LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp18 Na. 1 lup. 12-13
  • 3 Etuyamba Okugumira Ebizibu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 3 Etuyamba Okugumira Ebizibu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OBULWADDE OBUTAWONA
  • OKUWULIRA ENNAKU OLW’OKUFIIRWA
  • Engeri Okusaba Gye Kuyinza Okukuyambamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
  • Okusaba—Engeri gye Kuyinza Okukuganyulamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
wp18 Na. 1 lup. 12-13
Omukazi akaabira ku malaalo; omukazi ali mu kagaali awuliriza obubaka obuva mu Bayibuli

3 Etuyamba Okugumira Ebizibu

Leero waliwo ebizibu bye tutasobola kwewala wadde okuggyawo. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ofiiriddwa omuntu wo, oba bw’oba olina obulwadde obutawona, oba tolina kya kukola wabula okugumira embeera eyo. Olowooza Bayibuli esobola okukuyamba mu mbeera ezo enzibu?

OBULWADDE OBUTAWONA

Rose agamba nti: “Nnazaalibwa n’obulwadde obundeetera obulumi obw’amaanyi ennyo. Omubiri gwange gunafuye nnyo.” Ekyali kisinga okumweraliikiriza kwe kuba nti ebiseera ebimu yali tasobola kussaayo mwoyo ng’asoma Bayibuli oba ebitabo ebirala ebikwata ku Katonda. Naye ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 19:26 byamuzzaamu nnyo amaanyi. Wagamba nti: “Eri Katonda ebintu byonna bisoboka.” Waliwo engeri ez’enjawulo Rose z’akozesa okuyiga ebikwata ku Katonda. Olw’okuba okusoma kumuzibuwalira nnyo olw’obulumi bw’alina, kati awuliriza buwuliriza Bayibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola nga bisomebwa.a Agamba nti: “Singa eby’okuwuliriza tebiriiwo, simanyi bwe nnandisobodde kukuuma nkolagana yange ne Katonda nga nnywevu.”

Rose bw’awulira ennaku olw’ebyo by’atakyasobola kukola, ebigambo ebiri mu 2 Abakkolinso 8:12 bimuzzaamu amaanyi. Wagamba nti: “Singa omuntu aba mwetegefu okubaako ky’awaayo, kikkirizibwa okusinziira ku ekyo ky’alina so si ky’atalina.” Ebigambo ebyo bijjukiza Rose nti Katonda asiima nnyo by’akola, kubanga akola ekyo ky’asobola mu mbeera gy’alimu.

OKUWULIRA ENNAKU OLW’OKUFIIRWA

Delphine, gwe twayogeddeko agamba nti: “Muwala wange ow’emyaka 18 bwe yafa, nnawulira ennaku ya maanyi nnyo nga simanyi nti nsobola okweyongera okuba omulamu. Nnali siwulirangako bwe ntyo.” Ebigambo ebiri mu Zabbuli 94:19 byamuzzaamu amaanyi. Omuwandiisi wa Zabbuli eyo yayogera bw’ati ku Katonda: “Bwe nnali nneeraliikirira nnyo, wambudaabuda era n’oŋŋumya.” Delphine agamba nti, “Nnasaba Yakuwa annyambe nfune eby’okukola ebisobola okukkakkanya ebirowoozo byange.”

Yasalawo okukola emirimu egiyamba abalala. Yeegeraageranya ku kalaamu eza langi ez’enjawulo omwana z’akozesa okusiiga​—n’ezo ezimenyese ziba zikyali za mugaso. Mu ngeri y’emu, wadde nga yali awulira ng’amenyese, yayiga nti yali akyasobola okuyamba abalala. Agamba nti: “Nnakiraba nti bwe nkozesa ebyawandiikibwa okuzzaamu abantu be njigiriza Bayibuli amaanyi, mu ngeri eyo Yakuwa aba anzizaamu amaanyi.” Yawandiika amannya g’abantu aboogerwako mu Bayibuli abaayitako mu mbeera gye yali ayitamu. Era agamba nti: “Nnakizuula nti abantu abo bonna baasabanga nnyo Katonda.” Ate era yakiraba nti “okusoma Bayibuli kuzzaamu amaanyi.”

Delphine alina ekintu ekirala ky’ayize mu kusoma Bayibuli. Ayize okulowooza ku by’omu maaso so si ku byayita. Essuubi eriri mu Ebikolwa 24:15 limuzzaamu nnyo amaanyi. Olunyiriri olwo lugamba nti: “Wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” Delphine mukakafu nti Yakuwa ajja kuzuukiza muwala we. Agamba nti: “Nninga alaba muwala wange nga Yakuwa amuzuukizizza. Mmulaba nga tuli wamu naye era nga mmwagala nnyo nga bwe nnali mmwagala nga nnaakamuzaala.”

a Obutambi bingi biri ku mukutu gwa Intaneeti ogwa jw.org.

Bayibuli esobola okukubudaabuda mu biseera ebizibu ennyo

KATONDA AYINZA KUTUYAMBA ATYA?

Bayibuli eddamu bulungi ekibuuzo ekyo. Egamba nti: “Yakuwa ali kumpi n’abo bonna abamukoowoola, abo bonna abamukoowoola mu mazima. Awa abo abamutya bye baagala; awulira okuwanjaga kwabwe n’abanunula.” (Zabbuli 145:18, 19) Ekyo tekizzaamu nnyo maanyi? Naye Katonda addamu atya okusaba kwaffe?

ATUWA AMAANYI:

Ebizibu bye tufuna bisobola okutumalamu amaanyi. (Engero 24:10) Naye ‘oyo akooye Yakuwa amuwa amaanyi, n’abo abatalina maanyi abawa amaanyi mangi nnyo.’ (Isaaya 40:29) Omutume Pawulo eyafuna ebizibu eby’amaanyi yagamba nti: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.” (Abafiripi 4:13) Omwoyo gwa Katonda omutukuvu gwawa Pawulo amaanyi. Naawe osobola okusaba Katonda akuwe omwoyo omutukuvu.​—Lukka 11:13.

ATUWA AMAGEZI:

Ate singa oyagala okutegeera ebyo Bayibuli by’eyigiriza n’okubikolerako? Omutume Yakobo yawandiika nti: “Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe eyeetaaga amagezi, asabenga Katonda, kubanga agabira bonna nga talina gw’akambuwalira; era gajja kumuweebwa.” (Yakobo 1:5) Osobola okukolera ku kusaba kwo ng’osoma Bayibuli era ng’okolera ku ebyo by’oyize. (Yakobo 1:23-25) Bw’onookola bw’otyo, ojja kulaba nti amagezi agali mu Bayibuli gakolera ddala.

ATUWA EMIREMBE:

Wadde ng’olina ebikweraliikiriza ennyo, Yakuwa asobola okukuyamba n’ofuna emirembe mu mutima. Bayibuli egamba nti: “Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga yonna mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga; era emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe okuyitira mu Kristo Yesu.” (Abafiripi 4:6, 7) N’olwekyo, bw’oba n’ebikweraliikiriza saba Katonda akuwe emirembe.

Watya singa ebizibu by’olina tebivaawo mangu? Tolowooza nti Katonda takufaako. Ebizibu ne bwe biba tebivuddeewo, Katonda asobola okukuwa amaanyi n’obigumira. (1 Abakkolinso 10:13) Ate era Bayibuli egamba nti ekiseera kijja kutuuka ebizibu byaffe byonna biviirewo ddala!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share