Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Jjanwali 9
Oluyimba 12
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 oba ebirala ebituukirawo mu kitundu kyammwe, laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Ddesemba 15, ne Awake! aka Ddesemba 22. Mu kimu ku byokulabirako, laga ng’omubuulizi abuulira mu kitundu ekikolerwamu bizineesi.
Ddak. 15: “Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza —Kye ky’Okukozesa Ekikulu nga Tuyigiriza Abantu Baibuli.”a Bakubirize okutandika okuyigiriza abantu Baibuli nga bakozesa akatabo kano akapya.
Ddak. 20: “Engeri y’Okutandika Okuyigiriza Abantu nga Tukozesa Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza.” Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza era n’okulaga ebyokulabirako nga byesigamiziddwa ku lupapula 3 oluli mu Obuweereza bw’Obwakabaka ak’omwezi guno. Tuyinza okutandikirawo okukozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza nga tuyigiriza Baibuli abo abaagala okumanya ebisingawo. Laga ebyokulabirako bisatu ebitegekeddwa obulungi nga biraga engeri y’okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli ng’ozzeeyo okumukyalira. Ekyokulabirako ekisooka kirage engeri y’okukozesaamu ebyo ebiri ku mpapula 4-5, eky’okubiri, engeri y’okukozesaamu ebiri ku lupapula 6, n’eky’okusatu, engeri y’okukozesaamu akatundu akasooka ku lupapula 7. Sooka oyogere ku kigendererwa kya buli kyakulabirako ky’ogenda okulaga ate era oluvannyuma lw’okukiraga mukikubaganyeeko ebirowoozo. Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku butundu obuli mu katabo, temukozesa biseera bingi. Buli kyakulabirako kirina okufundikirwa ng’omubuulizi akola enteekateeka ey’okuddira omuntu oyo.
Oluyimba 12 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjanwali 16
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Kubiriza buli omu okulaba vidiyo Transfusion-Alternative Health Care—Meeting Patient Needs and Rights, bw’eba nga weeri, nga beetegekera okugikubaganyaako ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olunaabaawo oluvannyuma lwa wiiki bbiri. Vidiyo gye zitali, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri mu Kasanduuko k’Ebibuuzo akali mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba 1999 akagamba nti, “Weetegekedde Embeera Eyeetaagisa Obujjanjabi obw’Amangu?”
Ddak. 15: Tutegekeddwa Okukola Yakuwa By’Ayagala. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku mpapula 4-7 mu katabo Organized to Do Jehovah’s Will. Oluvannyuma lw’ennyanjula etasukka ddakiika satu nga yeesigamiziddwa ku lupapula 4, kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ku ebyo ebiri ku lupapula 5 okutuuka ku mutwe omutono oguli ku lupapula 7. Ebitundu ebirala eby’akatabo Organized bijja kukubaganyizibwako ebirowoozo mu biseera eby’omu maaso, mu Nkuŋŋaana ez’Obuweereza.
Ddak. 20: “Abavubuka Abaakaayakana ng’Ettabaaza.”b Saba abavubuka boogere ku ngeri gye basobodde okuwa obujulirwa ku ssomero. Oyinza okutegeka nga bukyali omuvubuka omu oba babiri babeeko bye boogera.
Oluyimba 46 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjanwali 23
Oluyimba 71
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Soma lipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8, oba ennyanjula endala ezituukirawo mu kitundu kyammwe, laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Jjanwali 1 ne Awake! aka Jjanwali. Saba omuvubuka alage ekimu ku byokulabirako ebyo.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 20: “Faayo ku Bantu—Ng’Obabuuza Ebibuuzo era ng’Obawuliriza.”c Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 2, saba abawuliriza boogere bibuuzo ki bye bakozesezza okusobola okutandika okunyumya n’abantu. Laga ekyokulabirako ekikwata ku ngeri gy’oyinza okumanya endowooza y’omuntu ng’omubuuza ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi era ng’omuwuliriza bulungi.
Oluyimba 67 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjanwali 30
Oluyimba 11
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Jjanwali. Yogera ku bitabo ebirina okugabibwa mu Febwali, era lagayo n’ekyokulabirako kimu.
Ddak. 15: Enteekateeka Ezituganyula. Kya kukubirizibwa omukadde. Soma era mukubaganye ebirowoozo ku bbaluwa eya Jjanwali 3, 2006 ofiisi y’ettabi gye yawandiikira ebibiina byonna ku nsonga ekwata ku ngeri y’okuganyulwa mu ebyo ebikolebwa Akakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro (HLC) awamu n’Akabiina k’Abakadde Akakyalira Abalwadde (PVG).
Ddak. 20: Mukubaganye ebirowoozo ku Kasanduuko k’Ebibuuzo akali mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba 1999 akagamba nti “Weetegekedde Embeera Eyeetaagisa Obujjanjabi obw’Amangu?” oba vidiyo gye ziri, mukubaganye ebirowoozo ku kitundu ekirina omutwe “Vidiyo Eraga Enzijanjaba Enkulu Egobererwa mu by’Ekisawo.” Soma Ebikolwa 15:28, 29, era okiggumize nti ensonga enkulu lwaki Abakristaayo tebakkiriza kuteekebwamu musaayi kwe kuba nti bassa ekitiibwa mu tteeka lya Katonda erikwata ku butukuvu bw’omusaayi. Oluvannyuma, mukubaganye ebirowoozo ku vidiyo Patient Needs and Rights nga mukozesa ebibuuzo ebiweereddwa mu kitundu ekyo. Fundikira ng’osoma akatundu akasembayo.
Oluyimba 20 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Febwali 6
Oluyimba 56
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase.
Ddak. 25: Okutegeera Obulungi Ekitabo Kyaffe Ekipya kye Tugenda Okukozesa nga Tuyigiriza Abantu Baibuli. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Saba abawuliriza babeeko bye boogera ku bintu bye baagala ennyo mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza, gamba, ng’ebibuuzo ebisooka ku buli ssuula n’ebyo ebiri mu kasanduuko akalimu ebibuuzo eby’okwejjukanya ebiggyayo ensonga enkulu eziri mu buli ssuula (emp. 106, 114), ebifaananyi (emp. 122-3, 147, 198), n’ebyo ebiri ku (lup. 197, but. 1-2). Akatabo kano kayigiriza mu ngeri esikiriza (lup. 12, kat. 12). Kannyonnyola ebintu mu ngeri ennyangu era etegeerekeka obulungi (lup. 58, kat. 5) era kakozesa ebyokulabirako ebirungi (lup. 159, kat. 12). Ennyanjula yaako etegekeddwa mu ngeri etusobozesa okutandika okuyigiriza abantu Baibuli (emp. 3-7). Laga ekyokulabirako ku ngeri y’okukozesaamu akasanduuko akali ku lupapula 7 ng’oli n’omuyizi wa Baibuli omupya. Yogera ku birungi ebivuddemu ng’ababuulizi bakozesa akatabo kano akapya.
Ddak. 10: Okukola nga Payoniya Omuwagizi Kireeta Emikisa. (Nge. 10:22) Saba abo bonna abaakola nga bapayoniya abawagizi omwaka oguwedde boogere ku ngeri gye baakolamu enteekateeka ezaabayamba okutuukiriza ekyo, essanyu awamu n’emiganyulo bye baafuna. Kubiriza bonna okulowooza ku kuweereza nga bapayoniya abawagizi mu mwezi gwa Maaki, Apuli ne Maayi era basabe Yakuwa abayambe.
Oluyimba 7 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.