LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/02 lup. 1
  • ‘Oyagala’ Okuyamba Abalala?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • ‘Oyagala’ Okuyamba Abalala?
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Laba Ebirala
  • Osobola Okuyamba Abalala?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Koppa Yesu ng’Oweereza Abalala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Abazadde, Mukole ku Byetaago by’ab’Omu Maka Gammwe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Faayo ku Nneewulira y’Abalala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
km 6/02 lup. 1

‘Oyagala’ Okuyamba Abalala?

1 Yesu yafaayo nnyo ku bantu. Omugenge bwe yeegayirira Yesu okumuyamba, Yesu yagolola omukono gwe, n’amukwatako, n’amugamba nti: ‘Njagala; longooka.’ (Mak. 1:40-42) Mu ngeri ki gye tuyinza okukoppa ekyokulabirako kya Yesu eky’okuyamba abalala?

2 Abaagala Okuyiga Naffe: Buli omu mu kibiina alina ky’akolawo mu kuyamba abaagala okuyiga amazima okufuuka abasinza ba Yakuwa. Abappya bwe bajja mu nkuŋŋaana, balamuse era manya ebibakwatako. Noonya engeri y’okubazzaamu amaanyi. Beebaze olw’ebyo bye bazzeemu mu nkuŋŋaana era n’okufuba okutambulira ku misingi gya Baibuli. Bayambe okulaba nti basobola okwefunira emikwano mu kibiina.

3 Basinza Bannaffe: “Abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza” beetaaga obuyambi bwaffe mu ngeri nnyingi. (Bag. 6:10) Bangi batawaanyizibwa obulwadde. Bwe tubakyalira kibazzaamu nnyo amaanyi era tusobola okubaako ebintu ebitali bimu bye tubayambamu. Abamu bayinza okuba nga boolekaganye n’ebizibu ebirala mu bulamu bwabwe. Laga okufaayo ng’owaayo obudde okuwuliriza bye bagamba era obayambe mu ngeri ezimba. (1 Bas. 5:14) N’abakadde tusaanidde okukolagana nabo obulungi basobole okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. (Beb. 13:17) Bwe twolesa omwoyo ogwagala okuyamba, tusobola ‘okunyweza’ bakkiriza bannaffe.​—Bak. 4:11.

4 Ab’Omu Maka: Era twandifubye okukoppa Yesu nga tufaayo ku b’omu maka gaffe. Okufaayo ennyo kuleetera abazadde ‘okukangavvula n’okubuulirira abaana baabwe mu Mukama waffe.’ (Bef. 6:4) Abaana bayinza okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe nga babeera beeteefuteefu mu budde obw’okusoma kw’amaka, okugenda mu nkuŋŋaana z’ekibiina, n’okugenda mu buweereza obw’ennimiro. Abaana abakulu bayinza okwoleka ekisa kya Yesu nga bayamba bazadde baabwe aboolekaganye n’ebizibu by’obukadde. Mu ngeri zino n’endala nnyingi, ffenna tuyinza ‘okulaga nti tutya Katonda mu maka gaffe.’​—1 Tim. 5:4.

5 Bwe tukoppa Yesu ne tuyamba abalala, tusobola okukendeeza ku bizibu byabwe era twongera okunyweza obumu bw’amaka gaffe n’obw’ekibiina. N’okusingira ddala, tuweesa Yakuwa, “Kitaffe ow’okusaasira,” ekitiibwa.​—2 Kol. 1:3.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza