Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Jjulaayi ne Agusito: Emu ku brocuwa zino ez’empapula 32 eyinza okukozesebwa: Ddala Katonda Afaayo Gye tuli?, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, What Is the Purpose of Life—How Can You Find It?, ne When Someone You Love Dies. Brocuwa A Book for All People, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, Emyoyo Gy’Abafu—Gisobola Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, ne Will There Ever Be a World Without War? ziyinza okugabibwa we kisaanidde. Era n’obutabo Ebigambo Bino Ebirungi eby’Obwakabaka, ne Emyoyo Egitalabika buyinza okukozesebwa mu myezi gino. Ssebutemba: Revelation—Its Grand Climax At Hand. Okitobba: Obutabo Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Nga tuzzeeyo bwe tusanga abaagala okumanya ebisingawo, tuyinza okubakolera enteekateeka ey’okufuna subscription.
◼ Okutandika n’omwezi gwa Ssebutemba, abalabirizi ba circuit bajja kuwa okwogera kwa bonna okulina omutwe “Obufuzi bw’Abantu—Buteekeddwa ku Minzaani.”
◼ Bw’oba wandyagadde okuwaayo obuyambi bw’eby’ensimbi okudduukirira abatuukiddwako akatyabaga, oyinza okuweereza ky’oba owaddeyo ku ofiisi ya Sosayate eri mu nsi yo. Osabibwa obutaweereza ngoye, oba ebintu ebirala byonna ku Sosayate oba mu kitundu ekiguddemu akatyabaga okuggyako ng’osabiddwa Sosayate yennyini oba akakiiko akakola ku by’obuyambi. Ekyo kijja kusobozesa obuyambi obwo okuweebwa mu ngeri entegeke obulungi era n’ebintu okugabwa obulungi.
◼ Ebibiina bikubirizibwa okulagiriza tulakiti ababuulizi bazikozese mu buweereza bw’ennimiro. Jjukira nti omuwendo gwa tulakiti ogusembayo obutono oguyinza okulagirizibwa ku buli kika ziba 100 era ziyinza okulagirizibwa mu miteeko nga buli gumu mulimu 100.
◼ Ebitabo Ebiriwo:
Does Fate Rule Our Lives—Or Does God Hold Us Responsible? (Tulakiti Na. 71)—Lufalansa
Hellfire—Is It Part of Divine Justice? (Tulakiti Na. 74)—Lufalansa
Katonda Atwetaagisa Ki?—Luswayiri
Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo—Luswayiri