Ogw’Okusoma mu Kibiina
AGUSITO 2019
EBITUNDU EBY’OKUSOMA OKUVA NGA: SSEBUTEMBA 30–OKITOBBA 27, 2019
© 2019 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
Akatabo kano tekatundibwa. Ke kamu ku ebyo ebikozesebwa mu mulimu gw’okuyigiriza abantu Bayibuli mu nsi yonna. Ssente ezikozesebwa mu mulimu guno ziweebwayo kyeyagalire. Bw’oba oyagala okubaako ky’owaayo, genda ku donate.jw.org.
Ebyawandiikibwa ebijuliziddwa mu katabo kano biggiddwa mu Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Enkyusa ya Bayibuli endala bw’eba ejuliziddwa, kijja kulagibwa.
EKIFAANANYI KU DDIBA:
Nga Pawulo asibiddwa mu nnyumba e Rooma, awandiikira ekibiina ky’e Firipi ebbaluwa. Era Pawulo akozesa buli kakisa k’afuna okubuulira abasirikale abamukuuma awamu n’abantu abajja okumulaba. (Laba ekitundu eky’okusoma ekya 32, akatundu 16)