Engeri y’Okubuuliramu Abasiraamu
1 Wali obuuliddeko Omusiraamu? Bwe kiba bwe kityo, oteekwa okuba ng’okimanyi nti Abasiraamu bakkiririza nnyo mu Katonda. Kyokka, bamanyi kitono nnyo ku bikwata ku lusuku lwa Katonda olunaabeera wano ku nsi bannabbi ba Yakuwa lwe baalagulako, era nga twandyagadde okubabuulira ebikwata ku lusuku olwo. (1 Tim. 2:3, 4) Bino wammanga bijja kutuyamba okumanya engeri y’okubabuuliramu.
2 Abasiraamu bakkiririza mu Allah, oba Katonda, era bakkiriza nti Muḥammad nnabbi wa Katonda. Ekitabo kyabwe ekitukuvu ye Korani, era ekigambo “Obusiraamu” kitegeeza “okugondera” Katonda. Korani egamba nti kikyamu okulimba n’okusinza ebifaananyi, nti Katonda ali omu, era nti tali mu busatu. Ate era, eyigiriza nti omuntu alina omwoyo ogutafa, nti waliwo omuliro ogutazikira, era nti olusuku lwa Katonda luli mu ggulu. Abasiraamu bakkiriza nti Bayibuli Kigambo kya Katonda naye bagamba nti yakyusibwamu, era nti Korani ye ntuufu kubanga ekyali mu lulimi lwayo mwe yawandiikibwa.
3 Yogera mu Ngeri ey’Omukwano, era Beera Mwegendereza: Bw’oba oyogera n’Omusiraamu, yogera mu ngeri ey’omukwano era beera mwegendereza. (Nge. 25:15) Kijjukire nti balina enzikiriza ezaasimba amakanda mu mitima gyabwe era ng’ezisinga obungi baazikwata bukusu. Tebaamanyiira nkola ya kufumiitiriza ku bikwata ku Katonda okusobola okumanya by’ayagala. (Bar. 12:2) N’olwekyo okusobola okubayamba, kyetaagisa obugumiikiriza n’okukozesa amagezi.—1 Kol. 9:19-23.
4 Weewale okukozesa ebigambo ebiyinza okuleetera Omusiraamu okulowooza nti oli Mulokole, Mukatuliki, Mupolotesitanti oba nti oli omu ku abo abali mu madiini amalala ageeyita Amakristaayo. Mulagirewo nti oli wa njawulo. Bayibuli giyite Ekitabo kya Katonda. Okuva bwe kiri nti Abasiraamu tebaagalira ddala kuwulira bigambo “Omwana wa Katonda,” weewale okubikozesa nga mukubaganya ebirowoozo okutuusa ng’akulaakulanye mu by’omwoyo. Bw’oba oyogera ku Yesu, muyite nnabbi oba omubaka wa Katonda. Weewale okuwakana. Bw’olaba ng’atandise okunyiiga, muviire mangu.
5 Kya magezi okwogera n’omuntu omu mu kifo ky’okwogera nabo nga bangi. Kiba kirungi bannyinaffe okubuulira abakyala, ate baganda baffe ne babuulira abaami. Ekyo bwe kiba tekisobose, omubuulizi asaanidde okukozesa amagezi. Ate era, waliwo ennyambala n’engeri y’okwekolako Abasiraamu bangi bye batwala nti tebisaanira. N’olwekyo bannyinaffe basaanidde okufaayo ennyo ku nsonga eyo.—1 Kol. 10:31-33.
6 Eby’Okwogerako: Mulage nti Katonda y’asukkulumye ku bintu byonna era nti wa kwagala. Totya kumugamba nti oli mukkiriza, nti Katonda ali omu (tali mu busatu), era nti kikyamu okusinza ebifaananyi. Yogera ku bintu ebibi ebiriwo gamba ng’entalo, obwegugungo, obusosoze mu mawanga, n’obunnanfuusi obuli mu madiini.
7 Brocuwa erina omutwe, The Guidance of God—Our Way to Paradise erimu ensonga endala ze tuyinza okukozesa okutandika okukubaganya ebirowoozo n’Abasiraamu. Yategekebwa okusikiriza Abasiraamu abandyagadde okuyiga Bayibuli.
8 Ennyanjula gy’oyinza okukozesa: “Leero njogerako n’Abasiraamu. Nnasoma ebikwata ku ddiini yammwe ne nkizuula nti mukkiririza mu Katonda omu ow’amazima ne mu bannabbi bonna. Si bwe kiri? [Muleke abeeko ky’addamu.] Nnandyagadde twogere ku bunnabbi obulaga nti ensi eno ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda. Wandyagadde nkusomere ebyo nnabbi bye yawandiika? [Soma Isaaya 11:6-9.] Obunnabbi buno bunzijukiza ekyawandiikibwa ekiri mu Korani ekijuliziddwa mu katabo kano.” Genda ku lupapula 9 mu brocuwa Guidance of God, osome ekyawandiikibwa ekijuliziddwa ekiri mu nnukuta enkwafu ekiraga nti abatuukirivu bajja kusikira ensi. Bw’aba asiimye, mukubaganye ebirowoozo ku katundu 7-9 obuli ku lupapula 8. Mulekere brocuwa era okole enteekateeka ey’okumuddira.—Ennyanjula endala eri mu Our Kingdom Ministry, aka Febwali 1998, olupapula 6, akatundu 27.
9 Bw’oba ogenda kuyigiriza Omusiraamu ng’okozesa brocuwa Guidance of God, kiba kirungi okumugamba nti mugenda kukubaganya birowoozo so si kumuyigiriza Bayibuli. Bwe mumalako brocuwa eyo, oyinza okumutwala mu brocuwa Amawulire Amalungi oba akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Waliwo n’ebirala bye tusobola okukozesa nga tukubaganya ebirowoozo n’Abasiraamu gamba nga tulakiti How to Find the Road to Paradise, akatabo The Time for True Submission to God, ne brocuwa Real Faith—Your Key to a Happy Life.
10 Ebyo bye tulabye ebikwata ku Basiraamu bisobola okutuyamba okumanya engeri gye tuyinza okubabuuliramu, n’ebitabo bye tuyinza okubawa. Tusaba Yakuwa yeeyongere okutuwa emikisa nga tufuba okuyamba abantu aba buli ngeri okukoowoola erinnya lye basobole okulokolebwa.—Bik. 2:21.