Ebitundu Eby’Okusoma
Jjulaayi 15, 2015
© 2015 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
AGUSITO 31, 2015–SSEBUTEMBA 6, 2015
Fuba Okwongera Okulungiya Olusuku olw’Eby’Omwoyo
OLUPAPULA 7
SSEBUTEMBA 7-13, 2015
‘Okununulibwa Kwammwe Kunaatera Okutuuka’!
OLUPAPULA 14
SSEBUTEMBA 14-20, 2015
Weeyongere Okuwagira Obwakabaka bwa Katonda
OLUPAPULA 22
SSEBUTEMBA 21-27, 2015
OLUPAPULA 27
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
▪ Fuba Okwongera Okulungiya Olusuku olw’Eby’Omwoyo
Abantu ba Yakuwa bali mu lusuku olw’eby’omwoyo mu kitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Katonda. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima olusuku olw’eby’omwoyo Yakuwa lw’atuwadde, era buli omu ku ffe ayinza kukola ki okwongera okulungiya olusuku olwo? Ekitundu kino kiddamu ekibuuzo ekyo.
▪ ‘Okununulibwa Kwammwe Kunaatera Okutuuka’!
Ekitundu kino kiraga ebimu ku bintu eby’ekitalo ebinaatera okubaawo. Era kiraga ensonga lwaki abantu ba Katonda tebasaanidde kutya ebyo ebijja okubaawo mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene.
▪ Weeyongere Okuwagira Obwakabaka bwa Katonda
Abantu bangi mu nsi eno beenyumiririza nnyo mu ggwanga lyabwe, langi yaabwe, oba olulimi lwabwe. Naye Abakristaayo beeyama okuba abeesigwa eri Yakuwa. Ekitundu kino kiraga ensonga lwaki tetwenyigira mu bukuubagano bw’ensi eno era kiraga engeri gye tuyinza okutendekamu ebirowoozo byaffe n’omuntu waffe ow’omunda kituyambe okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa.
▪ Kino Kye Kifo Mwe Tusinziza
Abantu ba Yakuwa okwetooloola ensi bakuŋŋaanira mu Bizimbe by’Obwakabaka nkumi na nkumi ne mu bifo ebirala okusinza. Ekitundu kino kiraga emisingi gya Bayibuli egisobola okutuyamba okumanya engeri gye tusaanidde okweyisaamu nga tuli mu nkuŋŋaana zaffe n’engeri gye tuyinza okuwagira omulimu ogw’okuzimba n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka, tusobole okuweesa Yakuwa ekitiibwa.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
3 Beewaayo Kyeyagalire—Mu Russia
12 Okuweereza Yakuwa mu ‘Nnaku Embi’
KU DDIBA: Ababuulizi nga baliko kye balya oluvannyuma beeyongereyo okubuulira mu bitundu by’e Siberia
RUSSIA
ABANTU
143,930,000
ABABUULIZI