LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp19 Na. 2 lup. 10-11
  • Bw’Oba n’Obulwadde obw’Amaanyi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bw’Oba n’Obulwadde obw’Amaanyi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EBIYAMBYE ABAMU OKUGUMA
  • Ow’Omu Maka bw’Alwala
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
  • Yakuwa Katonda Wo Akutwala nti Oli wa Muwendo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Engeri Okusaba Gye Kuyinza Okukuyambamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
  • Okubudaabuda Abalwadde Abayi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
wp19 Na. 2 lup. 10-11

Bw’Oba n’Obulwadde obw’Amaanyi

Linda, ow’emyaka 71 yagamba nti: “Omusawo bwe yaŋŋamba nti nnina kookolo ow’amawuggwe n’ow’omu kyenda, nnawulira nga gwe basalidde ogw’okufa. Naye bwe nnaddayo eka, nnalowooza ku ekyo omusawo kye yali aŋŋambye. Wadde nga si kye nnali nsuubira, nnalina okufuna engeri ey’okukigumira.”

Elise, ow’emyaka 49 yagamba nti: “Nnina obulwadde obuleetera oluba lwange olwa kkono okunnuma ennyo. Oluusi obulumi obungi bwe nnina bundeetera okwennyamira n’okulowooza ku ky’okwetta.”

Omusajja omulwadde ali mu kagaali ng’ali wamu n’abantu be

KYERALIIKIRIZA nnyo bw’okimanya nti olina obulwadde obw’amaanyi obuyinza okukuviirako okufa oba nti omuntu gw’oyagala ennyo y’abulina. Ng’oggyeeko obulwadde, oba olina okugumira enneewulira ezikyukakyuka olw’obulwadde obwo. Oyinza okweyongera okweraliikirira n’okutya olw’okuba olina okugendanga mu ddwaliro buli kiseera, olw’okuzibuwalirwa okufuna obujjanjabi oba okubusasulira, oba olw’ebizibu ebirala ebijjawo olw’obujjanjabi bw’okozesa. Obulwadde buyinza okukuleetera okuwulira nga weetamiddwa obulamu.

Wa w’oyinza okufuna obuyambi? Bangi bakizudde nti okwesiga Katonda n’okumusaba, era n’okusoma ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi ebiri mu Bayibuli, kibudaabuda nnyo. Ab’omu maka go ne mikwano gyo nabo basobola okukuyamba.

EBIYAMBYE ABAMU OKUGUMA

Robert ow’emyaka 58 agamba nti: “Bw’oba omulwadde weesige Katonda nti ajja kukuyamba era mubuulire engeri gy’owuliramu. Musabe akuwe omwoyo gwe omutukuvu, era akuyambe okuguma osobole okuzzaamu ab’omu maka go amaanyi.”

“Kizzaamu nnyo amaanyi ab’omu maka go bwe bakubudaabuda era ne bakulaga nti bakufaako. Buli lunaku wabaawo abankubira essimu nga baagala okumanya bwe ndi. Mikwano gyange nabo banzizaamu nnyo amaanyi ne kinnyamba okuguma.”

Bw’oba ogenda okulaba omulwadde weetegereze Linda ky’agamba. Agamba nti: “Omulwadde aba tayagala kwogera ku bulwadde bwe buli kiseera. N’olwekyo, bw’oba onyumya naye yogera ku bintu ebirala.”

Amaanyi Katonda g’atuwa okuyitira mu kusaba n’okusoma Ebyawandiikibwa, awamu n’obuyambi bwe tufuna okuva mu b’omu maka gaffe ne mikwano gyaffe, bisobola okutuyamba okuguma nga tulina obulwadde obw’amaanyi.

Ebyawandiikibwa Ebisobola Okukuyamba

Weesige Katonda.

“Nnasaba Yakuwa n’addamu okusaba kwange. Yamponya byonna ebyali bintiisa. Omunaku ono yakoowoola, Yakuwa n’amuwulira.”​—Zabbuli 34:4, 6.

Linda, gwe twayogeddeko agamba nti: “Bwe mba nsaba Katonda simugamba kumponya, wabula mmusaba ampe amaanyi nsobole okugumiikiriza.”

Soma Ekigambo kya Katonda kikuyambe okuguma.

“Tewaliba muntu mu nsi eyo aligamba nti: ‘Ndi mulwadde.’”​—Isaaya 33:24.

Lowooza ku bisuubizo bya Katonda eby’ebiseera eby’omu maaso. Ekyo kijja kukuyamba okugumiikiriza.

Saba ab’omu maka go ne mikwano gyo bakuyambe.

“Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ebbanga lyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.”​—Engero 17:17.

Elise eyayogeddwako emabega agamba nti: “Teweeyawula ku balala. Kkiriza obuyambi mikwano gyo bwe bakuwa. Wabaawo ebiseera lw’oyinza okuwulira ng’ali wekka era n’olowooza nti ne Katonda tawulira kusaba kwo, naye mu biseera ng’ebyo tosaanidde kweyawula ku balala.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share