Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Agusito 11
Oluyimba 34
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Ng’okozesa amagezi agali ku lupapula 8, lagayo ebyokulabirako bibiri ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Jjulaayi 15 ne Awake! aka Jjulaayi 22. Mu byokulabirako byombi, magazini zombi zirina okugabibwa wadde ng’emu yokka y’erina okwogerwako. Mu kimu ku byokulabirako, laga engeri y’okwaŋŋangamu abo abatuziyiza okwogera nabo nga bagamba nti “Sirina biseera.”—Laba akatabo Reasoning, olupapula 19.
Ddak. 15: “Koppa Obulungi bwa Yakuwa.”a Saba abawuliriza babeeko bye boogera ebiraga engeri ebikolwa eby’ekisa gye byabasobozesa okuwa obujulirwa. Weebaze ekibiina olw’okufuba okuyamba bakkiriza bannaabwe.
Ddak. 20: “Emikisa Egiva mu Kuweereza nga Payoniya.”b Kozesa ebibuuzo ebiweereddwa. Saba payoniya omu oba babiri boogere ku mikisa gye bafunye nga baweereza nga bapayoniya. Bategeeze nti omuntu yenna ayagala okuweereza nga payoniya asobola okufuna foomu okuva eri omuwandiisi w’ekibiina.
Oluyimba 22 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Agusito 18
Oluyimba 37
Ddak. 12: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira. Mukubaganye ebirowoozo ku kitundu, “Programu Empya ey’Olukuŋŋaana olw’Enjawulo olw’Olunaku Olumu.” Bategeeze olunaku olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’olunaku olumu we lulibeererawo, era kubiriza bonna okubeerawo. Bwe kiba nti olukuŋŋaana olwo lujja kubeerawo mu myezi mitono egiddirira, bategeeze nti abo abaagala okubatizibwa bategeeze omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde.
Ddak. 15: “Omulimu Oguzzaamu Amaanyi.”c Tegeka nga bukyali ababuulizi babiri oba basatu boogere ku ngeri obuweereza obw’Ekikristaayo gye bubazzaamu amaanyi.
Ddak. 18: “Tulabirire Bulungi Ekifo Kyaffe eky’Okusinzizaamu.”d (Obutundu 1-5) Kozesa ebibuuzo ebiweereddwa. Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 3 ne 4, yogera ku nteekateeka y’ekibiina ey’okulongoosa Ekizimbe ky’Obwakabaka. Yogera ku nsonga zonna ezirina okukolwako mu bwangu. Weebaze ekibiina olw’okufuba okulabirira obulungi ekifo eky’okusinza okw’amazima.
Oluyimba 49 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Agusito 25
Oluyimba 78
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ng’okozesa amagezi agali ku lupapula 8, lagayo ebyokulabirako bibiri ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Agusito 1 ne Awake! aka Agusito 8. Mu byokulabirako byombi, magazini zombi zirina okugabibwa wadde ng’emu yokka y’erina okwogerwako. Laga ekyokulabirako ng’omuzadde n’omulenzi oba omuwala omutiini beetegekera omulimu gw’okugaba magazini. Basooka ne bakubaganya ebirowoozo ku bye bagenda okwogera oluvannyuma ne balyoka balaga ekyokulabirako
Ddak. 15: “Okuwummula ku Mulimu—Kukusobozesa Okuweereza mu Ngeri Esingawo?”e Bwe kiba kisoboka, buuzaayo omubuulizi eyawummula emirimu gye, era n’akozesa ekiseera ekyo okuweereza Yakuwa mu ngeri esingawo. Mubuuze nkyukakyuka ki z’akoze era n’emikisa gy’afunye.
Ddak. 20: Funa Obuvumu mu Kubuulira. (1 Bas. 2:2) Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Nnyonnyola ensonga lwaki bangi batya okubuulira abalala obubaka bw’Obwakabaka. N’abamu abamaze emyaka mingi nga babuulira batya okubuulira abantu amawulire amalungi. Yogera ku byokulabirako ebimu ebiri mu Watchtower aka Ddesemba 1, 1999, olupapula 25; Watchtower aka Ddesemba 15, 1999, olupapula 25; ne Watchtower aka Apuli 1, 1996, olupapula 31. Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye baasobola okufuna obuvumu okubuulira amawulire amalungi nga batidde. Fundikira ng’obakubiriza okufuna amaanyi okuva eri Yakuwa, ng’okozesa Watchtower aka Ddesemba 15, 1999, empapula 23-4.
Oluyimba 46 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ssebutemba 1
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase. Jjukiza ababuulizi bonna okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza bw’ennimiro eza Agusito. Yogera ku bitabo ebijja okugabibwa mu Ssebutemba. Kola enteekateeka nga bukyali omubuulizi omu oba babiri babeeko bye boogera ebizimba ebikwata ku bintu ebyaliwo nga babuulira embagirawo nga bagenda oba nga bava mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti, nga bali mu luwummula, oba mu kiseera ekirala kyonna mu myezi egyakayita.
Ddak. 15: Otuukiriza Ekisuubizo kyo eky’Okuddayo? Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku Watchtower aka Ssebutemba 15, 1999, empapula 10-11, wansi w’omutwe “Engeri Endala ez’Okutuukirizaamu Ebisuubizo.” Bwe tusanga abantu mu buweereza abaagala okumanya ebisingawo, tutera okukola enteekateeka okuddayo okukubaganya nabo ebirowoozo. Tuddayo nga bwe tuba tusuubizza? Yogera ku misingi gya Baibuli egitukubiriza okutuukiriza ebisuubizo byaffe. Saba abawuliriza baweeyo ebyokulabirako ebiraga engeri gye baaganyulwamu olw’okuddayo mu bwangu.
Ddak. 20: “Tulabirire Bulungi Ekifo Kyaffe eky’Okusinzizaamu.”f (Obutundu 6-12) Kozesa ebibuuzo ebiweereddwa. Ggumiza obukulu bw’okulabirira obulungi Ekizimbe ky’Obwakabaka, era yogera ku kasanduuko akali ku lupapula 5. Basomere alipoota ekwata ku mbeera y’Ekizimbe kyammwe eky’Obwakabaka, era bategeeze n’enteekateeka ez’okukiddaabiriza oba okukikolamu enkyukakyuka.
Oluyimba 92 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.
d By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.
e By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.
f By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.