Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Apuli ne Maayi: Obutabo bwa Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Beera ne brocuwa Atwetaagisa okugabira abo abaagala okuyiga naffe, era fuba okutandika okubayigiriza Baibuli mu maka gaabwe. Jjuuni: Katonda Atwetaagisa Ki? Teeka essira ku kufuna abayizi ba Baibuli abappya. Jjulayi ne Agusito: Emu ku brocuwa zino ez’empapula 32 eyinza okukozesebwa: Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Should You Believe in the Trinity?, What Is the Purpose of Life—How Can You Find It?, ne When Someone You Love Dies. Brocuwa A Book for All People, Emyoyo gy’Abafu—Gisobola Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, ne Will There Ever Be a World Without War? ziyinza okugabibwa we kisaanira. Era n’obutabo Emyoyo Egitalabika ne Ebigambo Bino Ebirungi eby’Obwakabaka buyinza okukozesebwa mu myezi gino.
◼ Bubaagi bw’olukuŋŋaana lwa district olwa 2000 mu Lufalansa, Luganda, Lulundi, Lungereza, Lunyarwanda, n’Oluswayiri bujja kuweerezebwa butereevu awamu n’ebitabo. Tekijja kwetaagisa kubulagiriza. Bubaagi buno bujja kuweerezebwa mu miganda, nga buli gumu gulimu 25, okusinziira ku bunene bw’ekibiina. Ekibiina bwe kinaaba kyetaaga bubaagi obusingawo, bwandiragiriziddwa ku Foomu Esabirwako Ebitabo (S-14). Kyetaagisa okulagiriza obuntu obuteekwamu bubaagi buno ku lw’abo bonna mu kibiina ababwetaaga.
◼ Kaweefube w’ekibiina anaddako ow’okukola mu bitundu ebitagabwanga (Makedoni) ategekeddwa okubaawo mu mwezi gwa Ddesemba 2000 ne Jjanwali 2001. Mu kiseera ekituufu, ebibiina bijja kutegeezebwa ebitundu bye binaakolamu. Kaweefube owa Bapayoniya ab’Enjawulo ab’Ekiseera ajja kuva mu Ddesemba 2000 okutuuka mu Febwali 2001. Bapayoniya ab’enkalakkalira abatali bafumbo (oba abafumbo nga tebalina baana) abandyagadde okwenyigira mu kaweefube ono mu bbanga eryo nga bakola nga bapayoniya ab’enjawulo ab’ekiseera basaanidde okuwandiikira ofiisi nga Ssebutemba l, 2000 terunnatuuka.
◼ Sosayate erina emizingo gya The Watchtower egy’emyaka 1951 okutuuka ku 1955, 1995, ne 1996 mu LUNGEREZA. Ababuulizi oba ebibiina ebippya ebyandyagadde okufuna ebitabo bino biyinza okubiragiriza kati okuyitira mu muweereza w’ekibiina akola ku bitabo.
◼ Nga bwe kyalangibwa mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maaki 2000, Watchtower Library—1999 Edition ku CD-ROM kati efulumizibwa mu nnimi mwenda. Musabibwa okujjukira nti si ya kugabibwa eri abantu, mu masomero, oba okuweebwa abantu abaagala okumanya obumanya ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa. Watchtower Library—1999 etegekeddwa kuganyula ba luganda mu kibiina era efunibwa kuyitira mu kibiina mwokka. Okutuusa nga budisiki bufunise era nga bumaze okuweerezebwa, ku nkalala z’ebitabo ebiweerezebwa mu kibiina kujja kuwandiikibwako nti “Tebunnakolwako.”
◼ Ebitabo Ebippya Ebiriwo:
Is There a Creator Who Cares About You?—Lukyayina
New World Translation of the Christian Greek Scriptures—Luwalabbu