LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp17 Na. 4 lup. 4-7
  • Bayibuli ky’Eyogera ku Bulamu n’Okufa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bayibuli ky’Eyogera ku Bulamu n’Okufa
  • munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Subheadings
  • Similar Material
  • BAYIBULI ETUYAMBA OKUMANYA EKITUUFU
  • ENJIGIRIZA EYO GYE YAVA
  • “AMAZIMA GAJJA KUBAFUULA BA DDEMBE”
  • Abafu Bali Ludda Wa?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Omwoyo Kye Ki?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Kiki Ddala Ekibaawo ng’Omuntu Afudde?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
wp17 Na. 4 lup. 4-7
Omulambo nga guteekeddwa mu ntaana

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BAYIBULI EYOGERA KI KU BULAMU N’OKUFA?

Bayibuli ky’Eyogera ku Bulamu n’Okufa

Katonda yagamba Adamu omuntu eyasooka nti: “Ku buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’oyagala. Naye omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi togulyangako, kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.” (Olubereberye 2:16, 17) Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti singa Adamu yagondera ekiragiro ekyo, yandibadde akyaliwo.

Adamu ne Kaawa nga bakaddiye

Eky’ennaku, Kaawa bwe yawa Adamu ekibala Katonda kye yabagaana, Adamu yasalawo okujeemera Katonda n’alya ekibala ekyo. (Olubereberye 3:1-6) N’okutuusa kati tukyafuna ebizibu ebyava mu bujeemu bwa Adamu. Omutume Pawulo yagamba nti: “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” (Abaruumi 5:12) ‘Omuntu omu’ ayogerwako wano ye Adamu. Naye kibi ki kye yakola, era lwaki kituviirako okufa?

Ekibi Adamu kye yakola kwe kujeemera Katonda mu bugenderevu. (1 Yokaana 3:4) Katonda yagamba Adamu nti bwe yandimujeemedde yandifudde. Adamu awamu n’abaana be yandizadde bwe bandigondedde Katonda, tebandifudde. Katonda teyayagala tufe, wabula yayagala tubeerewo emirembe gyonna.

Kyeyoleka kaati nti okufa ‘kwabuna ku bantu bonna’ nga Bayibuli bw’egamba. Naye kiki ekituuka ku muntu ng’afudde? Waliwo ekiwonawo? Abantu bangi balowooza nti omuntu bw’afa omwoyo gwe gumuvaamu ne gusigala nga mulamu. Bwe kiba kityo, kiba kitegeeza nti Katonda yalimba Adamu. Lwaki tugamba bwe tutyo? Bwe kiba nti omuntu bw’afa omwoyo gwe gusigala mulamu, awo okufa tekiba kibonerezo omuntu ky’afuna olw’okukola ekibi, nga Katonda bwe yagamba. Bayibuli egamba nti: “Katonda tayinza kulimba.” (Abebbulaniya 6:18) Mu butuufu, Sitaani ye yalimba bwe yagamba Kaawa nti: “Temujja kufa.”​—Olubereberye 3:4.

Ekyo nno kireetawo ekibuuzo ekirala. Bwe kiba nti enjigiriza egamba nti omuntu bw’afa omwoyo gwe gusigala mulamu si ntuufu, kati olwo kiki ekituuka ku muntu ng’afudde?

BAYIBULI ETUYAMBA OKUMANYA EKITUUFU

Bayibuli egamba nti: “Yakuwa Katonda n’akola omuntu mu nfuufu y’ensi n’afuuwa mu nnyindo ze omukka ogw’obulamu, omuntu n’afuuka omuntu omulamu.” Ebigambo “omuntu omulamu” biva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ne’phesh,a ekitegeeza “ekitonde ekissa omukka.”​—Olubereberye 2:7.

Okusinziira ku ebyo bye tulabye, abantu tebalina mwoyo ogutafa, era ne bw’onoonya otya mu Bayibuli, tosobola kusangamu lunyiriri na lumu lulaga nti omuntu alina omwoyo ogutafa.

Bwe kiba nti enjigiriza eyo teri mu Bayibuli, lwaki amadiini mangi gayigiriza nti abantu balina omwoyo ogutafa? Enjigiriza eyo yasibuka mu Misiri ey’edda.

ENJIGIRIZA EYO GYE YAVA

Munnabyafaayo Omuyonaani ayitibwa Herodotus eyaliwo mu kyasa eky’okutaano E.E.T., yagamba nti Abamisiri be baasooka okukkiriza nti omuntu bw’afa, omwoyo gwe gusigala mulamu.” Abababulooni nabo baali bakkiriza nti abantu balina omwoyo ogutafa. Alexander the Great we yawambira ensi za Buwalabu mu mwaka gwa 332 E.E.T., abafirosoofo Abayonaani baali batumbudde enjigiriza eyo, era oluvannyuma lw’ekiseera kitono yabuna mu matwale ga Buyonaani gonna.

Mu Bayibuli tosobola kusangamu lunyiriri na lumu lulaga nti omuntu alina omwoyo ogutafa

Mu kyasa ekyasooka E.E., Abaasene n’Abafalisaayo baayigirizanga nti omuntu bw’afa omwoyo gwe gumuvaamu ne gusigala nga mulamu. Ekitabo ekiyitibwa The Jewish Encyclopedia kigamba nti: “Enjigiriza eyo Abayudaaya bagiggya ku Bayonaani, nnaddala ku mufirosoofo ayitibwa Plato.” Munnabyafaayo ayitibwa Josephus naye yagamba nti enjigiriza eyo teyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa Ebitukuvu, wabula ku “nzikiriza z’abaana ba Buyonaani,” ze yatwala ng’enfumo.

Obuwangwa bw’Abayonaani bwe bwagenda bubuna mu nsi, abo abaali beeyita Abakristaayo nabo baatandika okukkiririza mu njigiriza eyo. Munnabyafaayo ayitibwa Jona Lendering yagamba nti, “enjigiriza ya Plato eyali agamba nti emyoyo gyaffe gyaliko mu kifo ekirungi naye kati giri mu nsi eyonoonese, yakifuula kyangu okugattika enjigiriza za Plato n’enjigiriza z’Ekikristaayo.”

“AMAZIMA GAJJA KUBAFUULA BA DDEMBE”

Omutume Pawulo yagamba nti: “Mu biseera eby’omu maaso abamu bajja kuva mu kukkiriza, olw’okuwuliriza ebigambo ebibuzaabuza ebyaluŋŋamizibwa, n’okuyigiriza kwa badayimooni.” (1 Timoseewo 4:1) Ebigambo ebyo byatuukirira. Enjigiriza egamba nti omuntu bw’afa omwoyo gwe gusigala mulamu, y’emu ku ‘njigiriza za badayimooni.’ Enjigiriza eyo teyeesigamiziddwa ku Bayibuli, wabula yasibuka mu ddiini ez’obulimba ez’edda ne mu bufirosoofo.

Yesu yagamba nti: “Mujja kumanya amazima, era amazima gajja kubafuula ba ddembe.” (Yokaana 8:32) Bwe tusoma Bayibuli ne tutegeera amazima, tusobola okumanya enjigiriza ez’obulimba n’ebintu ebirala ebitasanyusa Katonda ebikolebwa mu madiini. Ate era amazima agali mu Kigambo kya Katonda gatuyamba okwewala obulombolombo obukwata ku bafu.​—Laba ebiri wansi w’omutwe, “Abantu Abaafa Bali Ludda Wa?”

Omutonzi waffe teyayagala tubeere ku nsi emyaka 70 oba 80 gyokka, oluvannyuma tufe tugende mu kifo ekirala tubeere eyo emirembe gyonna. Yali ayagala abantu babeere wano ku nsi emirembe gyonna nga bakola by’ayagala. Ekyo kiraga nti Katonda ayagala nnyo abantu era ekigendererwa kye kijja kutuukirira. (Malaki 3:6) Bayibuli egamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.”​—Zabbuli 37:29.

Okumanya ebisingawo ebikwata ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku bulamu n’okufa, soma essuula 6 ey’akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Osobola n’okukafuna ku www.pr418.com/lg.

a Mu Bayibuli y’Oluganda eya 1968, ekigambo ne’phesh kivvuunulwa nga “omukka omulamu.” Ate mu Bayibuli y’Oluganda eya 2003 kivvuunulwa nti, “omuntu yatandika okuba omulamu.”

Abantu Basobola Okuba Abalamu Emirembe Gyonna?

Emyaka mitono emabega bannassaayansi baazuula omuddo ku ntobo y’ennyanja gwe bateebereza okuba nti gubaddewo okumala enkumi n’enkumi z’emyaka, era nga kirabika omuddo ogwo gwe gukyasinze okuwangaala ku bintu ebiramu ebiri ku nsi. Ekika ky’omuddo ogwo kiyitibwa Posidonia oceanica, era nga gusangibwa ku ntobo y’Ennyanja Meditereniyani, wakati wa Spain ne Cyprus.

Bwe kiba nti omuddo obuddo gusobola okuwangaala emyaka emingi bwe gityo, olwo ate abantu? Bannassaayansi abanoonyereza ku kukaddiwa balina essuubi nti mu biseera eby’omu maaso, emyaka abantu gye bawangaala gijja kweyongerako. Ng’ekyokulabirako, waliwo ekitabo kye baawandiika ekiraga nti balina we batuuse ku nsonga eyo. Bangi balindiridde okulaba obanga bannassaayansi banaasobola okubaako kye bakolawo abantu ne beeyongera okuwangaala.

Kyokka, eky’abantu okubeerawo emirembe gyonna tekyesigamye ku nkulaakulana mu bya ssaayansi. Bayibuli egamba nti Omutonzi waffe Yakuwa ye “nsibuko y’obulamu.” (Zabbuli 36:9) Yesu bwe yali asaba Katonda yagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) Bwe tufuba okumanya Yakuwa Katonda n’Omwana we Yesu Kristo, tujja kufuna obulamu obutaggwaawo.

Omuddo ogw’omu nnyanja

Bannassaayansi baazuula omuddo ogw’ekika kino ogubaddewo okumala enkumi n’enkumi z’emyaka

ABANTU ABAAFA BALI LUDDA WA?

Yesu azuukiza Laazaalo

Bayibuli egamba nti abantu abaafa bali mu ntaana balindiridde kuzuukira. (Yokaana 5:28, 29) Tebabonaabona era tebawulira bulumi bwonna, kubanga “abafu tebaliiko kye bamanyi.” (Omubuulizi 9:5) Yesu okufa yakugeraageranya ku kwebaka otulo otungi. (Yokaana 11:11-14) N’olwekyo, tetusaanidde kutya bafu oba okubaako bye tukola nga tutya nti bayinza okututuusaako akabi. Ate era tebasobola kutuyamba, kubanga ‘emagombe teriiyo mulimu, wadde okukola enteekateeka, wadde okumanya, wadde amagezi.’ (Omubuulizi 9:10) Katonda ajja kuzuukiza abantu abaafa era aggirewo ddala okufa.​—1 Abakkolinso 15:26, 55; Okubikkulirwa 21:4.

Ensonga Lwaki Tusobola Okwesiga Bayibuli by’Egamba

Lwaki tusobola okwesiga ebiri mu Bayibuli? Lowooza ku nsonga zino:

  • Ekyoya n’akacupa ka bwino

    Gye Yava: Bayibuli erimu ebitabo 66 ebyawandiikibwa abasajja 40 mu bbanga lya myaka 1600, okuva mu mwaka gwa 1513 E.E.T. okutuukira ddala awo nga mwaka gwa 98 E.E. Wadde kiri kityo, ebiri mu Bayibuli bikwatagana bulungi. Ekyo kiraga nti Katonda omuyinza w’ebintu byonna ye yaluŋŋamya abasajja abaagiwandiika.

  • Empagi

    Ebirimu Bikwatagana n’Ebyafaayo: Ebiri mu Bayibuli bikwatagana bulungi n’ebyafaayo. Ekitabo ekiyitibwa A Lawyer Examines the Bible kigamba nti: ‘Okwawukana ku bitabo ebirimu engero n’enfumo, Bayibuli etubuulira ebifo n’ebiseera byennyini ebintu by’eyogerako we byabeererawo.’

  • Atomu

    By’Eyogera ku bya Ssaayansi Bituufu: Bayibuli si kitabo kya ssaayansi, naye ebirimu bikwatagana bulungi n’ebyo bannassaayansi bye baazuula. Ng’ekyokulabirako, Eby’Abaleevi essuula 13 ne 14 mulimu amateeka agaaweebwa Abayisirayiri agakwata ku buyonjo n’okwawula abalwadde ku balamu. Mu kiseera ekyo abantu baali tebamanyi nti omuntu asobola okusiiga abalala obulwadde. Bayibuli era egamba nti ensi nneekulungirivu era nti eri mu bbanga. Ekyo bannassaayansi baakizuula luvannyuma nnyo.​—Yobu 26:7; Isaaya 40:22.

Ebyo bye bimu ku bikakasa nti Bayibuli ntuufu bw’egamba nti: “Buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda, era kigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kutereeza ebintu.”​—2 Timoseewo 3:16.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share