LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/05 lup. 2
  • Enteekateeka y’Enkuŋŋaana z’Obuweereza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka y’Enkuŋŋaana z’Obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Emitwe emitono
  • Wiiki Etandika Apuli 11
  • Wiiki Etandika Apuli 18
  • Wiiki Etandika Apuli 25
  • Wiiki Etandika Maayi 2
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 4/05 lup. 2

Enteekateeka y’Enkuŋŋaana z’Obuweereza

Wiiki Etandika Apuli 11

Oluyimba 2

Ebirango by’ekibiina n’ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Kozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 (bwe biba bituukirawo mu kitundu kyammwe) okulaga ebyokulabirako ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Maaki 15 ne Awake! aka Maaki 22. Ennyanjula endala ezituukirawo ziyinza okukozesebwa. Mu kimu ku byokulabirako, laga ng’omubuulizi abuulira ku luguudo.

Ddak. 15: “Nyiikira Okubuulira.”a Ebiseera bwe biba bikusobozesa, saba abakuwuliriza boogere ku byawandiikibwa ebitasimbuliziddwa butereevu okuva mu baibuli.

Ddak. 15: “Kolera Abalala Ebirungi.”b Laga engeri ebiri mu kitundu kino gye bikwata ku kibiina kyammwe era yogera ku ngeri gye tuyinza okuyambamu abalala.

Oluyimba 22 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Apuli 18

Oluyimba 48

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina.

Ddak. 20 “Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana​—Ekitundu 8.”c Laga ekyokulabirako mu bufunze ng’omubuulizi awa omuntu gwe yakatandika okuyigiriza Baibuli brocuwa Abajulirwa ba Yakuwa​—Be Baani? Kiki Kye Bakkiriza? Omubuulizi alaga omuyizi ekifaananyi ekiri ku lupapula 20 era mu bufunze n’ayogera ku Lukuŋŋaana lw’Emboozi ya Bonna. Amubuulira omutwe gw’emboozi eneeweebwa ku Ssande eddako era n’amwaniriza okubeerawo.

Ddak. 15: Okubeera n’Endowooza Ennuŋŋamu mu Mulembe gwa Kompyuta. (Tito 2:11, 12) Kwogera okwesigamiziddwa ku Obuweereza Bwaffe obw’obwakabaka aka Ssebutemba 2002, olupapula 8, obutundu 1-7 ne Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 1999, olupapula 5, obutundu 24-6, ne Olupapula 6, obutundu 35-6. Obudde bwe buba bukusobozesa, yogera ne ku nsonga endala eziri mu kapapula ak’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 1999, bwe ziba nga zituukirawo mu kitundu kyammwe.

Oluyimba 75 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Apuli 25

Oluyimba 60

Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Soma lipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti essente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Apuli. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 (bwe biba nga bituukirawo mu kitundu kyammwe), laga engeri y’okugabamu Watchtower aka Apuli 1 ne Awake! aka Apuli 8. Ennyanjula endala ezituukirawo ziyinza okukozesebwa. Mu kimu ku byokulabirako, laga engeri y’okwogeramu n’omuntu agamba nti “nze ebyo sibyagala.” (Laba akatabo Reasoning, lup. 16.) Yogera ku bitundu ebiyinza okusikiriza abantu b’omu kitundu kyo.

Ddak. 15: “Kozesa bulungi brocuwa Ekkubo Erituusa mu Bulamu.” Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Kozesa emu ku nnyanjula eziweereddwa mu katundu 4, okulaga engeri y’okugabamu brocuwa eyo.

Ddak. 15: “Omwana wo Yandigenze mu Ssomero ly’Ekisulo?” Kwogera kw’omukadde nga kwesigamiziddwa ku Watchtower aka Maaki 15, 1997, empapula 25-28

Oluyimba 4 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Maayi 2

Oluyimba 63

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Mu bufunze mwejjukanye ekitundu ekirina omutwe “Okusoma Brocuwa Beera Bulindaala! ” ku lupapula 6. Bategeeze nti ekitundu kino kiraga enteekateeka eneegobererwa nga tusoma brocuwa eno. Bonna bakubirize okutegeka obulungi era n’okubaako kye baddamu mu buli lukuŋŋaana lw’okusoma ekitabo, olunaatandika mu wiiki eya Maayi 23.

Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.

Ddak. 20 “Abantu Bonna Bajja Kulokolebwa.”d Kubiriza ekitundu kino mu ngeri etuukana n’ekitundu kyammwe.

Oluyimba 47 n’okusaba okufundikira.

[Obugambo obuli wansi]

a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

d By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza