LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/05 lup. 3
  • Abantu Bonna Bajja Kulokolebwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Abantu Bonna Bajja Kulokolebwa
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Laba Ebirala
  • Tolamula Balala ng’Osinziira ku Ndabika ey’Okungulu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Otunuulira Abantu nga Yakuwa bw’Abatunuulira?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Endabika Ennungi
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Lwaki Kikulu Okufaayo ku Nnyambala Yaffe ne ku Ndabika Yaffe?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 4/05 lup. 3

Abantu Bonna Bajja Kulokolebwa

1. Ennyimirira yaffe ennungi ne Katonda yeesigama ku ki?

1 Ekisa kya Katonda ekitatusaanira kitusobozesa okufuna obulokozi. Yakuwa ayagala ‘abantu bonna okulokolebwa era batuuke okutegeerera ddala amazima.’ (1 Tim. 2:3, 4) Ennyimirira yaffe ennungi ne Katonda teyeesigama ku langi yaffe, eddaala lye tuliko mu bulamu, obusobozi bwaffe oba endabika yaffe ey’okungulu, wabula yeesigama ku kukkiriza kwe tulina mu ssaddaaka ya Yesu. (Yok. 3:16, 36) Okuva bwe kiri nti tukolera wamu ne Katonda tulina okweggyamu endowooza enkyamu eziyinza okutuviirako okusosola abantu Yakuwa bakkiriza.

2, 3. Kiki ekiyinza okutuyamba obutaba na ndowooza nkyamu ku bantu olw’endabika yaabwe ey’okungulu?

2 Weewale Endowooza Enkyamu: Yakuwa atunuulira ekyo abantu kye bali munda, awatali kusosola. (1 Sam. 16:7) Era amanyi obusobozi bwabwe we bukoma. N’olwekyo, abo abaagala okumusanyusa abatwala nga ba muwendo. (Kag. 2:7) Tutunuulira abalala nga Katonda bw’abatunuulira?

3 Tuyinza okutya okwogera n’abantu abamu be tusanga mu nnimiro olw’endabika yaabwe. Bayinza okuba nga bambadde bubi, ng’ebirevu byabwe bingi, oba nga beenaanise empeta ku nnyindo oba ku mumwa. Abamu bayinza okuba nga tebalina we basula. Abalala bayinza okutukambuwalira. Mu kifo ky’okulowooza nti tebasobola kufuuka baweereza ba Yakuwa, tusaanidde okuba n’endowooza entuufu, “kubanga era naffe edda twali basirusiru, abatawulira [era] abalimbibwa.” (Tito 3:3) Bwe tutegeera ekyo, kijja kutukubiriza okubuulira buli omu, nga mw’otwalidde n’abo abalabika ng’abatasaanira olw’endabika yaabwe ey’okungulu.

4, 5. Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako kya Yesu n’ekya Pawulo?

4 Ebyokulabirako eby’Omu Kyasa Ekyasooka: Yesu Kristo yawangayo ebiseera okuyamba abo abaalowoozebwanga nti tebasobola kufuuka basinza ba Yakuwa. (Luk. 8:26-39) Wadde yali tawagira bikolwa bibi, yali amanyi nti abantu basobola okwonoona. (Luk. 7:37, 38, 44-48) N’olwekyo, yalaga okufaayo, nga “abasaasira kubanga baali ng’endiga ezitalina musumba.” (Mak. 6:34) Tusobola okukoppa ekyokulabirako kye mu bujjuvu?

5 Omutume Pawulo yakubibwa amayinja, emiggo era n’asibibwa. (Bik. 14:19; 16:22, 23) Embeera eyo enzibu gye yayitamu yamuleetera okuggwaamu amaanyi n’okulowooza nti yali amala biseera okubuulira mu mawanga agamu n’ebika by’abantu? N’akatono. Yali amanyi nti mu mawanga ago mulimu abantu ab’emitima emyesigwa era yali mumalirivu okubanoonya. Bwe tutyo bwe tutunuulira abantu abali mu bitundu bye tubuuliramu, abaakulira mu mbeera ez’enjawulo era nga balina obuwangwa bwa njawulo?

6. Endowooza yaffe eyinza kukola ki ku bappya ababa bazze mu nkuŋŋaana z’ekibiina?

6 Okwaniriza Abalala Leero: Bangi ku bantu ba Katonda basanyufu olw’okuba baayanirizibwa ab’oluganda mu kibiina abataatunuulira ndabika yaabwe ya kungulu. Omusajja eyalina ebirevu ebingi n’enviiri empanvu era ng’ayambadde engoye eziddugala, yajja mu Kizimbe eky’Obwakabaka mu Bugirimaani. Yali amanyiddwa ng’omuntu omubi. Kyokka, yayanirizibwa n’ebbugumu mu lukuŋŋaana. Yakwatibwako nnyo ne kiba nti ne wiiki eyaddako yakomawo. Mu banga ttono yeeyonja, yalekera awo okunywa sigala, era n’awandiisa obufumbo bwe mu mateeka. Nga wayiseewo akaseera katono, abafumbo bano n’abaana baabwe baatandika okuweereza Yakuwa ng’amaka agali obumu.

7. Tuyinza tutya okukoppa Katonda waffe atasosola?

7 Nga tukoppa Katonda waffe atasosola, ka twanirize abalala, nabo baganyulwe mu kisa kya Katonda ekitatusaanira.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 3]

“Katonda tasosola mu bantu, naye mu ggwanga lyonna lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza.”​—Bik. 10:34, 35.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza