Ebirango
◼ Maaki: Tujja kugaba akatabo akapya Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Mufube nnyo okufuna be muyigiriza Baibuli. Apuli ne Maayi: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Bw’oddayo okukyalira abantu abaagala okumanya ebisingawo, nga mw’otwalidde n’abo abaaliwo ku Kijjukizo oba mu lukuŋŋaana olulala lwonna naye nga tebatera kujja mu nkuŋŋaana, laba nti obawa akatabo akapya Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Twandibadde n’ekiruubirirwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli awaka nga tukozesa akatabo ako. Jjuuni: Tujja kugaba ekitabo Learn From the Great Teacher. Abo abagamba nti tebalina baana, tujja kubawa akatabo Okumanya. Fuba okufuna b’oyigiriza Baibuli.
◼ Okuva omwezi gwa Apuli bwe gulina wiikendi ettaano, kyandibadde kirungi okuweereza nga payoniya omuwagizi.
◼ Ekijjukizo ky’Okufa kwa Mukama Waffe kijja kubaawo ku Lw’Okusatu nga Apuli 12, 2006. Ekibiina kyammwe bwe kiba n’enkuŋŋaana ku Lw’Okusatu, zirina okukyusibwa ne ziteekebwa ku lunaku olulala olwa wiiki singa tewabaawo kibiina kirala kigenda kukozesa Kizimbe kya Bwakabaka. Kino bwe kiba nga tekisoboka, ebitundu ebiri mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza naddala ebyo ebikwata ku kibiina kyammwe, muyinza okuba nabyo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olulala.
◼ Ebibiina byandifubye okuwa ababuulizi Watchtower ne Awake! amangu ddala nga zaakatuuka. Ekyo kijja kubayamba okumanya ebizirimu nga tebannaba kuzigaba mu buweereza obw’ennimiro. Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka nabwo busaanidde okuweebwa ababuulizi amangu ddala nga bwakatuuka. Basobola okubufunira awabeera Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina.
◼ Vidiyo eyitibwa Noah—He Walked With God ejja kukubaganyizibwako ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza mu mwezi gwa Maayi. Vidiyo zino bwe muba nga muzeetaaga, muyinza okuzisaba okuyitira mu kibiina amangu ddala nga bwe kisoboka.
◼ Ofiisi y’ettabi tekola ku kusaba kw’ebitabo okw’ababuulizi kinnoomu. Akubiriza akakiiko k’abakadde asaanidde okukola enteekateeka ekirango kisomebwe buli mwezi ng’ekibiina tekinnalagiriza bitabo ku ofiisi y’ettabi, mu ngeri eyo, buli alina ekitabo ky’ayagala asobola okutegeeza ow’oluganda akola ku bitabo. Mukijjukire nti ebitabo ebimu bisabibwa mu ngeri ya njawulo.