Ogw’Okusoma mu Kibiina
FEBWALI 2019
EBITUNDU EBY’OKUSOMA OKUVA NGA: APULI 8–MAAYI 5, 2019
© 2018 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
Akatabo kano tekatundibwa. Ke kamu ku ebyo ebikozesebwa mu mulimu gw’okuyigiriza abantu Bayibuli mu nsi yonna. Ssente ezikozesebwa mu mulimu guno ziweebwayo kyeyagalire. Bw’oba oyagala okubaako ky’owaayo, genda ku donate.jw.org.
Ebyawandiikibwa ebijuliziddwa mu katabo kano biggiddwa mu Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Enkyusa ya Bayibuli endala bw’eba ejuliziddwa, kijja kulagibwa.
EKIFAANANYI KU DDIBA:
Yakuwa yali ayagala abazadde bakuze bulungi abaana baabwe era babayigirize kiyambe abaana okuwulira nti balina obukuumi (Laba ekitundu eky’okusoma 9, akatundu 7-8)