LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/05 lup. 7
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 4/05 lup. 7

Ebirango

◼ Apuli ne Maayi: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Bw’oddayo eri abo abaalaga okusiima, nga mw’otwalidde n’abo abaaliwo ku Kijjukizo oba mu lukuŋŋaana olulala olw’enjawulo kyokka nga tebajjumbira nkuŋŋaana za kibiina, bawe akatabo Sinza Katonda. Wandibadde n’ekigendererwa eky’okuddamu okuyigiriza abantu Baibuli, naddala abo abaamala okusoma akatabo Okumanya ne brocuwa Atwetaagisa. Jjuuni: Tujja kugaba ekitabo Learn From the Great Teacher naye abo abagamba nti tebalina baana, tujja kubawa akatabo Okumanya. Fuba okulaba nti ofunayo b’oyigiriza Baibuli. Jjulaayi: Emu ku brocuwa zino eziddirira ey’empapula-32 eyinza okugabibwa: Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, “Look! I Am Making All Things New,” Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, The Government That Will Bring Paradise, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo​—Olizudde?, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, What Is the Purpose of Life​—How Can You Find It?, ne When Someone You Love Dies. Mu bitundu ebimu, brocuwa zino wammanga ziyinza okugabibwa: A Book for All People, A Satisfying Life​—How to Attain It, Our Problems​—Who Will Help Us Solve Them?, Emyoyo gy’Abafu​—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, ne Will There Ever Be a World Without War?

◼ Okutandika ne Jjuuni, bubaagi bw’olukuŋŋaana lwa disitulikiti olwa 2005 bujja kuweerezebwa wamu n’ebitabo. Tekijja kwetaagisa kubusaba okujjako nga waliwo ab’oluganda aboogera olulimi olugwira abakuŋŋaanira mu kibiina kyammwe. Okusinziira ku bungi bw’abantu abali mu kibiina, bubaagi bujja kuweerezebwa mu buganda nga buli kaganda kalimu 25. Bwe kiba nti ekibiina kyetaaga bubaagi obulala, busaanidde okusabibwa ku foomu Literature Request Form (S-14). Obusawo obwa pulasitiika omuteekebwa bubaagi bwandiragiriziddwa okusobola okuweebwa buli yenna abwetaaga mu kibiina.

◼ Kyetaagisa ofiisi y’ettabi okubeera n’ebiwandiiko ebituufu eby’endagiriro n’ennamba z’essimu ez’abakadde abakubiriza obukiiko bw’abakadde n’ez’abawandiisi. Bwe wabaawo enkyukakyuka yonna mu ndagiriro, Akakiiko k’Obuweereza ak’Ekibiina kandijjuzizzaamu foomu eyitibwa Presiding Overseer/Secretary Change of Address (S-29), ne kagissaako emikono era n’eweerezebwa ku ofiisi y’ettabi amangu ddala. Kino kitwaliramu n’enkyukakyuka mu nnamba y’essimu mu kitundu ekyo.

◼ Abawandiisi b’ebibiina basaanidde okubeera ne foomu ezimala Okusabirwa Okukola nga Payoniya Owa Bulijjo (S-205), n’ezo Okusabirwa Okukola nga Payoniya Omuwagizi (S-205b). Zino ziyinza okusabibwa ku Foomu Okusabirwa Ebitabo (S-14). Beera n’ezinaamala omwaka gwonna. Weekenneenye foomu okusabirwa okukola nga payoniya owa bulijjo okukakasa nti zijjuziddwamu bulungi.

◼ Mu nteekateeka y’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda eya 2005, wansi w’omutwe ENGERI ENNUNGI EY’OKWOGERAMU, waliwo obulagirizi obugamba nti: “Omulabirizi w’essomero, omuyambi we, oba omukadde omulala yenna alina ebisaanyizo ajja kunnyonnyola engeri ennungi ey’okwogeramu okuva mu kitabo Ministry School. (Mu bibiina omuli abakadde abatono, omuweereza mu kibiina alina ebisaanyizo ayinza okukozesebwa.)” Ebigambo “omukadde omulala yenna alina ebisaanyizo” tebitegeeza mukadde omu yekka alina ebisaanyizo, naye bitegeeza nti abakadde abawerako mu kibiina abalina ebisaanyizo basobola okukozesebwa okuwa emboozi eno.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza