Olukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa Olwa District mu 2001 Olwa “Abayigiriza Ekigambo kya Katonda”
1 Nnabbi Isaaya yayogera ku Yakuwa ng’Omuyigiriza Omukulu, mu ngeri y’ekizadde akubiriza: ‘Lino lye kkubo. Mulitambuliremu, mmwe abantu.’ (Is. 30:20, 21) Naye tuwulira tutya ekigambo kya Yakuwa ekyogerwa olw’okutuganyula? Yakuwa ayogera n’abantu be okuyitira mu Baibuli era ne mu bitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli, enkuŋŋaana z’ekibiina, eza circuit, n’eza district ezitegekebwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Mat. 24:45) Tuyinza okwebaza Yakuwa olw’okuba yeeyongera okutuwa obulagirizi mu kkubo lye tusaanidde okutambuliramu.
2 Buli mwaka, olukuŋŋaana lwa district lutuwa omukisa gw’okukuŋŋaanira awamu ne bakkiriza bannaffe era n’okuwuliriza obulagirizi bwa Yakuwa. Omwaka oguyise, abantu 58,592 be baaliwo mu lukuŋŋaana lwa District Olwa “Abakolera ku Kigambo kya Katonda” olwatuzzaamu amaanyi mu by’omwoyo. Mu mwaka 2001, Enkuŋŋaana za District ez’ennaku satu eza “Abayigiriza Ekigambo kya Katonda” zijja kubaawo. Tukimanyi nti mwesunga okukola enteekateeka okubaawo, n’olwekyo, tubategeeza ebyo wammanga okubayamba.
3 Okukola Enteekateeka Ezikwata ku w’Onoosula: Buli mwaka tuba basanyufu okubategeeza engeri gy’oyinza okukolamu enteekateeka ezikwata ku w’okusula ku lukuŋŋaana olunene, era tukisiima nnyo bw’ogoberera obulagirizi buno. Ekitongole ky’Eby’Ensula mu kitundu kyo kiba kyetegefu bulijjo okukuyamba okufuna aw’okusula. Osabibwa okugoberera obulagirizi obuva mu kitongole kino obukwata ku bifo eby’okusulamu ebiba bitegekeddwa. Olw’okwekuuma omuliro n’obubenje, abasuziddwa mu bibiina by’amasomero oba mu bisulo byago tebasaanidde kufumbira mu bifo ebyo.
4 Wooteeri weeziri mu bibuga bingi ebibeeramu enkuŋŋaana ennene. Bw’oba oyagala Ekitongole ky’Eby’Ensula kikufunire wooteeri ey’okusulamu, wandiikira ekitongole kino nga bukyali ng’olaga ensimbi z’oyagala okusasulira buli muntu buli lunaku.
5 Bw’oba osabye Ekitongole ky’Eby’Ensula okukukolera enteekateeka eyo, osabibwa obutakyusa ate ne weewandiisa mu wooteeri endala. Okugoberera obulagirizi buno kituwa omukisa okwoleka okwagala kwaffe eri baganda baffe Abakristaayo era n’okwewala endowooza ‘ey’okwefaako wekka’ ecaase ennyo mu nsi ennaku zino.—1 Kol. 10:24.
6 Okusasulako Wooteeri Ekitundu, era n’Okukola ku Bizibu Ebibaawo mu Wooteeri: Okukakasibwa nti ekifo ky’osabye kinaakukuumirwa, wooteeri ezimu zeetaagisa osasuleko ekitundu ku buli kisenge ekikukuumirwa. Awatali kusasulako kitundu, wooteeri eyinza okugabira omuntu omulala ekisenge kyo. Bwe kiba bwe kityo, Ekitongole ky’Eby’Ensula kijja kukutegeeza engeri gy’oyinza okuweerezaamu ssente ezo. Singa wabaawo ekizibu kyonna ng’olukuŋŋaana olunene terunnaba oba nga luwedde, oyinza okutegeeza Ekitongole ky’Eby’Ensula. Ekizibu bwe kibaawo mu kiseera ky’olukuŋŋaana olunene, osaanidde okugenda eri Ekitongole ky’Eby’Ensula amangu ddala ab’oluganda basobole okukuyamba nga tonnava mu wooteeri eyo.
7 Okufaayo ku Abo Abalina Obwetaavu obw’Enjawulo: Bannamukadde, abateesobola, abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna, oba abalala bayinza okwetaaga okuyambibwa okubaawo mu lukuŋŋaana olunene. Ab’eŋŋanda, abakadde, n’abalala mu kibiina abamanyi embeera z’abo abalina ebyetaago eby’enjawulo, mu ngeri ey’okwagala bayinza okukola enteekateeka ezeetaagisa. Obuvunaanyizibwa bw’amaka n’obw’ekibiina tebulina kuweebwa abakola ku nteekateeka y’olukuŋŋaana olunene. (1 Tim. 5:4) Foomu ya Sosayate Esabirwako Abalina Obwetaavu obw’Enjawulo Obwa Aw’Okusula eraga ebisaanyizo by’olina okuba nabyo okujjuza foomu eno. Akakiiko k’Ekibiina ak’Obuweereza kalina okwekenneenya ebisaanyizo bya buli omu ku abo abaweereza okusaba kwabwe nga tebannaba kuweereza foomu eyo eri Ekitongole Ekikola ku By’Ensula. Omuwandiisi w’ekibiina alina okuteeka ku foomu ennamba ye ey’essimu bw’aba nga agirina, abakola mu Kitongole ky’Eby’Ensula basobole okumukubira singa wabaawo ebyetaagisa okubuuza. Foomu ezikkiriziddwa zirina okuweerezebwa ku ofiisi ekola ku nteekateeka y’olukuŋŋaana olunene.
8 Okugenda mu Lukuŋŋaana Olunene mu Kifo Ekirala: Bw’oba onoogenda mu lukuŋŋaana olunene mu kifo ekirala, era nga weetaaga obuyambi okufuna aw’okusula okuyitira mu Kitongole ky’Eby’Ensula, kiwandiikire nga bukyali. Ekitongole ky’Eby’Ensula kisanze obuzibu bwe kituukirirwa ku ssaawa esembayo.
9 Abakozi b’omu Wooteeri Balowooza Batya ku Bajulirwa ba Yakuwa? Oluvannyuma lw’okwogera ku mpisa ennungi ez’abantu ba Yakuwa, maneja wa wooteeri mu Amereka yagamba: “Bwe ndaba Abajulirwa ba Yakuwa nga baze mu wooteeri ku Lw’Okuna, nze ŋŋenda ku wiikendi okutuukira ddala ku Bbalaza ku makya. Nkimanyi nti singa wabaawo ekizibu kyonna kiba kitono nnyo. Bulijjo tusanyuka nnyo bwe mujja wano.” Omukyala atunda mu wooteeri yagamba: “Abantu abalungi ennyo! Bonna bayoleka empisa ennungi.” Tosanyuka bw’owulira baganda baffe nga boogerwako mu ngeri eno? Teeberezaamu engeri Yakuwa Katonda gy’asanyukamu bw’atulaba nga tweyisa mu ngeri ereetera erinnya lye ettendo!
10 Okufundikira: Ng’ekiseera eky’okubeera mu lukuŋŋaana lwa district kigenda kisembera, saba Yakuwa osobole okubeerawo mu bitundu byonna ku nnaku zonna esatu era oganyulirwe ddala mu programu. Omaze okusaba olukusa okuva ku mulimu ennaku esatu zonna ez’olukuŋŋaana olunene lw’oteekateeka okubaamu? Bw’oba nga tonnaba, kikole mangu ddala nga bwe kisoboka. Okusaba olukusa okuva ku mulimu mu kiseera ekisembayo tekutera kukkirizibwa. Omuddu omwesigwa era ow’amagezi ateeseteese Olukuŋŋaana lwa District Olwa “Abayigiriza Ekigambo kya Katonda” olw’omwaka guno okutuwa obulagirizi mu by’omwoyo era n’okuzimba okukkiriza kwaffe. N’olwekyo, tandika kaakati okukola enteekateeka z’okubeerawo, ng’ogoberera okubuulirirwa kw’omuwandiisi wa zabbuli: “Mwebalize Katonda mu bibiina”!—Zab. 68:26.
[Akasanduuko akali ku lupapula 4]
Ebiseera bya Programu
Olw’Okutaano n’Olw’Omukaaga
3:30 ez’oku makya – 11:00 ez’olweggulo
Sande
3:30 ez’oku makya – 10:00 ez’olweggulo