LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/02 lup. 1
  • Okusiga Ennyingi Kireeta Emikisa Mingi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okusiga Ennyingi Kireeta Emikisa Mingi
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Laba Ebirala
  • Okusiga Ensigo z’Amazima g’Obwakabaka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • ‘Beeranga Mugabi’
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
km 6/02 lup. 1

Okusiga Ennyingi Kireeta Emikisa Mingi

1 Ffenna twesunga okutuukirizibwa kw’ebisuubizo eby’ekitalo ebiri mu Kigambo kya Katonda. Ne kaakati, tufuna emikisa mingi okuva eri Yakuwa egituleetera essanyu. Kyokka, gye tukoma okuteekamu amaanyi gye tukoma okugiganyulwamu. Omutume Pawulo yagamba, ‘oyo asiga ennyingi alikungula nnyingi.’ (2 Kol. 9:6) Weetegereze engeri bbiri omusingi guno we gukolera.

2 Obuweereza Bwaffe: Okubuulira abalala amawulire amalungi buli lwe tuba tusobodde, kireeta emikisa mingi. (Nge. 3:27, 28) Kirungi nnyo nti bangi basiga nnyingi, nga bagaziya obuweereza bwabwe, nga baweereza nga bapayoniya abawagizi oba ab’ekiseera kyonna. Ffenna tusobola okusiga nnyingi nga tuddayo eri abantu bonna abasiimye obubaka bwaffe era nga tubategeeza ku nteekateeka ey’okubayigiriza Baibuli. (Bar. 12:11) Bwe tufuba bwe tutyo, tusobola okufuna ebibala ebirungi era ekyo ne kituleetera essanyu erisingawo mu buweereza bwaffe.

3 Okuwagira Obwakabaka bwa Katonda: Ensonga Pawulo gye yali ayogerako alyoke akubirize ‘okusiga ennyingi’ yali ya kuwaayo bintu. (2 Kol. 9:6, 7, 11, 13) Leero tuyinza okuwagira Obwakabaka bwa Katonda nga tweyambisa amaanyi gaffe wamu n’ebintu byaffe. Tuyinza okuyamba mu kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka n’eby’enkuŋŋaana ennene. Tusobola n’okukola nga bannakyewa nga tuyonja era nga tuddaabiriza ebifo bino eby’okusinza okw’amazima. Tuyinza n’okuwaayo ensimbi zisobole okukola ku byetaago by’ekibiina kyaffe era n’omulimu gw’okubuulira Obwakabaka mu nsi yonna, era n’okufuula abantu abayigirizwa. Ffenna bwe tuba nga tukoze ekyo kye tuteekeddwa okukola, nga tufuna essanyu lya nsusso bwe tulaba nti Yakuwa awa omukisa omulimu gwe!​—Mal. 3:10; Luk. 6:38.

4 Ekigambo kya Katonda kitukubiriza ‘okukolanga obulungi, okubeeranga abagagga mu bikolwa ebirungi, n’okubeeranga abagabi.’ Tufuna emikisa mingi nnyo kati olw’okugoberera okubuulirira okwo. Ate mu kiseera kye kimu, tuba ‘tweteekerateekera ebiseera eby’omu maaso n’obulamu obwa nnamaddala.’​—1 Tim. 6:18, 19.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza