Enkizo Abato Gye Balina
1 Abazadde bangi abaakulira mu mazima bajjukira n’essanyu enkizo gye baalina nga bakyali bato—omulimu ogukolebwa ku Lunaku lwa Magazini. Omulimu ogwo gwatandikibwawo mu bibiina byonna mu 1949. Olunaku lumu buli wiiki, buli omu yalina okwenyigira mu kubunyisa Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! ku nguudo, nnyumba ku nnyumba, dduuka ku dduuka, ne mu ngeri endala. Naddala ababuulizi abato beesunganga nnyo okwenyigira mu mulimu guno kubanga gwabawanga omukisa okwenyigira mu mulimu gwe gumu ogukolebwa abantu abakulu mu kibiina. Bwe kyali gy’oli ng’okyali mwana?
2 Yamba Abaana Bo Okugwenyigiramu: Abaana abato ennyo abatasobola kutandika mboozi ku Byawandiikibwa n’omuntu ku nnyumba bayinza okugaba magazini. Kiba kibeetaagisa okuyiga ennyanjula ey’ebigambo ebitonotono. Eby’okwogera ebitonotono, oboolyawo ebikwata ku kifaananyi ekiri kungulu, biyinza okumala. Bannyinimu bangi bakkiriza mangu obutabo okuva eri abaana abato, emirundi mingi ne basiima obwesimbu era n’empisa ennungi ez’abavubuka bano. Nga baweereddwa obuyambi, guno gwe mulimu abaana gwe bayinza okukola obulungi ennyo, ne bawagira okubunyisa obubaka bw’Obwakabaka. Kya lwatu, abaana bwe beeyongera okukula, bazadde baabwe bajja kubayamba okweyongera okukuguka mu kubuulira.
3 Manuel yatandika okubuulira nnyumba ku nnyumba ng’alina emyaka esatu egy’obukulu. Bazadde be baamuyigiriza ennyanjula ennyimpimpi gye yakwata obukusu. Abuulira wamu nabo, era agaba magazini, brocuwa era ne tulakiti nnyingi. Ate abuulira n’embagirawo. Lumu bazadde be bwe baamutwala mu kifo abantu gye bawummulirako, yagabira abantu abaaliyo tulakiti. Wadde akyali muto nnyo, ebbugumu Manuel ly’alina mu buweereza lizzaamu nnyo bazadde be amaanyi awamu n’ekibiina kyonna.—Nge. 22:6.
4 Buli Lwamukaaga luyitibwa “Lunaku lwa Magazini” ku 2000 Calendar of Jehovah’s Witnesses. Abazadde, tubakubiriza mwongere amaanyi mu mulimu guno, nga muyamba abaana bammwe obutayosa kwenyigira mu nkizo eno ey’obuweereza.