LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 3/01 lup. 7
  • Okujjukiza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okujjukiza
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
km 3/01 lup. 7

Okujjukiza

◼ Enkyukakyuka eyakolebwa ey’okugaba ebitabo awatali kubisasulira tetegeeza nti ensimbi tezikyetaagisa okukubisa n’okubunyisa ebitabo mu nsi yonna. Era waliwo n’obwetaavu obw’amaanyi obw’okuzimba Kingdom Hall, okuddukanya n’okufuna ebikozesebwa mu matabi, okulabirira abo abali mu buweereza obw’enjawulo obw’ekiseera kyonna, era n’ebirala. Obuwagizi obw’olutatadde obwa baganda baffe n’abantu abaagala amazima buyamba mu kukola ku byetaago by’Obwakabaka okwetooloola ensi yonna.

Ababuulizi bangi n’ab’omu maka gaabwe balina enteekateeka ey’okubaako kye ‘batereka’ buli wiiki babeeko kye bawaayo. Obuwagizi bwabwe mu by’ensimbi y’emu ku ngeri ennyingi mwe basobolera okulagira okusiima kwabwe eri Yakuwa olw’okubalabirira n’okubawa emikisa gye. Wadde ng’ennaku zino embeera y’eby’enfuna eyinza okubeera enzibu ennyo eri baganda baffe abamu, tuli bakakafu nti ng’embeera zaabwe bwe ziba zibasobozeseza bajja kweyongera okwanukula n’omutima gwabwe gwonna nga nnamwandu w’omu kiseera kya Yesu. Bajja kukola kyonna kye basobola okwoleka okwagala kwe balina eri Yakuwa n’entegeka ye.​—Luk. 21:2-4; 1 Kol. 16:2.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share