Ebirango
◼ Ebitabo by’okugaba mu Febwali: Ekitabo ekippya Draw Close to Jehovah kye kijja okugabibwa. Ebibiina ebitannaba kufuna kitabo kino, biyinza okukozesa ekitabo Creation oba Revelation Climax. Maaki: Gaba Akatabo Okumanya, ng’ofuba okufuna abayizi ba Baibuli. Apuli ne Maayi: Gaba Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Bw’oba ozzeeyo eri abantu abaagala okuyiga ebisingawo, nga mw’otwalidde n’abaaliwo ku Kijjukizo, oba ku lukuŋŋaana olulala naye nga tebatera kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, balekere akatabo Sinza Katonda Omu ow’Amazima. Wandifubye okutandika okubayigiriza Baibuli mu katabo ako naddala bwe baba nga baamala dda okusoma akatabo Okumanya oba brocuwa Atwetaagisa.
◼ Omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde oba omuntu gw’aba alonze asaanidde okwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira y’ekibiina nga Maaki 1 oba amangu ddala nga bwe kisoboka. Nga kimaze okukolebwa, kirangibwe eri ekibiina oluvannyuma lw’okusoma lipoota y’eby’embalirira eddako. Soma ebigambo ebiri ku sitetimenti eva ku Sosayate ebyebaza ekibiina kyammwe olw’okuwaayo ssente ez’okuwagira omulimu gw’ensi yonna.
◼ Omuwandiisi n’omulabirizi w’obuweereza basaanidde okwekenneenya omulimu gwa bapayoniya aba bulijjo bonna. Bwe wabaawo abakaluubiriddwa okutuukiriza essaawa zaabwe, abakadde bandikoze enteekateeka okubawa obuyambi. Okufuna ebirowoozo, mwekenneenye ebiri mu bbaluwa S-201 eya buli mwaka. Era mulabe n’obutundu 12-20 ku lupapula olw’omunda olwa Our Kingdom Ministry aka Ssebutemba 1986.
◼ Omutwe gw’emboozi ya bonna ey’enjawulo enaaweebwa mu kiseera eky’Ekijjukizo mu 2003 gujja kuba “Essaawa y’Omusango Gwa Babulooni Etuuse?” Ekirango ekirala ekikwata ku nsonga eno, kiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba 2002.
◼ Okuva enteekateeka y’okufuna magazini nga ziyisibwa mu posta bwe yakomezebwa, kikulu ebibiina okugaba magazini za Watchtower ne Awake! amangu ddala nga zaakafunibwa. Kino kijja kusobozesa ababuulizi okufuna Kopi zaabwe bazisomemu nga tebannaba kuzigaba mu buweereza bwe nnimiro.
◼ Abayizi ab’omu Ssomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza ery’omulundi ogwa 12 baamaliriza emisomo gyabwe nga Noovemba 3, 2002 mu Kenya. Abayizi 24 abaaliyo baava mu Ethiopia, Kenya, Sudan, Tanzania ne Uganda.