Kiki ky’Ogamba ku Kyuma Ekyanukula ku Ssimu?
Essimu ngeri nnungi nnyo ey’okukozesa okuwa obujulirwa abantu abatayinza kusangibwa waka oba ababeera mu bifo ebitayinza kutuukibwamu. Kyokka, abantu bangi tebaanukula ssimu—ekyuma ekyanukula kye kibaddiramu. Kino bwe kibaawo, kiki ky’oyinza okukola? Essimu togizaako. Mu kifo ky’ekyo, beera n’eky’okuddamu ekitegekeddwa obulungi ky’owandiise ky’oyinza okusomera ku ssimu. Weegezeemu okukikola mu ddoboozi eddungi mu ngeri ey’okunyumya. Kiki ky’oyinza okwogera?
Oyinza okuyita nnyinimu okubeerawo mu Lukuŋŋaana lwa Bonna olunaddako ku Kingdom Hall. Oyinza okugamba “Nsaaliddwa nnyo obutakusanga waka. Bw’oba wandyagadde okuwulira emboozi [omutwe gw’emboozi ya bonna] eyeesigamiziddwa ku Baibuli, nkusaba ojje ku Kingdom Hall y’Abajulirwa ba Yakuwa. Abantu bonna baanirizibwa. Tewali sente zisoloozebwa.” Oluvannyuma lw’ekyo mubuulire olunaku n’esaawa olukuŋŋaana we lubeererawo, era mutegeeze ekkubo Kingdom Hall kw’eri oba munnyonnyole ekifo w’esangibwa.
Weetegereze abappya bonna abayinza okubeerawo mu lukuŋŋaana, weeyanjule gye bali, era baanirize bulungi. Teweerabira kubategeeza ku nteekateeka ey’okubayigiriza Baibuli awaka awatali kusasula!