Omwana Wo Asobola Okusalawo Obulungi ku Nsonga Enkulu?
1. Kiki abavubuka Abajulirwa kye bakoze ku bikwata ku nkozesa y’omusaayi? Waayo ekyokulabirako.
1 Nsonga ki eyo? Ensonga ekwata ku kuteekebwamu omusaayi. Nga bwe kiragibwa mu kitundu ekiri mu Omunaala gw’Omukuumi aka Jjulaayi 1, 1991 wansi w’omutwe ogugamba nti, “Tambula nga bw’Oyigiriziddwa Yakuwa,” emirundi mingi abaana b’Abajulirwa ba Yakuwa, bakiraze nti okugondera etteeka lya Katonda erikwata ku musaayi kikulu nnyo gye bali nga bwe kiri eri bazadde baabwe. Omwana wo atannatuusa myaka gya kwesalirawo naye asobola okukola ekintu kye kimu?
2. Kkooti emu yasalawo etya ku nsonga ezikwata ku mwana eyagaana okuteekebwamu omusaayi, era kino abazadde Abakristaayo awamu n’abaana baabwe bakiyigirako ki?
2 Kiki Amateeka Kye Gagamba? Ng’ekyokulabirako, mu ssaza eriyitibwa Illinois erisangibwa mu Amereka, kkooti esinga obukulu eyasala omusango ogukwata ku mwana eyali tannatuusa myaka gya kwesalirawo eyagaana okuteekebwamu omusaayi, eyitibwa Illinois Supreme Court. Oluvannyuma lw’okuwuliriza omusango gwa mwannyinaffe ow’emyaka 17, kkooti eyo yasalawo bw’eti: “Bwe waba nga waliwo obukakafu obumatiza nti omwana ono ategeera bulungi ebyo ebiyinza okuva mu kusalawo kwe, era ng’asobola okusalawo ng’omuntu omukulu, amateeka gakikkiriza nti naye ayinza okukkiriza oba okugaana obujjanjabi obumuweebwa.” Bwe kityo, nga baagala okumanya oba ng’omwana oyo mukulu ekimala okusobola okwesalirawo, abasawo oba ab’obuyinza bayinza okumubuuza ebibuuzo balabe endowooza gy’alina ku kuteekebwamu omusaayi. N’olw’ensonga eyo, omuvubuka aba yeetaaga okutegeera obulungi embeera gy’alimu, n’okumanya ebyo ebiyinza okuva mu bujjanjabi bw’aba alonzeewo. Ate era alina okwoleka obuvumu ng’annyonnyola enzikiriza ye ku tteeka lya Katonda erikwata ku musaayi.
3. Bibuuzo ki abazadde bye bateekwa okwebuuza, era lwaki?
3 Omwana Wo Ayinza Kwogera Ki ku Nsonga Zino? Abaana bo basobola okwennyonnyolako ku nsonga ezikwata ku musaayi? Muli bakikkiriza nti ‘okwewala omusaayi’ tteeka lya Katonda? (Bik. 15:29; 21:25) Basobola okukozesa Ebyawandiikibwa nga bannyonnyola enzikiriza zaabwe? Singa abasawo babagamba nti obulamu bwabwe buli mu kabi, banaasobola okunywerera ku kusalawo kwabwe ku bikwata ku musaayi wadde ng’abazadde baabwe tebaliiwo? Olw’okuba fenna ‘bitugwira bugwizi,’ omuzadde ayinza atya okuyamba abaana be okwaŋŋanga embeera ezitasuubirwa eziyinza okusoomooza okukkiriza kwabwe?—Mub. 9:11; Bef. 6:4.
4, 5. (a) Buvunaanyizibwa ki abazadde bwe balina, era bayinza kubutuukiriza batya? (b) Biki abazadde bye bayinza okukozesa?
4 Abazadde, Kiki Kye Muyinza Okukola? Abazadde mulina obuvunaanyizibwa obw’okuyigiriza abaana bammwe endowooza Katonda gyalina ku musaayi. (2 Tim. 3:14, 15) Akatabo Reasoning kannyonnyola bulungi ensonga eno ku mpapula 70-4. Keekenneenye bulungi n’ab’omu maka go. Nga mukozesa ebyo ebiri ku mpapula 74-6, wansi w’omutwe ogugamba nti, “If Someone Says” (“Singa omuntu agamba nti”) mwegezeemu n’abaana bammwe musobole okubayamba okufuna obumanyirivu obw’okunnyonnyola ekyo kye bakkiriza era n’ensonga lwaki bakkiriza bwe batyo. (1 Peet. 3:15) Ebintu ebirala ebiyinza okutuyamba okutegeera ebyo ebikwata ku musaayi muzingiramu brocuwa How Can Blood Save Your Life? Ne Omunaala gw’Omukuumi aka Jjulaayi 1, 2004, emp. 8-13. Okugatta ku ebyo, waliwo ne vidiyo eziyitibwa Transfusion-Alternative Health Care—Meeting Patient Needs and Rights ne No Blood—Medicine Meets the Challenge, era nga kati zisobola n’okufunibwa ku DVD erina omutwe, Transfusion Alternatives—Documentary Series, eziraga obulungi nti kisoboka okujjanjabibwa oba okulongoosebwa nga toweereddwa musaayi. Gwe n’ab’omu maka go mumaze okukubaganya ebirowoozo ku bintu ebyo ebyogeddwako waggulu?
5 Yamba abaana bo ‘okumanya ebirungi, ebikkirizibwa, era Katonda by’asiima’ ku nsonga ezikwata ku musaayi. Mu ngeri eyo bajja kusobola okusalawo obulungi era ekyo kijja kubasobozesa okufuna emikisa gya Yakuwa.—Bar. 12:2.