Ebirimu
WIIKI YA MAAYI 2-8, 2016
3 Abaana—Mutuuse Okubatizibwa?
WIIKI YA MAAYI 9-15, 2016
8 Abaana—Muyinza Mutya Okwetegekera Okubatizibwa?
Abaweereza ba Yakuwa kitusanyusa nnyo okulaba nga buli mwaka abantu nga 250,000 be babatizibwa. Bangi ku abo ababatizibwa baba baana ng’abamu ku bo tebannatuuka mu myaka gya butiini. Kiki ekibayamba okukimanya nti batuuse okwewaayo eri Yakuwa? Kiki kye bakola okweteekerateekera okubatizibwa? Ebitundu bino ebibiri bijja kuddamu ebibuuzo ebyo.
WIIKI YA MAAYI 16-22, 2016
13 Biki by’Osobola Okukola Okunyweza Obumu bw’Ekibiina?
Yakuwa atuwa emikisa nga tukolera wamu. Ekitundu kino kituyamba okumanya engeri gye tuyinza okukolera awamu mu mulimu gw’okubuulira, mu kibiina, ne mu maka.
WIIKI YA MAAYI 23-29, 2016
18 Yakuwa Ayamba Abantu Be Okutambulira mu Kkubo ery’Obulamu
Yakuwa bulijjo abadde awa abantu be obulagirizi. Ekitundu kino kiraga engeri Yakuwa gy’azze awaamu abantu be obulagirizi obupya okusinziira ku mbeera eba ezzeewo. Tujja kulaba engeri gye tuyinza okukiragamu nti tunoonya obulagirizi bwa Yakuwa.