKA BAGANYULWA

Eziquiel

“Mukyala wange bwe yatandika okuyiga Bayibuli, yakola enkyukakyuka ez’amaanyi era amaka gaffe geeyongera okubaamu essanyu. Olw’okuba nnali njagala okumanya bye yali ayiga, nange nnatandika okuyiga. Bye nnayiga byannyamba okukyusa enneeyisa yange. Okuyiga Bayibuli kyayamba amaka gaffe okuba obumu.”—Eziquiel.

Karen

“Bwe nnatandika okuyiga Bayibuli, nnalekera awo okukozesa ebiragalalagala n’okunywa omwenge omungi, era nnayiga okufuga obusungu. Kati ennyumba yange nnyonjo era buli kimu kitegeke bulungi. Njagala nnyo ab’omu maka gange era nkola ebibasanyusa. Ndi musanyufu nnyo.”—Karen.

Viniana

“Abantu abamu banvumiriranga olw’okuyiga Bayibuli. Naye omwami wange yampagira ng’agamba nti: ‘Sijja kuwuliriza ebyo abalala bye boogera kubanga nkiraba nti okoze enkyukakyuka ennungi. Weeyongere okukola ekyo ky’okola.’ Amaka gaffe kati masanyufu nnyo!”—Viniana.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share