Omulimu Ogwetaagisa Obuwombeefu
1 Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okuba “abawombeefu, abatawalananga kibi olw’ekibi . . . naye obutafaanana ng’ebyo, abasabira [abantu] omukisa.” (1 Peet. 3:8, 9) Kya lwatu, okubuulirira okwo kukwatagana n’omulimu gwaffe ogw’okubuulira. Mu butuufu, obuweereza obw’Ekikristaayo buyinza okugezesa obuwombeefu bwaffe.
2 Obuwombeefu y’engeri etuyamba okugumiikiriza embeera enzibu. Bwe tuba tubuulira, tutuukirira abantu be tutamanyi abayinza okutuddamu mu ngeri etali ya kisa. Okweyongera okubuulira mu mbeera ng’ezo kyetaagisa obuwombeefu. Bannyinaffe babiri abakola obwapayoniya, baabuulira nnyumba ku nnyumba okumala emyaka ebiri mu kitundu ekimu ne batafuna babawuliriza! Kyokka, tebaalekulira era leero waliyo ebibiina bibiri.
3 Engeri y’Okukwatamu Abantu Abakambwe: Abalala bwe batuyisa mu ngeri etali ya kisa, obuwombeefu bujja kutuyamba okukoppa Yesu. (1 Peet. 2:21-23) Mwannyinaffe omu yavumibwa omukyala n’omwami mu maka agamu, era omwami n’amulagira okubaviira. Kyokka, mwannyinaffe yamwenya bumwenya n’abagamba nti asuubira okwogera nabo omulundi omulala. Kino kyawuniikiriza nnyo abafumbo bano, era Omujulirwa omulala bwe yabakyalira omulundi omulala baamuwuliriza era ne bakkiriza okujja mu lukuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Mwannyinaffe gwe baavuma yabalamusa nga bazze era n’ayongera okubawa obujulirwa. Naffe tuyinza okuyamba abataagala kuwuliriza nga twoleka ‘obuwombeefu era n’okubawa ekitiibwa.’—1 Peet. 3:15; Nge. 25:15.
4 Weewale Amalala: Olw’okuba tumanyi Baibuli, ekyo tekituwa bbeetu okuyisaamu abantu amaaso oba okuboogerako mu ngeri ebafeebya. (Yok. 7:49) Okwawukana ku ekyo, Ekigambo kya Katonda kitukubiriza “obutavumanga muntu yenna.” (Tito 3:2) Bwe tuba abawombeefu nga Yesu, tuzzaamu abalala amaanyi. (Mat. 11:28, 29) Obuwombeefu buleetera obubaka bwaffe okubeera nga busikiriza.
5 Yee, obuwombeefu butuyamba obutalekulira kubuulira mu bitundu ebizibu. Bukkakkanya abataagala kutuwuliriza era busikiriza abalala eri obubaka bw’Obwakabaka. Okusinga byonna, busanyusa Yakuwa ‘awa abawombeefu ekisa.’—1 Peet. 5:5.