LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp16 Na. 4 lup. 5
  • Abantu Tebaasobola Kusaanyaawo Bayibuli

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abantu Tebaasobola Kusaanyaawo Bayibuli
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Similar Material
  • Engeri Bayibuli gy’Ekuumiddwamu Okutuukira Ddala mu Kiseera Kyaffe
    Zuukuka!—2007
  • Yakuwa Katonda Ayogera eri Abantu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Bayibuli—Bubaka bwa Katonda Gye Tuli
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
wp16 Na. 4 lup. 5

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BAYIBULI​—YAWONA OKUSAANAWO

Abantu Tebaasobola Kusaanyaawo Bayibuli

BUZIBU KI OBWALIWO?: Bannabyabufuzi ne bannaddiini bangi baalina ebigendererwa ebikontana n’ebiri mu Bayibuli. Emirundi mingi baakozesanga obuyinza bwabwe okulemesa abantu okufuna Bayibuli, okuzivvuunula, n’okuzibunyisa. Lowooza ku byokulabirako bino ebibiri:

  • Awo nga mu mwaka gwa 167 E.E.T.a: Kabaka Antiyokasi Epifanesi, eyayagala okuwaliriza Abayudaaya bonna okusinza ng’Abayonaani, yalagira nti emizingo gyonna egy’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya gisaanyizibwewo. Munnabyafaayo ayitibwa Heinrich Graetz agamba nti abakungu ba kabaka oyo “baanoonya emizingo gy’Amateeka buli wamu ne bagiyuza era ne bagyokya, era ne batta buli gwe baasanga ng’agisoma.”

  • Wakati w’omwaka gwa 500 E.E. ne 1500 E.E.: Abakulembeze b’eddiini y’Ekikatuliki abamu baanyiiga nnyo bwe baakizuula nti abantu ba bulijjo baali babuulira abantu ebiri mu Bayibuli mu kifo ky’enjigiriza z’Ekkereziya. Abantu abaabanga n’ebitabo bya Bayibuli ebirala, ng’oggyeeko ekitabo kya Zabbuli ekyali mu Lulattini, baatwalibwanga ng’abajeemedde Ekkereziya. Ekkereziya yayisa ekiragiro nti abasajja baabwe “banoonye buli wamu abantu abawakanya oba abateeberezebwa okuwakanya enjigiriza z’Ekkereziya. . . . Ennyumba eyandisangiddwamu omuntu awakanya enjigiriza z’Ekkereziya yalina okusaanyizibwawo.”

Singa abantu abaali batayagala Bayibuli baagisaanyaawo, obubaka obugirimu nabwo bwandibadde bwasaanawo.

Olupapula olwaggibwa mu Bayibuli y’Olungereza eyavvuunulwa William Tyndale

Enkyusa ya Bayibuli ey’Olungereza eya William Tyndale ekyaliwo, wadde nga mu kiseera kye Bayibuli zaali zaawerebwa, nga zookebwa, era nga naye kennyini yattibwa mu 1536

ENGERI BAYIBULI GYE YAWONA OKUSAANAWO: Kabaka Antiyokasi yayiggannya nnyo Abayudaaya abaali mu Isirayiri, naye waaliwo Abayudaaya bangi abaali mu bitundu ebirala. Mu butuufu, bannabyafaayo bagamba nti ekyasa ekyasooka we kyatuukira, kirabika Abayudaaya 60 ku buli kikumi baali tebabeera mu Isirayiri. Abayudaaya baaterekanga kopi z’Ebyawandiikibwa mu makuŋŋaaniro gaabwe, era Ebyawandiikibwa ebyo bye byakozesebwanga abantu ab’emirembe egyaddawo, nga mw’otwalidde n’Abakristaayo.—Ebikolwa 15:21.

Wakati w’omwaka gwa 500 E.E. ne 1500 E.E.T., abantu abaali baagala ennyo Bayibuli baagumira okuyigganyizibwa ne bavvuunula era ne bakoppolola Ebyawandiikibwa. Ekyuma ekikuba ebitabo kyagenda okukolebwa mu kyasa eky’ekkumi n’ettaano, kirabika ebimu ku bitabo bya Bayibuli byaliwo mu nnimi nga 33. Oluvannyuma, Bayibuli yavvuunulwa era n’ebunyisibwa nnyo.

EKYAVAAMU: Wadde nga bakabaka ab’amaanyi ne bannaddiini baagezaako okusaanyaawo Bayibuli, Bayibuli kye kitabo ekikyasinze okuvvuunulwa n’okubunyisibwa mu byafaayo. Ereetedde amateeka g’ensi ezimu n’ennimi okukyuka, era ekyusizza n’obulamu bw’abantu bangi.

[Obugambo obuli wansi]

a E.E.T. kitegeeza Embala Eno nga Tennatandika, ate E.E kitegeeza Embala Eno.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share