LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/00 lup. 2
  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Emitwe emitono
  • Wiiki Etandika Jjuuni 12
  • Wiiki Etandika Jjuuni 19
  • Wiiki Etandika Jjuuni 26
  • Wiiki Etandika Jjulaayi 3
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 6/00 lup. 2

Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Wiiki Etandika Jjuuni 12

Oluyimba 136

Ddak. 8: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Amawulire ga Teyokulase.

Ddak. 15: “Okufuba Kwammwe Si kwa Bwereere.” By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo n’okuddamu. Yogera ku kyokulabirako ekiri mu Watchtower aka Jjuuni 15, 1996, olupapula 32.

Ddak. 22: Okutandika Okuyigiriza Omuntu ng’Okozesa Brocuwa Atwetaagisa. Kwogera nga kukwata ku biri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 1999, olupapula 4. Laga ekyokulabirako ekiri mu katundu 6. Funayo omubuulizi omu oba babiri boogere mu bufunze ku ngeri gye basobodde okufunamu be bayigiriza, boogere ku ngeri gye baatandikamu okuyiga okwo, era ne kye baakola ne kweyongera mu maaso buli wiiki.

Oluyimba 209 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjuuni 19

Oluyimba 14

Ddak. 12: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira n’ekirango ekikwata ku kwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira. Ekibiina bwe kiba n’ebitabo Young People Ask oba Youth, lagayo ekyokulabirako ku ngeri gye biyinza okukozesebwa obulungi mu buweereza mu biseera we tuyinza okusanga abatiini awaka.

Ddak. 8: Akasanduuko k’Ebibuuzo. Kwogera kw’omukadde.

Ddak. 25: “Nnandisobodde Ntya . . . Okuggyako nga Waliwo Ampa Obulagirizi?” Okukubaganya ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo n’okuddamu okukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Buli katundu kasomebwe mu ddoboozi eriwulikika, era musome ebyawandiikibwa ebiri mu butundu 3, 4, ne 7. Bw’otuuka ku katundu 6, nnyonnyola omulimu gw’omulabirizi w’obuweereza ogw’okusalawo obanga kyetaagisa okuddamu okuyigiriza Baibuli abantu ababatize.​—Laba Akasanduuko k’Ebibuuzo mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 1998.

Oluyimba 89 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjuuni 26

Oluyimba 39

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ababuulizi bajjukize okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza bw’omu nnimiro eza Jjuuni. Yogera ku bitabo eby’okugaba mu Jjulaayi. Laga brocuwa enkadde ze mulina mu kibiina, era mu bufunze laga ekigendererwa kya buli emu. Lagayo ekyokulabirako ekitegekeddwa obulungi ku ngeri y’okugabamu emu ku zo mu buweereza. Nnyonnyola nti brocuwa tugireka awatali kugisasulira naye tukkiriza ekiba kitoneddwa eri omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna. Nnyinimu agamba nti yandyagadde okubaako ky’awaayo era omubuulizi amuggirayo ebbaasa asobole okuteekamu ky’awaddeyo kyeyagalire.

Ddak. 17: “Beeranga Mugabi.” Ebibuuzo n’okuddamu. Yogera ku nsonga ennya “Lwaki Tugaba” eziri mu Watchtower aka Noovemba 1, 1996, empapula 29-30.

Ddak. 18: Manya Engeri y’Okwanukulamu. (Bak. 4:6) Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abakuwuliriza. Kiki ky’okola bw’osisinkana omuntu aleetawo ensonga eteesigamye ku Byawandiikibwa? Akatabo Reasoning katera okutuyamba nga katuwa ebirowoozo ebirungi ku ngeri gye tuyinza okumuddamu n’amagezi. Ng’ekyokulabirako, wadde ng’okufa tukutwala ng’omulabe ajja okuwangulwa okuyitira mu kinunulo kya Kristo, abamu bamativu nti teri kigenda kukuggyawo, ne batuuka n’okukkiririza mu ndowooza enkyamu ey’okubbulukukira mu bulamu obulala. Mukubaganye ebirowoozo ku kwanukula okuweereddwa mu katabo Reasoning mu kitundu “Omuntu bw’Agamba Nti​—” ku mpapula 103-4 ne 321. Bonna bakubirize okugendanga n’akatabo ako mu buweereza bw’ennimiro.

Oluyimba 44 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjulaayi 3

Oluyimba 213

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Saba omubuulizi eyatandika okuyigiriza abantu mu brocuwa Atwetaagisa ayogere engeri gye yakikolamu. Saba bapayoniya babiri boogere ku bye basanze nga bagaba ebitabo wansi w’enteekateeka ey’okuwaayo okwa kyeyagalire.

Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.

Ddak. 20: Okugoberera Emisingi gya Baibuli Kunyweza Amaka. Kukubaganya ebirowoozo wakati w’ab’oluganda babiri, nga kwesigamiziddwa ku nsonga omunaana eziri mu katabo Reasoning, empapula 253-4. Munnyonnyole obukulu bw’okuyamba abayizi ba Baibuli okuyiga nti ekyama ky’okufuna essanyu mu maka kiri mu kutegeera n’okugoberera emisingi egiri mu Kigambo kya Katonda. Nga mukozesa essomo 8 mu brocuwa Atwetaagisa, mulage ekyokulabirako ku ngeri kino gye kiyinza okukolebwamu. Amaka agagoberera okubuulirira kwa Baibuli gabeera bumu era gafuna essanyu erisingawo olw’okubaamu okwagala n’obumu. Mwogere ku kyokulabirako ekiri mu katabo Essanyu mu Maka, essuula 13, akatundu 1, 21-2.

Oluyimba 51 n’okusaba okufundikira.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza