Ebirango
Jjuuni: Tujja kugaba ekitabo Learn From the Great Teacher naye abo abagamba nti tebalina baana tubawe akatabo okumanya. Fuba okutandika okuyigiriza abantu Baibuli. Jjulaayi ne Agusito: Emu ku brocuwa zino eziddirira ez’empapula-32 eyinza okugabibwa: Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, “Look! I Am Making All Things New,” Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo—Olizudde?, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, What Is the Purpose of Life—How Can You Find It?, Katonda Atwetaagisa Ki? ne When Someone You Love Dies. Mu bitundu ebimu, brocuwa zino wammanga ziyinza okugabibwa: A Book for All People, A Satisfying Life—How to Attain It, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, ne Will There Ever Be a World Without War? Akatabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo nako kasobola okugabibwa naddala mu bitundu ebyesudde. Ssebutemba: Obutabo Is There a Creator Who Cares About You?, Okumanya okukulembera okutuuka mu bulamu obutaggwaawo, brocuwa ey’empapula 32 Beera Bulindaala!, oba obutabo obulala bwonna obwakuubibwa edda obuli mu kibiina buyinza okugabibwa.
◼ Etterekero ly’ebitabo eriri mu kizimbe ky’Obwakabaka lisaanidde okubaamu akatabo Organized to Do Jehovah’s Will. Ebirala ebikwata ku tterekero ly’ebitabo ery’omu kizimbe ky’Obwakabaka oyinza okubisanga mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Febwali 2003 ku lupapula 5 ne Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Apuli 1997 mu kasanduuko k’ebibuuzo.