Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Tulina okutegeeza nnyinimu buli lwe tuba tumukyalidde nti tukkiriza ky’aba awaddeyo kyonna eri omulimu gwa Sosayate ogw’ensi yonna?
Nedda. Twetaaga okusalawo obulungi mu nsonga eno. Twagala abantu okukitegeera obulungi nti omulimu gwaffe gwa kuyigiriza Baibuli so si gwa busuubuzi. Tetusabiriza kututonera bintu. Okutwalira awamu kiba kirungi okunnyonnyola obulungi engeri omulimu gwaffe gye guwagirwamu okuyitira mu kuwaayo kyeyagalire, lwe tusooka okulekera ebitabo omuntu ayagala okumanya ebisingawo. Singa tukijjukira nti ebitabo tubirekera abo bokka abaagala okumanya ebisingawo oba abaagala okubisoma, olwo nno ensonga eno okutwalira awamu ejja kukolebwako.
Bangi ku abo abaagala okumanya ebisingawo bawaayo kyeyagalire nga tweyongedde okubakyalira. Abamu bayinza okubuuza ssente mmeka ze kigula. Mu bufunze tuyinza okubategeeza nti omulimu gwaffe si gwa busuubuzi, nga tubannyonnyola nti abantu abaagala okumanya ebisingawo tubawa ebitabo byaffe awatali kusasula. Era bayinza okutegeezebwa nti yenna ayagala okuwagira omulimu gw’ensi yonna ayinza okubaako ky’awaayo kyeyagalire. Buli luvannyuma lwa kiseera, nga bwe kiba kisaanidde, tuyinza okwogera ku ky’okuwagira omulimu gwa Sosayate ogw’ensi yonna singa omuntu gwe tuba tuddiŋŋanye takikola.
Tulina okukijjukira nti wadde tuwa ebitabo byaffe abantu abaagala okumanya ebisingawo awatali kubisasulira, waliwo ssente ezisaasaanyizibwa mu kubikubisa n’okubitambuza. Tuli bakakafu nti omwoyo gwa Katonda gujja kuleetera abaweereza be n’abantu abaagala amazima be tusanga mu nnimiro okuwaayo kyeyagalire okusobola okusasulira byonna ebyetaagisa mu mulimu gw’ensi yonna.