Ogw’Okusoma mu Kibiina
NOOVEMBA 2019
EBITUNDU EBY’OKUSOMA OKUVA NGA: DDESEMBA 30, 2019–FEBWALI 2, 2020
© 2019 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
Akatabo kano tekatundibwa. Ke kamu ku ebyo ebikozesebwa mu mulimu gw’okuyigiriza abantu Bayibuli mu nsi yonna. Ssente ezikozesebwa mu mulimu guno ziweebwayo kyeyagalire. Bw’oba oyagala okubaako ky’owaayo, genda ku donate.jw.org.
Ebyawandiikibwa ebijuliziddwa mu katabo kano biggiddwa mu Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Enkyusa ya Bayibuli endala bw’eba ejuliziddwa, kijja kulagibwa.
EKIFAANANYI KU DDIBA:
Ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi, kabona asinga obukulu yayingiranga Awasinga Obutukuvu ng’alina obubaani n’ekyoterezo ekyabangako amanda agaaka okwotereza obubaani okujjuza ekifo kyonna akaloosa. Oluvannyuma yaddangamu okuyingira mu Awasinga Obutukuvu ng’alina omusaayi gw’ekiweebwayo olw’ekibi (Laba ekitundu eky’okusoma 47, akatundu 4)